< Salmi 146 >
1 Loda il Signore, anima mia: Alleluia.
Tendereza Mukama! Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!
2 loderò il Signore per tutta la mia vita, finché vivo canterò inni al mio Dio.
Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange; nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.
3 Non confidate nei potenti, in un uomo che non può salvare.
Teweesiganga bafuzi, wadde abantu obuntu omutali buyambi.
4 Esala lo spirito e ritorna alla terra; in quel giorno svaniscono tutti i suoi disegni.
Kubanga bafa ne bakka emagombe; ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.
5 Beato chi ha per aiuto il Dio di Giacobbe, chi spera nel Signore suo Dio,
Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo; ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,
6 creatore del cielo e della terra, del mare e di quanto contiene. Egli è fedele per sempre,
eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja ne byonna ebirimu, era omwesigwa emirembe gyonna.
7 rende giustizia agli oppressi, dà il pane agli affamati. Il Signore libera i prigionieri,
Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya, n’abalumwa enjala abawa ebyokulya. Mukama asumulula abasibe.
8 il Signore ridona la vista ai ciechi, il Signore rialza chi è caduto, il Signore ama i giusti,
Mukama azibula amaaso ga bamuzibe, era awanirira abazitoowereddwa. Mukama ayagala abatuukirivu.
9 il Signore protegge lo straniero, egli sostiene l'orfano e la vedova, ma sconvolge le vie degli empi.
Mukama alabirira bannamawanga, era ayamba bamulekwa ne bannamwandu; naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.
10 Il Signore regna per sempre, il tuo Dio, o Sion, per ogni generazione.
Mukama anaafuganga emirembe gyonna, Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe. Mutendereze Mukama!