< תהילים 89 >

משכיל לאיתן האזרחי חסדי יהוה עולם אשירה לדר ודר אודיע אמונתך בפי׃ 1
Endagaano ya Katonda ne Dawudi. Nnaayimbanga ku kwagala kwo okungi, Ayi Mukama, emirembe gyonna. Nnaatenderezanga obwesigwa bwo n’akamwa kange, bumanyibwe ab’emirembe gyonna.
כי אמרתי עולם חסד יבנה שמים תכן אמונתך בהם׃ 2
Ddala ddala nnaategeezanga nti okwagala kwo tekuggwaawo ennaku zonna; n’obwesigwa bwo bunywevu ng’eggulu.
כרתי ברית לבחירי נשבעתי לדוד עבדי׃ 3
Nakola endagaano n’omulonde wange; nalayirira omuweereza wange Dawudi nti,
עד עולם אכין זרעך ובניתי לדר ודור כסאך סלה׃ 4
“Ezadde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna, era entebe yo ey’obwakabaka nnaaginywezanga emirembe gyonna.”
ויודו שמים פלאך יהוה אף אמונתך בקהל קדשים׃ 5
Eggulu linaatenderezanga ebyamagero byo n’obwesigwa bwo, Ayi Mukama, mu kibiina ky’abatukuvu bo.
כי מי בשחק יערך ליהוה ידמה ליהוה בבני אלים׃ 6
Kale, mu ggulu waggulu, ani ageraageranyizika ne Mukama? Ani afaanana nga Mukama, mu abo ababeera mu ggulu?
אל נערץ בסוד קדשים רבה ונורא על כל סביביו׃ 7
Katonda atiibwa nnyo mu lukiiko olw’abatukuvu; era wa ntiisa okusinga bonna abamwetooloola.
יהוה אלהי צבאות מי כמוך חסין יה ואמונתך סביבותיך׃ 8
Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, ani akufaanana? Oli wa buyinza, Ayi Mukama, ojjudde obwesigwa.
אתה מושל בגאות הים בשוא גליו אתה תשבחם׃ 9
Ggwe ofuga amalala g’ennyanja; amayengo gaayo bwe geekuluumulula ogakkakkanya.
אתה דכאת כחלל רהב בזרוע עזך פזרת אויביך׃ 10
Lakabu wamubetentera ddala; abalabe bo n’obasaasaanya n’omukono gwo ogw’amaanyi.
לך שמים אף לך ארץ תבל ומלאה אתה יסדתם׃ 11
Eggulu liryo, n’ensi yiyo; ensi yonna gwe wagitonda ne byonna ebigirimu.
צפון וימין אתה בראתם תבור וחרמון בשמך ירננו׃ 12
Watonda obukiikakkono n’obukiikaddyo; ensozi Taboli ne Kerumooni zitendereza erinnya lyo.
לך זרוע עם גבורה תעז ידך תרום ימינך׃ 13
Oli wa buyinza bungi nnyo; omukono gwo gwa maanyi, omukono gwo ogwa ddyo gunaagulumizibwanga.
צדק ומשפט מכון כסאך חסד ואמת יקדמו פניך׃ 14
Obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’obwakabaka bwo. Okwagala n’obwesigwa bye binaakukulemberanga.
אשרי העם יודעי תרועה יהוה באור פניך יהלכון׃ 15
Balina omukisa abantu abamanyi okukutendereza Mukama n’amaloboozi ag’essanyu; Ayi Mukama, banaatambuliranga mu ssanyu lyo.
בשמך יגילון כל היום ובצדקתך ירומו׃ 16
Banaasanyukiranga mu linnya lyo okuzibya obudde, n’obutuukirivu bwo banaabugulumizanga.
כי תפארת עזמו אתה וברצנך תרים קרננו׃ 17
Kubanga gw’obawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa. Olw’okwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olw’ekisa kyo.
כי ליהוה מגננו ולקדוש ישראל מלכנו׃ 18
Ddala ddala, Mukama ye ngabo yaffe, Omutukuvu wa Isirayiri kabaka waffe.
אז דברת בחזון לחסידיך ותאמר שויתי עזר על גבור הרימותי בחור מעם׃ 19
Mu biro biri eby’edda wayogera n’omuweereza wo omwesigwa mu kwolesebwa nti, Ngulumizizza omuzira ow’amaanyi; ngulumizizza omuvubuka okuva mu bantu abaabulijjo.
מצאתי דוד עבדי בשמן קדשי משחתיו׃ 20
Nalaba Dawudi, omuweereza wange; ne mufukako amafuta gange amatukuvu okuba kabaka.
אשר ידי תכון עמו אף זרועי תאמצנו׃ 21
Nnaamukulemberanga, n’omukono gwange gunaamunywezanga.
לא ישא אויב בו ובן עולה לא יעננו׃ 22
Tewaliba mulabe we alimuwangula, so n’aboonoonyi tebaamunyigirizenga.
וכתותי מפניו צריו ומשנאיו אגוף׃ 23
Abalabe be n’abamukyawa ndibamerengula, n’amaggye agamulwanyisa ndigabetenta.
ואמונתי וחסדי עמו ובשמי תרום קרנו׃ 24
Obwesigwa bwange n’okwagala kwange kunaabanga naye, ne mu linnya lyange aneeyongeranga okuba ow’amaanyi.
