< תהילים 65 >

למנצח מזמור לדוד שיר לך דמיה תהלה אלהים בציון ולך ישלם נדר׃ 1
Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi. Osaanira okutenderezebwanga, Ayi Katonda, ali mu Sayuuni; tunaatuukiririzanga obweyamo bwaffe gy’oli.
שמע תפלה עדיך כל בשר יבאו׃ 2
Ayi ggwe awulira okusaba kw’abantu bo, abantu bonna banajjanga gy’oli olw’ebibi byabwe.
דברי עונת גברו מני פשעינו אתה תכפרם׃ 3
Ebibi byaffe bwe byatusukkirira, n’otutangiririra.
אשרי תבחר ותקרב ישכן חצריך נשבעה בטוב ביתך קדש היכלך׃ 4
Alina omukisa oyo gw’olonda n’omusembeza okumpi naawe, abeerenga mu mpya zo. Tunaamalibwanga ebirungi eby’omu nnyumba yo; eby’omu Yeekaalu yo entukuvu.
נוראות בצדק תעננו אלהי ישענו מבטח כל קצוי ארץ וים רחקים׃ 5
Otwanukula n’ebikolwa byo eby’obutuukirivu eby’entiisa n’otulokola, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe; ggwe ssuubi ly’abo abali mu nsi yonna n’abo bonna abali ewala mu nnyanja zonna,
מכין הרים בכחו נאזר בגבורה׃ 6
ggwe, eyakola ensozi n’obuyinza bwo, n’ozinyweza n’amaanyi go,
משביח שאון ימים שאון גליהם והמון לאמים׃ 7
ggwe, asirisa okusiikuuka kw’ennyanja, n’okkakkanya okwetabula kw’amayengo gaayo, era ggw’okkakkanya okwegugunga kw’amawanga.
וייראו ישבי קצות מאותתיך מוצאי בקר וערב תרנין׃ 8
Abo bonna ababeera ewala balaba ne batya ebyewuunyo byo; ne bakuyimbira ennyimba ez’essanyu okuva ku makya okutuusa akawungeezi.
פקדת הארץ ותשקקה רבת תעשרנה פלג אלהים מלא מים תכין דגנם כי כן תכינה׃ 9
Ensi ogirabirira n’ogifukirira n’egimuka nnyo. Emigga gya Katonda gijjudde amazzi, okuwa abantu emmere ey’empeke, kubanga bw’otyo bwe wakiteekateeka.
תלמיה רוה נחת גדודיה ברביבים תמגגנה צמחה תברך׃ 10
Otonnyesa enkuba mu nnimiro, n’ojjuza ebitaba byamu; n’ogonza ettaka, ebibala by’omu nsi n’obiwa omukisa.
עטרת שנת טובתך ומעגליך ירעפון דשן׃ 11
Ofundikira omwaka n’amakungula amangi, ebigaali ne bigenda nga byetisse ebibala nga bikubyeko.
ירעפו נאות מדבר וגיל גבעות תחגרנה׃ 12
Ebifo awali omuddo mu ddungu bijjula amazzi, n’obusozi ne bulabika bulungi nga bweyagala.
לבשו כרים הצאן ועמקים יעטפו בר יתרועעו אף ישירו׃ 13
Amalundiro gajjula ebisibo, n’ebiwonvu ne bijjula emmere ey’empeke. Ensi yonna eyimba mu ddoboozi ery’omwanguka ng’ejjudde essanyu.

< תהילים 65 >