< תהילים 90 >

תפלה למשה איש האלהים אדני מעון אתה היית לנו בדר ודר׃ 1
Okusaba kwa Musa, omusajja wa Katonda. Ayi Mukama, obadde kifo kyaffe eky’okubeeramu emirembe gyonna.
בטרם הרים ילדו ותחולל ארץ ותבל ומעולם עד עולם אתה אל׃ 2
Ensozi nga tezinnabaawo, n’ensi yonna nga tonnagitonda; okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero y’emirembe gyonna, ggwe Katonda.
תשב אנוש עד דכא ותאמר שובו בני אדם׃ 3
Omuntu omuzzaayo mu nfuufu, n’oyogera nti, “Mudde mu nfuufu, mmwe abaana b’abantu.”
כי אלף שנים בעיניך כיום אתמול כי יעבר ואשמורה בלילה׃ 4
Kubanga emyaka olukumi, gy’oli giri ng’olunaku olumu olwayita, oba ng’ekisisimuka mu kiro.
זרמתם שנה יהיו בבקר כחציר יחלף׃ 5
Obeera n’obamalirawo ddala nga bali mu tulo otw’okufa. Ku makya baba ng’omuddo omuto.
בבקר יציץ וחלף לערב ימולל ויבש׃ 6
Ku makya guba munyirivu, naye olw’eggulo ne guwotoka ne gukala.
כי כלינו באפך ובחמתך נבהלנו׃ 7
Ddala ddala obusungu bwo butumalawo, n’obukambwe bwo bututiisa nnyo.
שת עונתינו לנגדך עלמנו למאור פניך׃ 8
Ebyonoono byaffe obyanjadde mu maaso go, n’ebyo bye tukoze mu kyama obyanise awo w’oli.
כי כל ימינו פנו בעברתך כלינו שנינו כמו הגה׃ 9
Ddala ddala tumala ennaku z’obulamu bwaffe zonna ng’otunyiigidde; tukomekkereza emyaka gyaffe n’okusinda.
ימי שנותינו בהם שבעים שנה ואם בגבורת שמונים שנה ורהבם עמל ואון כי גז חיש ונעפה׃ 10
Obungi bw’ennaku zaffe gy’emyaka nsanvu, oba kinaana bwe tubaamu amaanyi. Naye emyaka egyo gijjula ennaku n’okutegana, era giyita mangu, olwo nga tuggwaawo.
מי יודע עז אפך וכיראתך עברתך׃ 11
Ani amanyi amaanyi g’obusungu bwo? Kubanga ekiruyi kyo kingi ng’ekitiibwa kye tusaana okukuwa bwe kyenkana.
למנות ימינו כן הודע ונבא לבב חכמה׃ 12
Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe, tulyoke tubeere n’omutima ogw’amagezi.
שובה יהוה עד מתי והנחם על עבדיך׃ 13
Ayi Mukama, komawo gye tuli. Olitusuula kutuusa ddi? Abaweereza bo bakwatirwe ekisa.
שבענו בבקר חסדך ונרננה ונשמחה בכל ימינו׃ 14
Tujjuze okwagala kwo okutaggwaawo ku makya, tulyoke tuyimbenga nga tujaguza n’essanyu era tusanyukenga obulamu bwaffe bwonna.
שמחנו כימות עניתנו שנות ראינו רעה׃ 15
Tusanyuse, Ayi Mukama, okumala ennaku nga ze tumaze ng’otubonyaabonya, era n’okumala emyaka nga gye tumaze nga tulaba ennaku.
יראה אל עבדיך פעלך והדרך על בניהם׃ 16
Ebikolwa byo biragibwe abaweereza bo, n’abaana baabwe balabe ekitiibwa kyo.
ויהי נעם אדני אלהינו עלינו ומעשה ידינו כוננה עלינו ומעשה ידינו כוננהו׃ 17
Okusaasira kwo, Ayi Mukama Katonda waffe, kubeerenga ku ffe, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe; weewaawo, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe.

< תהילים 90 >