ושמתי בים ידו ובנהרות ימינו׃ 25
Alifuga okuva ku migga okutuuka ku nnyanja ennene.
הוא יקראני אבי אתה אלי וצור ישועתי׃ 26
Anankowoolanga ng’agamba nti, Ggwe Kitange era Katonda wange, ggwe Lwazi olw’Obulokozi bwange.
אף אני בכור אתנהו עליון למלכי ארץ׃ 27
Ndimufuula omwana wange omubereberye, era kabaka asinga okugulumizibwa mu bakabaka bonna ab’ensi.
לעולם אשמור לו חסדי ובריתי נאמנת לו׃ 28
Okwagala kwange kunaabeeranga naye ennaku zonna; n’endagaano gye nkoze naye teeremenga kutuukirira.
ושמתי לעד זרעו וכסאו כימי שמים׃ 29
Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna, n’obwakabaka bunaavanga mu kika kye ennaku zonna.
אם יעזבו בניו תורתי ובמשפטי לא ילכון׃ 30
Abaana be bwe banaanyoomanga amateeka gange, ne batagoberera biragiro byange;
אם חקתי יחללו ומצותי לא ישמרו׃ 31
bwe banaamenyanga ebiragiro byange, ne batagondera mateeka gange,
ופקדתי בשבט פשעם ובנגעים עונם׃ 32
ndibabonereza n’omuggo olw’ebibi byabwe, ne mbakuba emiggo olw’ebyonoono byabwe.
וחסדי לא אפיר מעמו ולא אשקר באמונתי׃ 33
Naye ssirirekayo kumwagala, wadde okumenyawo obwesigwa bwange gy’ali.
לא אחלל בריתי ומוצא שפתי לא אשנה׃ 34
Sigenda kulemwa kutuukiriza ndagaano yange, wadde okukyusa ku ebyo akamwa kange bye koogedde.
אחת נשבעתי בקדשי אם לדוד אכזב׃ 35
Nalayira omulundi gumu, ng’obutuukirivu bwange bwe buli, nti, “Dawudi sigenda kumulimba.”
זרעו לעולם יהיה וכסאו כשמש נגדי׃ 36
Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna; n’entebe ye ey’obwakabaka enaabeerangawo emirembe gyonna okufaanana ng’enjuba.
כירח יכון עולם ועד בשחק נאמן סלה׃ 37
Entebe ye ey’obwakabaka erinywezebwa emirembe n’emirembe, ng’omwezi ku ggulu era nga ye mujulirwa wange omwesigwa.
ואתה זנחת ותמאס התעברת עם משיחך׃ 38
Naye kaakano, gwe wafukako amafuta omusudde, omukyaye era omunyiigidde.
נארתה ברית עבדך חללת לארץ נזרו׃ 39
Endagaano gye wakola n’omuweereza wo wagimenyawo, n’engule ye n’ogisuula eri mu nfuufu.
פרצת כל גדרתיו שמת מבצריו מחתה׃ 40
Wamenyaamenya bbugwe we yenna, n’oggyawo n’ebigo bye.
שסהו כל עברי דרך היה חרפה לשכניו׃ 41
Abatambuze baanyaga ebintu bye; n’afuuka ekisekererwa mu baliraanwa be.
הרימות ימין צריו השמחת כל אויביו׃ 42
Wayimusa omukono gw’abalabe be ogwa ddyo, n’osanyusa abalabe be bonna.
אף תשיב צור חרבו ולא הקימתו במלחמה׃ 43
Wakyusa ekitala kye n’otomuyamba mu lutalo.
השבת מטהרו וכסאו לארץ מגרתה׃ 44
Ekitiibwa kye wakikomya; entebe ye ey’obwakabaka n’ogisuula wansi.
הקצרת ימי עלומיו העטית עליו בושה סלה׃ 45
Ennaku z’obuvuka bwe wazisalako, n’omuswaza.
עד מה יהוה תסתר לנצח תבער כמו אש חמתך׃ 46
Ayi Mukama, olyekweka ennaku zonna? Obusungu bwo obubuubuuka ng’omuliro bulikoma ddi?
זכר אני מה חלד על מה שוא בראת כל בני אדם׃ 47
Jjukira ekiseera ky’obulamu bwange nga bwe kiri ekimpi. Wateganira bwereere okutonda abantu bonna!
מי גבר יחיה ולא יראה מות ימלט נפשו מיד שאול סלה׃ (Sheol h7585) 48
Muntu ki omulamu atalifa, omuntu asobola okwewonya okufa n’awangula amaanyi g’emagombe? (Sheol h7585)
איה חסדיך הראשנים אדני נשבעת לדוד באמונתך׃ 49
Ayi Mukama, okwagala kwo okw’edda okutaggwaawo, kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo, kuli luuyi wa?
זכר אדני חרפת עבדיך שאתי בחיקי כל רבים עמים׃ 50
Ayi Mukama, jjukira abaweereza bo nga basekererwa, engeri abantu ab’omu mawanga amangi, bwe banzitoowerera mu mutima nga banvuma;
אשר חרפו אויביך יהוה אשר חרפו עקבות משיחך׃ 51
abalabe bo banvuma, Ayi Mukama; ne bajerega oyo gwe wafukako amafuta, nga bamukijjanya buli gy’alaga.
ברוך יהוה לעולם אמן ואמן׃ 52
Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna!

< תהילים 89 >