< Giobbe 16 >
1 Allora Giobbe rispose e disse:
Yobu n’addamu nti,
2 “Di cose come codeste, ne ho udite tante! Siete tutti dei consolatori molesti!
“Mpulidde ebintu bingi ebiri nga bino; mwenna muli mikwano gyange egitagasa.
3 Non ci sarà egli una fine alle parole vane? Che cosa ti provoca a rispondere?
Ebigambo byammwe bingi, tebiikome? Kiki ekibaluma ne mutalekeraawo kuwakana?
4 Anch’io potrei parlare come voi, se voi foste al posto mio; potrei mettere assieme delle parole contro a voi e su di voi scrollare il capo;
Nange nandyogedde nga mmwe, singa mmwe mubadde mu kifo kyange; nandyogedde ebigambo ebisengeke obulungi ebibanyiga, ne mbanyeenyeza n’omutwe gwange.
5 potrei farvi coraggio con la bocca; e il conforto delle mie labbra vi calmerebbe.
Naye akamwa kange kandibazizzaamu amaanyi; ebigambo eby’essuubi okuva mu kamwa kange byandibaleetedde eddembe.
6 Se parlo, il mio dolore non ne sarà lenito; e se cesso di parlare, che sollievo ne avrò?
“Ate bwe njogera, obulumi bwange tebuwona, bwe nsirika era busigalawo.
7 Ora, purtroppo, Dio m’ha ridotto senza forze, ha desolato tutta la mia casa;
Mazima ddala, Ayi Katonda, ommazeemu amaanyi; osaanyiririzzaawo ddala ennyumba yange yonna.
8 m’ha coperto di grinze e questo testimonia contro a me, la mia magrezza si leva ad accusarmi in faccia.
Onsibye n’onyweza ekinnumiririza ddala, obukovvu bwange bwe bukulaga bwe ndi, kirabika ne ku maaso.
9 La sua ira mi lacera, mi perseguita, digrigna i denti contro di me. Il mio nemico aguzza gli occhi su di me.
Katonda annumba n’obusungu bwe n’anjuzaayuza, annumira emba; omulabe wange antunuulira nkaliriza n’amaaso ge agafumita.
10 Apron larga contro a me la bocca, mi percuoton per obbrobrio le guance, si metton tutt’insieme a darmi addosso.
Abantu bayasamya emimwa gyabwe ne bansekerera; bankuŋŋaanirako ne bankuba empi ku matama.
11 Iddio mi dà in balìa degli empi, mi getta in mano dei malvagi.
Katonda ampaddeyo eri omukozi w’ebibi, era n’ansuula mu mikono gy’ababi.
12 Vivevo in pace, ed egli m’ha scosso con violenza, m’ha preso per la nuca, m’ha frantumato, m’ha posto per suo bersaglio.
Nnali bulungi, n’anjuzaamu wakati; yankwata ku nsingo n’ammenyamu. Anfudde ssabbaawa,
13 I suoi arcieri mi circondano, egli mi trafigge i reni senza pietà, sparge a terra il mio fiele.
abakubi b’obusaale banneetoolodde. Awatali kusaasira, afumita ensigo zange, omususa gwange ne guyiika ku ttaka.
14 Apre sopra di me breccia su breccia, mi corre addosso come un guerriero.
Annumba, emirundi n’emirundi, n’anfubutukirako ng’omulwanyi omuzira.
15 Mi son cucito un cilicio sulla pelle, ho prostrato la mia fronte nella polvere.
“Neetungidde ebikutiya eby’okukungubagiramu, ne nkweka obwenyi bwange mu nfuufu.
16 Il mio viso è rosso di pianto, e sulle mie palpebre si stende l’ombra di morte.
Nzenna mmyuse amaaso olw’okukaaba, ekisiikirize ekikwafu ennyo kyetoolodde amaaso gange,
17 Eppure, le mie mani non commisero mai violenza, e la mia preghiera fu sempre pura.
newaakubadde ng’emikono gyange tegirina bibi bye gikoze, n’okusaba kwange nga kutukuvu.
18 O terra, non coprire il mio sangue, e non vi sia luogo ove si fermi il mio grido!
“Ggwe ensi, tobikka ku musaayi gwange; nneme okusirisibwa!
19 Già fin d’ora, ecco, il mio Testimonio è in cielo, il mio Garante è nei luoghi altissimi.
Era kaakano omujulirwa wange ali mu ggulu; omuwolereza wange ali waggulu nnyo ddala.
20 Gli amici mi deridono, ma a Dio si volgon piangenti gli occhi miei;
Mikwano gyange bansekerera, amaaso gange nga gakulukusa amaziga eri Katonda.
21 sostenga egli le ragioni dell’uomo presso Dio, le ragioni del figliuol d’uomo contro i suoi compagni!
Ku lw’omuntu, yeegayirira eri Katonda ng’omuntu bwe yeegayiririra mukwano gwe.
22 Poiché, pochi anni ancora, e me ne andrò per una via senza ritorno.
“Emyaka mitono eginaayitawo nga sinnakwata lugendo olw’obutadda.”