< תהילים 72 >
לשלמה אלהים משפטיך למלך תן וצדקתך לבן מלך׃ | 1 |
Zabbuli ya Sulemaani. Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya, ne mutabani we omuwe obutuukirivu,
ידין עמך בצדק וענייך במשפט׃ | 2 |
alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu, n’abaavu abalamulenga mu mazima.
ישאו הרים שלום לעם וגבעות בצדקה׃ | 3 |
Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana n’obusozi bubaleetere obutuukirivu.
ישפט עניי עם יושיע לבני אביון וידכא עושק׃ | 4 |
Anaalwaniriranga abaavu, n’atereeza abaana b’abo abeetaaga, n’omujoozi n’amusaanyaawo.
ייראוך עם שמש ולפני ירח דור דורים׃ | 5 |
Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma okwaka mu mirembe gyonna.
ירד כמטר על גז כרביבים זרזיף ארץ׃ | 6 |
Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa, afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi.
יפרח בימיו צדיק ורב שלום עד בלי ירח׃ | 7 |
Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe, n’okufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka!
וירד מים עד ים ומנהר עד אפסי ארץ׃ | 8 |
Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, n’okuva ku mugga Fulaati okutuuka ku nkomerero z’ensi!
לפניו יכרעו ציים ואיביו עפר ילחכו׃ | 9 |
Ebika eby’omu malungu bimugonderenga, n’abalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu.
מלכי תרשיש ואיים מנחה ישיבו מלכי שבא וסבא אשכר יקריבו׃ | 10 |
Bakabaka b’e Talusiisi n’ab’oku bizinga eby’ewala bamuwenga omusolo; bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba bamutonerenga ebirabo.
וישתחוו לו כל מלכים כל גוים יעבדוהו׃ | 11 |
Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge; amawanga gonna ganaamuweerezanga.
כי יציל אביון משוע ועני ואין עזר לו׃ | 12 |
Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga, n’omwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi.
יחס על דל ואביון ונפשות אביונים יושיע׃ | 13 |
Anaasaasiranga omunafu n’omwavu; n’awonya obulamu bwa kateeyamba.
מתוך ומחמס יגאל נפשם וייקר דמם בעיניו׃ | 14 |
Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe; kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali.
ויחי ויתן לו מזהב שבא ויתפלל בעדו תמיד כל היום יברכנהו׃ | 15 |
Awangaale! Aleeterwe zaabu okuva e Syeba. Abantu bamwegayiririrenga era bamusabirenga emikisa buli lunaku.
יהי פסת בר בארץ בראש הרים ירעש כלבנון פריו ויציצו מעיר כעשב הארץ׃ | 16 |
Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi, ebikke n’entikko z’ensozi. Ebibala byayo byale ng’eby’e Lebanooni; n’abantu baale mu bibuga ng’omuddo ogw’oku ttale.
יהי שמו לעולם לפני שמש ינין שמו ויתברכו בו כל גוים יאשרוהו׃ | 17 |
Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna, n’okwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ng’enjuba. Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lw’erinnya lye, era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa.
ברוך יהוה אלהים אלהי ישראל עשה נפלאות לבדו׃ | 18 |
Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri, oyo yekka akola ebyewuunyisa.
וברוך שם כבודו לעולם וימלא כבודו את כל הארץ אמן ואמן׃ | 19 |
Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe! Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye.
Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kukomye awo.