< תהילים 8 >

למנצח על הגתית מזמור לדוד יהוה אדנינו מה אדיר שמך בכל הארץ אשר תנה הודך על השמים׃ 1
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna! Ekitiibwa kyo kitenderezebwa okutuuka waggulu mu ggulu.
מפי עוללים וינקים יסדת עז למען צורריך להשבית אויב ומתנקם׃ 2
Abaana abato n’abawere wabawa amaanyi okukutendereza; ne basirisa omulabe wo n’oyo ayagala okwesasuza.
כי אראה שמיך מעשי אצבעתיך ירח וכוכבים אשר כוננתה׃ 3
Bwe ntunuulira eggulu lyo, omulimu gw’engalo zo, omwezi n’emmunyeenye bye watonda;
מה אנוש כי תזכרנו ובן אדם כי תפקדנו׃ 4
omuntu kye ki ggwe okumujjukira, omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo?
ותחסרהו מעט מאלהים וכבוד והדר תעטרהו׃ 5
Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda; n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.
תמשילהו במעשי ידיך כל שתה תחת רגליו׃ 6
Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo: byonna wabissa wansi w’ebigere bye,
צנה ואלפים כלם וגם בהמות שדי׃ 7
ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,
צפור שמים ודגי הים עבר ארחות ימים׃ 8
n’ennyonyi ez’omu bbanga, n’ebyennyanja eby’omu nnyanja; era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.
יהוה אדנינו מה אדיר שמך בכל הארץ׃ 9
Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!

< תהילים 8 >