< תהילים 38 >
מזמור לדוד להזכיר יהוה אל בקצפך תוכיחני ובחמתך תיסרני׃ | 1 |
Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza. Ayi Mukama tonnenya ng’okyaliko obusungu, oba okunkangavvula ng’oliko ekiruyi.
כי חציך נחתו בי ותנחת עלי ידך׃ | 2 |
Kubanga obusaale bwo bunfumise, n’omuggo gwo gunkubye nnyo.
אין מתם בבשרי מפני זעמך אין שלום בעצמי מפני חטאתי׃ | 3 |
Obusungu bwo bundwazizza nzenna, n’amagumba gange gonna gansagala olw’ebyonoono byange.
כי עונתי עברו ראשי כמשא כבד יכבדו ממני׃ | 4 |
Omusango gwe nzizizza guyitiridde, gunzitoowerera ng’omugugu omunene oguteetikkika.
הבאישו נמקו חבורתי מפני אולתי׃ | 5 |
Ebiwundu byange bitanye era biwunya, olw’okwonoona kwange okw’obusirusiru.
נעויתי שחתי עד מאד כל היום קדר הלכתי׃ | 6 |
Nkootakoota era mpweddemu ensa, ŋŋenda nsinda obudde okuziba.
כי כסלי מלאו נקלה ואין מתם בבשרי׃ | 7 |
Omugongo gunnuma nnyo, ne mu mubiri gwange temukyali bulamu.
נפוגותי ונדכיתי עד מאד שאגתי מנהמת לבי׃ | 8 |
Sikyalimu maanyi era nzenna mmenyesemenyese; nsinda buli bbanga olw’obulumi mu mutima.
אדני נגדך כל תאותי ואנחתי ממך לא נסתרה׃ | 9 |
Mukama, bye neetaaga byonna obimanyi, n’okusinda kwange okuwulira.
לבי סחרחר עזבני כחי ואור עיני גם הם אין אתי׃ | 10 |
Omutima gumpejjawejja, amaanyi gampweddemu; n’okulaba sikyalaba.
אהבי ורעי מנגד נגעי יעמדו וקרובי מרחק עמדו׃ | 11 |
Mikwano gyange ne be nayitanga nabo banneewala olw’amabwa gange; ne bannange tebakyansemberera.
וינקשו מבקשי נפשי ודרשי רעתי דברו הוות ומרמות כל היום יהגו׃ | 12 |
Abaagala okunzita bantega emitego, n’abo abangigganya bateesa okummalawo. Buli bbanga baba bateesa kunkola kabi.
ואני כחרש לא אשמע וכאלם לא יפתח פיו׃ | 13 |
Ndi ng’omuggavu w’amatu, atawulira; nga kiggala, atayogera.
ואהי כאיש אשר לא שמע ואין בפיו תוכחות׃ | 14 |
Nfuuse ng’omuntu atalina ky’awulira, atasobola kwanukula.
כי לך יהוה הוחלתי אתה תענה אדני אלהי׃ | 15 |
Ddala ddala nnindirira ggwe, Ayi Mukama, onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange.
כי אמרתי פן ישמחו לי במוט רגלי עלי הגדילו׃ | 16 |
Tobakkiriza kunneeyagalirako, oba okunneegulumirizaako ng’ekigere kyange kiseeredde.
כי אני לצלע נכון ומכאובי נגדי תמיד׃ | 17 |
Kubanga nsemberedde okugwa, era nga nnumwa buli kiseera.
כי עוני אגיד אדאג מחטאתי׃ | 18 |
Ddala ddala njatula ebyonoono byange; nnumirizibwa ekibi kyange.
ואיבי חיים עצמו ורבו שנאי שקר׃ | 19 |
Abalabe bange bangi era ba maanyi; n’abo abankyayira obwereere bangi nnyo.
ומשלמי רעה תחת טובה ישטנוני תחת רדופי טוב׃ | 20 |
Abalabe bange bankyawa olw’okuba omulongoofu, era bwe nkola ebirungi banjogerako ebitasaana.
אל תעזבני יהוה אלהי אל תרחק ממני׃ | 21 |
Ayi Mukama, tonjabulira; tobeera wala nange, Ayi Katonda wange.
חושה לעזרתי אדני תשועתי׃ | 22 |
Ayi Mukama Omulokozi wange, yanguwa okumbeera.