< תהילים 77 >

למנצח על ידיתון לאסף מזמור קולי אל אלהים ואצעקה קולי אל אלהים והאזין אלי׃ 1
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu. Nnaakaabirira Katonda ambeere, ddala nnaakaabirira Katonda nga musaba ampulire.
ביום צרתי אדני דרשתי ידי לילה נגרה ולא תפוג מאנה הנחם נפשי׃ 2
Bwe nnali mu nnaku, nanoonya Mukama, ekiro kyonna ne ngolola emikono gyange obutakoowa; emmeeme yange neegaana okusanyusibwa.
אזכרה אלהים ואהמיה אשיחה ותתעטף רוחי סלה׃ 3
Nakujjukiranga, Ayi Katonda ne nsinda, ne nfumiitiriza emmeeme yange n’ezirika.
אחזת שמרות עיני נפעמתי ולא אדבר׃ 4
Tewaŋŋanya kwebaka; natawaanyizibwa nnyo ne sisobola kwogera.
חשבתי ימים מקדם שנות עולמים׃ 5
Ne ndowooza ku biseera eby’edda, ne nzijukira emyaka egyayita.
אזכרה נגינתי בלילה עם לבבי אשיחה ויחפש רוחי׃ 6
Najjukiranga ennyimba zange ekiro, ne nfumiitiriza nga bwe neebuuza mu mutima gwange nti:
הלעולמים יזנח אדני ולא יסיף לרצות עוד׃ 7
“Mukama anaatusuuliranga ddala ennaku zonna naataddayo kutulaga kisa kye?
האפס לנצח חסדו גמר אמר לדר ודר׃ 8
Okwagala kwe okutaggwaawo kukomedde ddala? Kye yasuubiza kibulidde ddala emirembe n’emirembe?
השכח חנות אל אם קפץ באף רחמיו סלה׃ 9
Katonda yeerabidde ekisa kye? Asunguwalidde ddala ne yeggyako n’okusaasira kwe?”
ואמר חלותי היא שנות ימין עליון׃ 10
Awo ne ndowooza nti, “Ebyo bye mmanyi eby’emyaka emingi eby’omukono ogwa ddyo ogw’oyo Ali Waggulu Ennyo.”
אזכיר מעללי יה כי אזכרה מקדם פלאך׃ 11
Nnajjukiranga ebikolwa bya Mukama, weewaawo, nnajjukiranga ebyamagero byo eby’edda.
והגיתי בכל פעלך ובעלילותיך אשיחה׃ 12
Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo byonna eby’amaanyi; nnaalowoozanga ku byamagero byo byonna.
אלהים בקדש דרכך מי אל גדול כאלהים׃ 13
Ekkubo lyo, Ayi Katonda, liri mu watukuvu. Tewali katonda yenkana Katonda waffe.
אתה האל עשה פלא הודעת בעמים עזך׃ 14
Ggwe Katonda akola eby’amagero; era amaanyi go ogalaga mu mawanga.
גאלת בזרוע עמך בני יעקב ויוסף סלה׃ 15
Wanunula abantu bo n’omukono gwo, abazzukulu ba Yakobo ne Yusufu.
ראוך מים אלהים ראוך מים יחילו אף ירגזו תהמות׃ 16
Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda; amazzi bwe gaakulaba ne gatya, n’obuziba ne bukankanira ddala.
זרמו מים עבות קול נתנו שחקים אף חצציך יתהלכו׃ 17
Ebire byayiwa amazzi ne bivaamu n’okubwatuka, era n’obusaale bwo ne bubuna.
קול רעמך בגלגל האירו ברקים תבל רגזה ותרעש הארץ׃ 18
Eddoboozi lyo ery’okubwatuka lyawulirwa mu kikuŋŋunta okumyansa kwo ne kumulisa ensi. Ensi n’ekankana n’enyeenyezebwa.
בים דרכך ושביליך במים רבים ועקבותיך לא נדעו׃ 19
Ekkubo lyo lyali mu nnyanja; wayita mu mazzi amangi, naye ebigere mwe walinnya tebyalabika.
נחית כצאן עמך ביד משה ואהרן׃ 20
Wakulembera abantu bo ng’ekisibo, nga bali mu mikono gya Musa ne Alooni.

< תהילים 77 >