< यहोशू 17 >
1 फिर मनश्शेह के गोत्र के लिए भूमि का बंटवारा किया गया. मनश्शेह के बड़े बेटे माखीर को गिलआद तथा बाशान नामक स्थान दिया गया, क्योंकि वह एक योद्धा था.
Omugabo ne guweebwa ekika kya Manase kubanga ye yali omubereberye owa Yusufu. Makiri omubereberye wa Manase era kitaawe wa Gireyaadi yaweebwa Gireyaadi ne Basani, era yali mulwanyi muzira.
2 तब मनश्शेह के शेष पुत्रों के लिए उनके परिवारों के अनुसार भूमि बांटी गई: अबीएज़ेर, हेलेक, अस्रीएल, शेकेम, हेफेर तथा शेमीदा के पुत्रों के लिए; ये सभी उनके परिवारों के अनुसार योसेफ़ के पुत्र मनश्शेह के पुरुष वंशज थे.
Era emigabo ne giweeba abaana ba Manase abalala nga bwe baali bazaalibwa mu buli maka. Omugabo gw’abaana ba Abiyezeeri, n’ogw’abaana ba Kereki n’abaana ba Asuliyeri n’ogw’abaana ba Sekemu, n’ogw’abaana ba Keferi, n’ogw’abaana ba Semida be baana bonna aboobulenzi aba Manase omwana wa Yusufu ng’amaka mwe baazaalibwa bwe gaali.
3 हेफेर, जो गिलआद का बेटा माखीर का पोता और मनश्शेह का परपोता था, उसके पुत्र ज़लोफेहाद का कोई पुत्र न था—केवल बेटियां ही थी. उसकी पुत्रियों के नाम: महलाह, नोआ, होगलाह, मिलकाह तथा तिरज़ाह है.
Naye Zerofekadi mutabani wa Keferi mutabani wa Gireyaadi mutabani wa Manase teyazaala baana balenzi wabula bawala bokka era baali bayitibwa Maala ne Noowa, ne Kogula, ne Mirika ne Tiruza.
4 ये सभी, पुरोहित एलिएज़र, नून के पुत्र यहोशू तथा प्रधानों के पास गईं तथा उनसे निवेदन किया, “याहवेह की ओर से मोशेह को यह कहा गया था कि वह हमें हमारे भाई-बंधुओं के साथ हमारा हिस्सा दे.” तब उन्होंने याहवेह के कहे अनुसार उन्हें उनके पिता के भाइयों के बीच हिस्सा दे दिया.
Bano baagenda eri Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuuni n’abakulu ne babagamba nti, “Mukama yalagira Musa okutuwa omugabo nga baganda baffe.” Yoswa kyeyava abawa ettaka nga Mukama bwe yalagira. Yabawa omugabo mu baganda bakitaabwe.
5 इसके अलावा गिलआद तथा बाशान मनश्शेह के हिस्से में दस अंश आए. यह यरदन के पार हैं,
Bw’atyo Manase n’afuna ebitundu kkumi ng’oggyeko ensi ya Gireyaadi ne Basani ebiri emitala wa Yoludaani,
6 तथा मनश्शेह गोत्र के पुत्रों के साथ पुत्रियों को भी हिस्सा दिया. गिलआद पर अब मनश्शेह के पुत्रों का अधिकार हो गया.
kubanga abaana ba Manase abawala baafuna omugabo ng’abaana be abalenzi. Ensi ya Gireyaadi yaweebwa abaana ba Manase abaali basigaddewo ne bagitwala.
7 मनश्शेह प्रदेश की सीमा आशेर से शेकेम के पूर्व में मिकमथाथ तक थी. फिर यह सीमा दक्षिण की ओर मुड़ जाती है जहां एन-तप्पूआह का नगर है.
N’ensalo ya Manase yava ku Aseri n’etuuka ku Mikumesasi ebuvanjuba bwa Sekemu, n’eyita ku bukiikaddyo n’ekka n’etwaliramu abantu abaali mu Entappua.
8 तप्पूआह देश मनश्शेह की संपत्ति थी, किंतु मनश्शेह की सीमा पर बसा नगर तप्पूआह एफ्राईम वंश की संपत्ति थी.
Ensi ya Tappua Manase n’agitwala wabula Tappua ekibuga ekyali ku nsalo ya Manase abaana ba Efulayimu be baakigabana.
9 तब सीमा दक्षिण में कानाह नदी की ओर बढ़ जाती है, ये नगर मनश्शेह के नगरों के बीच होने पर भी, एफ्राईम ही की संपत्ति थी. मनश्शेह की सीमा, नदी के उत्तर में थी जो भूमध्य-सागर पर जाकर खत्म होती थी.
Ensalo n’ekka n’etuuka ku kagga Kana ku luuyi mu bukiikakkono obw’omugga. Bino bye bibuga bya Efulayimu ebiri mu bibuga bya Manase, naye ensalo ya Manase yali mu bukiikakkono obwa kagga n’ekoma ku nnyanja.
