< תהילים 22 >

למנצח על אילת השחר מזמור לדוד אלי אלי למה עזבתני רחוק מישועתי דברי שאגתי׃ 1
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde? Lwaki ogaana okunnyamba wadde okuwuliriza okwaziirana kwange?
אלהי אקרא יומם ולא תענה ולילה ולא דומיה לי׃ 2
Ayi Katonda wange, emisana nkukoowoola, naye tonnyanukula; n’ekiro bwe ntyo, naye siweerako.
ואתה קדוש יושב תהלות ישראל׃ 3
Songa ggwe Mutukuvu atudde ku Ntebe, era ettendo lya Isirayiri yonna.
בך בטחו אבתינו בטחו ותפלטמו׃ 4
Bajjajjaffe baakwesiganga; baakwesiga naawe n’obawonya.
אליך זעקו ונמלטו בך בטחו ולא בושו׃ 5
Baakukoowoolanga n’obalokola; era baakwesiganga ne batajulirira.
ואנכי תולעת ולא איש חרפת אדם ובזוי עם׃ 6
Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, siri muntu; abantu bampisaamu amaaso, n’abalala bannyooma.
כל ראי ילעגו לי יפטירו בשפה יניעו ראש׃ 7
Bonna abandaba banduulira, era banvuma nga bwe banyeenyeza omutwe nga bagamba nti,
גל אל יהוה יפלטהו יצילהו כי חפץ בו׃ 8
“Yeesiga Mukama; kale amuwonye. Obanga Mukama amwagala, kale nno amulokole!”
כי אתה גחי מבטן מבטיחי על שדי אמי׃ 9
Naye ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange, era wampa okukwesiga ne mu buto bwange bwonna nga nkyayonka.
עליך השלכתי מרחם מבטן אמי אלי אתה׃ 10
Olwazaalibwa ne nteekebwa mu mikono gyo; olwava mu lubuto lwa mmange n’obeera Katonda wange.
אל תרחק ממני כי צרה קרובה כי אין עוזר׃ 11
Tobeera wala nange, kubanga emitawaana ginsemberedde, ate nga tewali mulala n’omu asobola kunnyamba.
סבבוני פרים רבים אבירי בשן כתרוני׃ 12
Zisseddume nnyingi zinneetoolodde, zisseddume enkambwe ez’e Basani zinzingizizza.
פצו עלי פיהם אריה טרף ושאג׃ 13
Banjasamiza akamwa kaabwe ng’empologoma bw’ewuluguma ng’etaagulataagula omuyiggo gwayo.
כמים נשפכתי והתפרדו כל עצמותי היה לבי כדונג נמס בתוך מעי׃ 14
Ngiyiddwa ng’amazzi, n’amagumba gange gasowose mu nnyingo zaago. Omutima gwange guli ng’obubaane, era gusaanuukidde mu mubiri gwange.
יבש כחרש כחי ולשוני מדבק מלקוחי ולעפר מות תשפתני׃ 15
Amaanyi gampweddemu, gakaze ng’oluggyo; n’olulimi lwange lukutte waggulu mu kibuno kyange. Ondese awo mu nfuufu ng’omufu.
כי סבבוני כלבים עדת מרעים הקיפוני כארי ידי ורגלי׃ 16
Abantu ababi banneetoolodde; banneebunguludde ng’embwa ennyingi; banfumise ne bawummula ebibatu byange n’ebigere byange.
אספר כל עצמותי המה יביטו יראו בי׃ 17
Amagumba gansowose nnyinza n’okugabala. Abalabe bange bantunuulira nga bannyoomoola.
יחלקו בגדי להם ועל לבושי יפילו גורל׃ 18
Bagabana engoye zange; era ekyambalo kyange bakikubira akalulu.
ואתה יהוה אל תרחק אילותי לעזרתי חושה׃ 19
Naye ggwe, Ayi Mukama, tobeera wala nange. Ggwe, Amaanyi gange, yanguwa okunnyamba!
הצילה מחרב נפשי מיד כלב יחידתי׃ 20
Omponye okuttibwa n’ekitala; obulamu bwange obw’omuwendo butaase mu maanyi g’embwa!
הושיעני מפי אריה ומקרני רמים עניתני׃ 21
Nzigya mu kamwa k’empologoma, omponye amayembe g’embogo enkambwe.
אספרה שמך לאחי בתוך קהל אהללך׃ 22
Nnaategezanga ku linnya lyo mu booluganda; nnaakutenderezanga mu kibiina ky’abantu.
יראי יהוה הללוהו כל זרע יעקב כבדוהו וגורו ממנו כל זרע ישראל׃ 23
Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga. Abaana ba Yakobo mwenna mumugulumizenga; era mumussengamu ekitiibwa nga mumutya, mmwe abaana ba Isirayiri mwenna.
כי לא בזה ולא שקץ ענות עני ולא הסתיר פניו ממנו ובשועו אליו שמע׃ 24
Kubanga tanyooma kwaziirana kw’abo abali mu nnaku, era tabeekweka, wabula abaanukula bwe bamukoowoola.
מאתך תהלתי בקהל רב נדרי אשלם נגד יראיו׃ 25
Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene, ne nkutendereza olw’ebyo by’onkoledde. Obweyamo bwange nnaabutuukirizanga mu maaso gaabo abakutya.
יאכלו ענוים וישבעו יהללו יהוה דרשיו יחי לבבכם לעד׃ 26
Abaavu banaalyanga ne bakkuta, abo abanoonya Mukama banaamutenderezanga. Emitima gyabwe ginaajaguzanga emirembe gyonna.
יזכרו וישבו אל יהוה כל אפסי ארץ וישתחוו לפניך כל משפחות גוים׃ 27
Ensi zonna zirijjukira ne zikyukira Mukama, ebika byonna eby’amawanga gonna birimuvuunamira.
כי ליהוה המלוכה ומשל בגוים׃ 28
Kubanga obwakabaka bwonna bwa Mukama, era y’afuga amawanga gonna.
אכלו וישתחוו כל דשני ארץ לפניו יכרעו כל יורדי עפר ונפשו לא חיה׃ 29
Abagagga bonna ab’omu nsi balirya embaga, ne bamusinza. Bonna abagenda mu nfuufu, balimufukaamirira, abatakyali balamu.
זרע יעבדנו יספר לאדני לדור׃ 30
Ezadde lyabwe lirimuweereza; abaliddawo balibuulirwa ekigambo kya Mukama.
יבאו ויגידו צדקתו לעם נולד כי עשה׃ 31
N’abo abatannazaalibwa balibuulirwa obutuukirivu bwe nti, “Ekyo yakikoze.”

< תהילים 22 >