< תהילים 31 >

למנצח מזמור לדוד בך יהוה חסיתי אל אבושה לעולם בצדקתך פלטני׃ 1
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Ayi Mukama, ggwe kiddukiro kyange, leka nneme kuswazibwa. Ndokola mu butuukirivu bwo.
הטה אלי אזנך מהרה הצילני היה לי לצור מעוז לבית מצודות להושיעני׃ 2
Ontegere okutu kwo oyanguwe okunziruukirira. Beera ekiddukiro kyange eky’olwazi era ekigo eky’amaanyi eky’okumponya.
כי סלעי ומצודתי אתה ולמען שמך תנחני ותנהלני׃ 3
Nga bw’oli olwazi lwange era ekigo kyange; olw’erinnya lyo onkulembebere era onnuŋŋamye.
תוציאני מרשת זו טמנו לי כי אתה מעוזי׃ 4
Omponye mu mutego gwe banteze; kubanga ggwe kiddukiro kyange.
בידך אפקיד רוחי פדיתה אותי יהוה אל אמת׃ 5
Nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo; ondokole, Ayi Mukama, Katonda ow’amazima.
שנאתי השמרים הבלי שוא ואני אל יהוה בטחתי׃ 6
Nkyawa abo abeesiga bakatonda abalala; nze nneesiga Mukama.
אגילה ואשמחה בחסדך אשר ראית את עניי ידעת בצרות נפשי׃ 7
Nnaajaguzanga ne nsanyukira mu kwagala kwo, kubanga olabye okubonaabona kwange era omanyi ennaku endi ku mwoyo.
ולא הסגרתני ביד אויב העמדת במרחב רגלי׃ 8
Tompaddeeyo mu balabe bange, naye otadde ebigere byange mu kifo ekigazi.
חנני יהוה כי צר לי עששה בכעס עיני נפשי ובטני׃ 9
Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi; amaaso gange gakooye olw’ennaku; omwoyo gwange n’omubiri gwange nabyo binafuye olw’obuyinike.
כי כלו ביגון חיי ושנותי באנחה כשל בעוני כחי ועצמי עששו׃ 10
Obulamu bwange buweddewo olw’obunaku n’emyaka gyange ne giggwaawo olw’okusinda. Amaanyi gampweddemu olw’okwonoona kwange, n’amagumba ganafuye.
מכל צררי הייתי חרפה ולשכני מאד ופחד למידעי ראי בחוץ נדדו ממני׃ 11
Abalabe bange bonna bansekerera, banneetamiddwa. Nfuuse ekyenyinyalwa mu mikwano gyange, n’abandaba mu kkubo banziruka.
נשכחתי כמת מלב הייתי ככלי אבד׃ 12
Nneerabiddwa ng’eyafa edda; nfuuse ng’ekibumbe ekyatifu.
כי שמעתי דבת רבים מגור מסביב בהוסדם יחד עלי לקחת נפשי זממו׃ 13
Buli ludda mpulirayo obwama nga bangeya; bye banteesaako nga basala olukwe okunzita.
ואני עליך בטחתי יהוה אמרתי אלהי אתה׃ 14
Naye nneesiga ggwe, Ayi Mukama; nga njogera nti, “Oli Katonda wange.”
בידך עתתי הצילני מיד אויבי ומרדפי׃ 15
Entuuko zange ziri mu mikono gyo; ondokole mu mikono gy’abalabe bange n’abangigganya.
האירה פניך על עבדך הושיעני בחסדך׃ 16
Amaaso go ogatunuulize omuweereza wo; ondokole n’okwagala kwo okutaggwaawo.
יהוה אל אבושה כי קראתיך יבשו רשעים ידמו לשאול׃ (Sheol h7585) 17
Ayi Mukama tondeka kuswazibwa, kubanga nkukoowoola; leka abo ababi baswale, era bagalamire emagombe nga basirise. (Sheol h7585)
תאלמנה שפתי שקר הדברות על צדיק עתק בגאוה ובוז׃ 18
Akamwa kaabwe akayogera eby’obulimba kasirisibwe, kubanga boogera ebitaliimu ku batuukirivu bo, nga babyogeza amalala n’okunyooma.
מה רב טובך אשר צפנת ליראיך פעלת לחסים בך נגד בני אדם׃ 19
Obulungi bwo, bwe waterekera abo abakutya nga buyitirivu, n’obuwa mu lwatu abo abaddukira gy’oli.
תסתירם בסתר פניך מרכסי איש תצפנם בסכה מריב לשנות׃ 20
Obalabirira n’obawonya enkwe z’abalabe baabwe, n’obakuuma bulungi mu nnyumba yo, n’ennyombo z’abantu ne zitabatuukako.
ברוך יהוה כי הפליא חסדו לי בעיר מצור׃ 21
Mukama atenderezebwenga kubanga yandaga okwagala kwe okungi, bwe nnali mu kibuga kye baali bazingizza.
ואני אמרתי בחפזי נגרזתי מנגד עיניך אכן שמעת קול תחנוני בשועי אליך׃ 22
Bwe natya ennyo ne njogera nti, “Ngobeddwa mu maaso go.” Kyokka wampulira nga nkukaabirira n’onsaasira.
אהבו את יהוה כל חסידיו אמונים נצר יהוה ומשלם על יתר עשה גאוה׃ 23
Mwagalenga Mukama abatukuvu be mwenna! Mukama akuuma abo abamwesiga, naye ab’amalala ababonereza mu bujjuvu.
חזקו ויאמץ לבבכם כל המיחלים ליהוה׃ 24
Muddeemu amaanyi mugume omwoyo mmwe mwenna abalina essuubi mu Mukama.

< תהילים 31 >