10 दक्षिण हिस्सा एफ्राईम का, तथा उत्तरी हिस्सा मनश्शेह का था. इनकी सीमा समुद्र तक थी. ये उत्तर में आशेर तथा पूर्व में इस्साखार तक पहुंचती थी.
Efulayimu n’atwala oluuyi olw’omu bukiikaddyo ne Manase n’atwala oluuyi olw’omu bukiikakkono n’ensalo ye n’ekoma ku nnyanja mu bukiikakkono n’etuuka ku Aseri ate ebuvanjuba n’etuuka ku Isakaali.
11 इस्साखार तथा आशेर के भूमि प्रदेश के अंदर में ही मनश्शेह को ये दिए गये: बेथ-शान तथा इसके चारों ओर के गांवों, इब्लीम तथा इसके चारों ओर के गांवों, दोर तथा इसके चारों ओर के गांवों, एन-दोर तथा इसके चारों ओर के गांवों, तानख तथा इसके चारों ओर के गांवों, मगिद्दो तथा इसके चारों ओर के गांवों. (और तीसरा नगर नाफ़ोथ था.)
Mu nsi ya Isakaali n’eya Aseri, Manase n’atwala Besuseani n’ebibuga byakyo ne Ibuleamu n’ebibuga byakyo n’abaali mu Endoli n’ebibuga byakyo n’abaali mu Doli n’abaali mu Taanaki n’ebibuga byakyo, n’abaali mu Megiddo n’ebibuga byakyo z’ensozi essatu.
12 मनश्शेह इन नगरों को अपने अधिकार में न कर सके, क्योंकि कनानी ज़बरदस्ती इन नगरों में रह रहे थे.
Naye abaana ba Manase tebasobola kugobamu Bakanani kubanga baali bamaliridde okusigala mu nsi eyo.
13 जब इस्राएल वंश बलवंत हो गए, तब उन्होंने कनानियों को मज़दूर बना दिया; उन्होंने इन्हें देश से पूरी तरह बाहर न निकाला.
Naye abaana ba Isirayiri bwe beeyongera amaanyi ne bafuula Abakanani abaddu baabwe ab’okubakozesanga emirimu, ne batabeegoberako ddala.
14 योसेफ़ गोत्रजों ने यहोशू से कहा, “आपने क्यों एक ही बार में हमें हिस्सा दे दिया, जबकि हम वह गोत्र हैं, जिसे याहवेह ने अब तक आशीष दी है, और हमारे गोत्र की संख्या बहुत ज्यादा है.”
Abaana ba Yusufu ne boogera ne Yoswa nti, “Lwaki ffe otuwadde omugabo gumu n’ekitundu kimu ate nga tuli kika kinene? Mukama atuwadde nnyo omukisa.”
15 यहोशू ने उन्हें उत्तर दिया, “यदि तुम्हारे गोत्र की संख्या ज्यादा है, तो अच्छा होगा कि तुम लोग पर्वतीय वन में जाकर वन को साफ़ करें और परिज्ज़ियों तथा रेफाइम के प्रदेश में अपने लिए जगह बना लें, क्योंकि तुम्हारे लिए एफ्राईम का पर्वतीय क्षेत्र बहुत छोटा है.”
Yoswa n’abagamba nti, “Obanga muli kika kinene mugende mu nsi y’Abaperezi n’ey’Abalefa mwesaayire ekibira, ensi ey’ensozi eya Efulayimu nga bwe tebamala.”
16 योसेफ़ गोत्रजों ने उन्हें उत्तर दिया, “पर्वतीय क्षेत्र भी हमारे लिए पूरा न होगा तथा उन सभी के पास लोहे के रथ हैं, जो कनानी तराई-घाटी की भूमि में रहते हैं; जो बेथ-शान और चारों ओर के गांवों में तथा जो येज़्रील घाटी में हैं.”
Abaana ba Yusufu ne bagamba nti, “Ensi ey’ensozi tetumala; ate nga Abakanani bonna abali mu nsi ey’ekiwonvu n’abali mu Besuseani n’ebibuga byakyo era n’abali mu kiwonvu eky’e Yezuleeri balina amagaali ag’ebyuma.”
17 यहोशू ने योसेफ़—एफ्राईम तथा मनश्शेह—गोत्रों से कहा, “तुम लोग बहुत बलवान हो. तुम लोगों का फैसला एक ही बार में न होगा.
Yoswa n’ayogera eri ennyumba ya Yusufu, n’eya Efulayimu n’eya Manase nti, “Muli kika kinene era mulina amaanyi mangi temuliba na mugabo gumu gwokka,
18 यह पर्वतीय क्षेत्र है, तुम इसे साफ़ करो और यह पूरा तुम्हारा ही होगा; और तुम कनानियों को निकाल बाहर करोगे, यद्यपि उनके पास लोहे के रथ हैं और वे ताकतवर भी हैं.”
naye ensi ey’ensozi eribeera yammwe, newaakubadde nga ya kibira mulikisaawa okutuuka gye kikoma, kubanga muligobamu Abakanani newaakubadde nga balina amagaali ag’ebyuma era nga baamaanyi.”