< תהילים 80 >
למנצח אל ששנים עדות לאסף מזמור רעה ישראל האזינה נהג כצאן יוסף ישב הכרובים הופיעה׃ | 1 |
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Amalanga g’Endagaano.” Zabbuli ya Asafu. Wulira, Ayi Omusumba wa Isirayiri; ggwe akulembera Yusufu ng’alunda ekisibo kyo; ggwe atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu bakerubi, twakire.
לפני אפרים ובנימן ומנשה עוררה את גבורתך ולכה לישעתה לנו׃ | 2 |
Amaanyi go galabike mu Efulayimu, ne mu Benyamini ne mu Manase, ojje otulokole.
אלהים השיבנו והאר פניך ונושעה׃ | 3 |
Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda, otutunuulize amaaso ag’ekisa, otulokole.
יהוה אלהים צבאות עד מתי עשנת בתפלת עמך׃ | 4 |
Ayi Katonda, Mukama ow’Eggye, olituusa ddi okusunguwalira okusaba kw’abantu bo?
האכלתם לחם דמעה ותשקמו בדמעות שליש׃ | 5 |
Wabaliisa emmere ejjudde amaziga; n’obanywesa ebikopo by’amaziga musera.
תשימנו מדון לשכנינו ואיבינו ילעגו למו׃ | 6 |
Otufudde eky’okusekererwa mu baliraanwa baffe, n’abalabe baffe ne batuduulira.
אלהים צבאות השיבנו והאר פניך ונושעה׃ | 7 |
Tukomyewo gy’oli, Ayi Mukama ow’Eggye, otutunuulize amaaso go ag’ekisa, tulokolebwe.
גפן ממצרים תסיע תגרש גוים ותטעה׃ | 8 |
Waleeta omuzabbibu ng’oguggya mu Misiri; n’ogobamu amawanga agaali mu nsi muno n’ogusimba.
פנית לפניה ותשרש שרשיה ותמלא ארץ׃ | 9 |
Wagulongooseza ettaka, ne gumera, emirandira ne ginywera bulungi, ne gwagaagala mu nsi.
כסו הרים צלה וענפיה ארזי אל׃ | 10 |
Ekisiikirize kyagwo ne kibikka ensozi, n’amatabi gaagwo ne gaba ng’emivule egy’amaanyi.
תשלח קצירה עד ים ואל נהר יונקותיה׃ | 11 |
Amatabi gaagwo ne gatuuka ku Nnyanja eya Wakati n’amatabi g’ennyanja gaayo ne gatuuka ku Mugga Fulaati.
למה פרצת גדריה וארוה כל עברי דרך׃ | 12 |
Kale wamenyera ki ebisenge byagwo, abayitawo bonna ne beenogera ebibala byagwo?
יכרסמנה חזיר מיער וזיז שדי ירענה׃ | 13 |
Embizzi ez’omu kibira zigwonoona, na buli nsolo ey’omu nsiko egulya.
אלהים צבאות שוב נא הבט משמים וראה ופקד גפן זאת׃ | 14 |
Tukyukire, Ayi Katonda ow’Eggye, otunuulire ensi ng’osinziira mu ggulu; olabirire omuzabbibu guno.
וכנה אשר נטעה ימינך ועל בן אמצתה לך׃ | 15 |
Gwe wagwesimbira n’omukono gwo ogwa ddyo, era ggwe weerondera omwana wo.
שרפה באש כסוחה מגערת פניך יאבדו׃ | 16 |
Bagutemye, ne bagwokya omuliro; abakoze ekyo banenye mu bukambwe, obazikirize.
תהי ידך על איש ימינך על בן אדם אמצת לך׃ | 17 |
Naye muwe amaanyi omusajja oyo gw’oyagala era omwana oyo gwe weerondera.
ולא נסוג ממך תחינו ובשמך נקרא׃ | 18 |
Bwe tutyo tuleme okukuvaako, n’okukukuba amabega. Otuzzeemu amaanyi, naffe tunaakoowoolanga erinnya lyo.
יהוה אלהים צבאות השיבנו האר פניך ונושעה׃ | 19 |
Otukomyewo gy’oli, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, otutunuulize amaaso go ag’ekisa, tulyoke tulokolebwe.