< תהילים 25 >

לדוד אליך יהוה נפשי אשא׃ 1
Zabbuli ya Dawudi. Eri ggwe, Ayi Mukama, gye ndeeta okusaba kwange.
אלהי בך בטחתי אל אבושה אל יעלצו איבי לי׃ 2
Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
גם כל קויך לא יבשו יבשו הבוגדים ריקם׃ 3
Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga, naye ab’enkwe baliswazibwa.
דרכיך יהוה הודיעני ארחותיך למדני׃ 4
Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama, ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
הדריכני באמתך ולמדני כי אתה אלהי ישעי אותך קויתי כל היום׃ 5
Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna; kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
זכר רחמיך יהוה וחסדיך כי מעולם המה׃ 6
Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi, kubanga byava dda.
חטאות נעורי ופשעי אל תזכר כחסדך זכר לי אתה למען טובך יהוה׃ 7
Tojjukira bibi byange n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange. Onzijukire, Ayi Mukama, ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.
טוב וישר יהוה על כן יורה חטאים בדרך׃ 8
Mukama mulungi, era wa mazima, noolwekyo ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye.
ידרך ענוים במשפט וילמד ענוים דרכו׃ 9
Abawombeefu abaluŋŋamya mu kkubo ettuufu n’abayigiriza ekkubo lye.
כל ארחות יהוה חסד ואמת לנצרי בריתו ועדתיו׃ 10
Amakubo ga Mukama gonna gajjudde okwagala n’amazima eri abo abagondera endagaano ye n’ebiragiro bye.
למען שמך יהוה וסלחת לעוני כי רב הוא׃ 11
Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama, onsonyiwe ebibi byange, kubanga bingi.
מי זה האיש ירא יהוה יורנו בדרך יבחר׃ 12
Omuntu wa ngeri ki atya Katonda? Oyo gw’anaayigirizanga okukwata ekkubo lye yamulondera.
נפשו בטוב תלין וזרעו יירש ארץ׃ 13
Obulamu bwe bunajjuzibwanga emikisa gya Katonda, era bazzukulu be ensi eriba yaabwe.
סוד יהוה ליראיו ובריתו להודיעם׃ 14
Mikwano gya Mukama be bo abamugondera; anaababikkuliranga ekyama eky’endagaano ye.
עיני תמיד אל יהוה כי הוא יוציא מרשת רגלי׃ 15
Ntunuulira Mukama buli kiseera, kubanga yekka y’anzigya mu kabi.
פנה אלי וחנני כי יחיד ועני אני׃ 16
Nkyukira, Ayi Mukama, onkwatirwe ekisa, kubanga nsigadde bw’omu, era ndi munafu.
צרות לבבי הרחיבו ממצוקותי הוציאני׃ 17
Obuyinike bweyongedde mu mutima gwange; mponya okweraliikirira kwange.
ראה עניי ועמלי ושא לכל חטאותי׃ 18
Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange; onzigyeko ebibi byange byonna.
ראה אויבי כי רבו ושנאת חמס שנאוני׃ 19
Laba abalabe bange nga bwe beeyongedde obungi n’okunkyawa kwe bankyawamu!
שמרה נפשי והצילני אל אבוש כי חסיתי בך׃ 20
Labiriranga obulamu bwange, obamponye; tondekanga mu buswavu, kubanga ggwe kiddukiro kyange.
תם וישר יצרוני כי קויתיך׃ 21
Amazima n’obulongoofu bindabirirenga, essubi lyange liri mu ggwe.
פדה אלהים את ישראל מכל צרותיו׃ 22
Nunula Isirayiri, Ayi Katonda, omuwonye emitawaana gye gyonna.

< תהילים 25 >