< תהילים 29 >

מזמור לדוד הבו ליהוה בני אלים הבו ליהוה כבוד ועז׃ 1
Zabbuli ya Dawudi. Mutendereze Mukama, mmwe abaana b’ab’amaanyi. Mutendereze Mukama n’ekitiibwa n’amaanyi.
הבו ליהוה כבוד שמו השתחוו ליהוה בהדרת קדש׃ 2
Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye; musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.
קול יהוה על המים אל הכבוד הרעים יהוה על מים רבים׃ 3
Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi; Katonda ow’ekitiibwa abwatuka, n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.
קול יהוה בכח קול יהוה בהדר׃ 4
Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi; eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
קול יהוה שבר ארזים וישבר יהוה את ארזי הלבנון׃ 5
Eddoboozi lya Mukama limenya emivule; Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
וירקידם כמו עגל לבנון ושרין כמו בן ראמים׃ 6
Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana, ne Siriyooni ng’ennyana y’embogo.
קול יהוה חצב להבות אש׃ 7
Eddoboozi lya Mukama libwatukira mu kumyansa.
קול יהוה יחיל מדבר יחיל יהוה מדבר קדש׃ 8
Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu; Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
קול יהוה יחולל אילות ויחשף יערות ובהיכלו כלו אמר כבוד׃ 9
Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule, n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola. Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”
יהוה למבול ישב וישב יהוה מלך לעולם׃ 10
Mukama atuula waggulu w’amataba ku ntebe ye ey’obwakabaka. Mukama ye Kabaka afuga emirembe gyonna.
יהוה עז לעמו יתן יהוה יברך את עמו בשלום׃ 11
Mukama awa abantu be amaanyi; Mukama awa abantu be emirembe.

< תהילים 29 >