< תהילים 95 >
לכו נרננה ליהוה נריעה לצור ישענו׃ | 1 |
Mujje tuyimbire Mukama; tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe.
נקדמה פניו בתודה בזמרות נריע לו׃ | 2 |
Tujje mu maaso ge n’okwebaza; tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.
כי אל גדול יהוה ומלך גדול על כל אלהים׃ | 3 |
Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu; era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.
אשר בידו מחקרי ארץ ותועפות הרים לו׃ | 4 |
Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe; n’entikko z’ensozi nazo zize.
אשר לו הים והוא עשהו ויבשת ידיו יצרו׃ | 5 |
Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola; n’emikono gye, gye gyabumba olukalu.
באו נשתחוה ונכרעה נברכה לפני יהוה עשנו׃ | 6 |
Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge; tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.
כי הוא אלהינו ואנחנו עם מרעיתו וצאן ידו היום אם בקלו תשמעו׃ | 7 |
Kubanga ye Katonda waffe, naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye, era tuli ndiga ze z’alabirira. Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,
אל תקשו לבבכם כמריבה כיום מסה במדבר׃ | 8 |
“Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba, ne ku lunaku luli e Maasa mu ddungu;
אשר נסוני אבותיכם בחנוני גם ראו פעלי׃ | 9 |
bajjajjammwe gye bangezesa; newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.
ארבעים שנה אקוט בדור ואמר עם תעי לבב הם והם לא ידעו דרכי׃ | 10 |
Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana; ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe, era tebamanyi makubo gange.’
אשר נשבעתי באפי אם יבאון אל מנוחתי׃ | 11 |
Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti, ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’”