< תהילים 60 >

למנצח על שושן עדות מכתם לדוד ללמד בהצותו את ארם נהרים ואת ארם צובה וישב יואב ויך את אדום בגיא מלח שנים עשר אלף אלהים זנחתנו פרצתנו אנפת תשובב לנו׃ 1
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Eddanga ery’Endagaano.” Zabbuli ya Dawudi. Yakuyigiriza. Dawudi bwe yalwana n’Abaalamu abaava e Nakalayimu n’abaava e Zoba, Yowaabu n’akomawo n’atta Abayedomu omutwalo gumu mu enkumi bbiri mu Kiwonvu eky’Omunnyo. Otusudde, Ayi Katonda, otumazeemu amaanyi, otunyiigidde. Tukwegayiridde otuzze gy’oli.
הרעשתה ארץ פצמתה רפה שבריה כי מטה׃ 2
Ensi ogiyuuguumizza n’ogyasaayasa; tukwegayirira enjatika ozizibe, kubanga ekankana.
הראיתה עמך קשה השקיתנו יין תרעלה׃ 3
Obadde mukambwe nnyo eri abantu bo; tuli nga b’owadde omwenge omungi ne gututagaza.
נתתה ליראיך נס להתנוסס מפני קשט סלה׃ 4
Naye abo abakutya obawanikidde ebbendera okuba akabonero akabakuŋŋaanya awamu, era akatiisa abalabe baabwe.
למען יחלצון ידידיך הושיעה ימינך ועננו׃ 5
Otulokole era otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo, abakwagala baleme kutuukibwako kabi konna.
אלהים דבר בקדשו אעלזה אחלקה שכם ועמק סכות אמדד׃ 6
Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu, n’agamba nti, “Mu buwanguzi, ndisala mu Sekemu, era n’ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
לי גלעד ולי מנשה ואפרים מעוז ראשי יהודה מחקקי׃ 7
Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange. Efulayimu ye nkufiira ey’oku mutwe gwange; ate Yuda gwe muggo gwange ogw’okufuga.
מואב סיר רחצי על אדום אשליך נעלי עלי פלשת התרעעי׃ 8
Mowaabu kye kinaabirwamu kyange, ate Edomu gye nkasuka engatto yange: ne ku Bafirisuuti ndeekaana mu buwanguzi.”
מי יבלני עיר מצור מי נחני עד אדום׃ 9
Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu? Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
הלא אתה אלהים זנחתנו ולא תצא אלהים בצבאותינו׃ 10
Si ggwe Ayi Katonda, atusudde, atakyatabaala na magye gaffe?
הבה לנו עזרת מצר ושוא תשועת אדם׃ 11
Tudduukirire, nga tulwanyisa abalabe baffe, kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
באלהים נעשה חיל והוא יבוס צרינו׃ 12
Bwe tunaabeeranga ne Katonda, tunaabanga bawanguzi, kubanga ye y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.

< תהילים 60 >