< תהילים 21 >

למנצח מזמור לדוד יהוה בעזך ישמח מלך ובישועתך מה יגיל מאד׃ 1
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Ayi Mukama, kabaka ajaguliza mu maanyi go. Obuwanguzi bw’omuwadde nga bumuleetedde essanyu lingi!
תאות לבו נתתה לו וארשת שפתיו בל מנעת סלה׃ 2
Omuwadde omutima gwe bye gwetaaga, era buli ky’asabye n’akamwa ke tokimummye.
כי תקדמנו ברכות טוב תשית לראשו עטרת פז׃ 3
Ddala ddala wamwaniriza n’emikisa gyo egijjudde ebirungi, n’omutikkira engule eya zaabu omuka ennyo ku mutwe gwe.
חיים שאל ממך נתתה לו ארך ימים עולם ועד׃ 4
Yakusaba obulamu, era n’obumuwa, ennaku ennyingi ez’emirembe n’emirembe.
גדול כבודו בישועתך הוד והדר תשוה עליו׃ 5
Obuwanguzi bwe wamuwa bumuleetedde ekitiibwa kinene. Omuwadde ekitiibwa n’oyatiikirira.
כי תשיתהו ברכות לעד תחדהו בשמחה את פניך׃ 6
Ddala omuwadde emikisa gyo egy’olubeerera, n’omujjuza essanyu ng’oli naye buli kiseera.
כי המלך בטח ביהוה ובחסד עליון בל ימוט׃ 7
Kubanga kabaka yeesiga Mukama, era olw’okwagala okutaggwaawo okw’oyo Ali Waggulu Ennyo, kabaka tagenda kunyeenyezebwa.
תמצא ידך לכל איביך ימינך תמצא שנאיך׃ 8
Omukono gwo guliwamba abalabe bo bonna; omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo abakukyawa.
תשיתמו כתנור אש לעת פניך יהוה באפו יבלעם ותאכלם אש׃ 9
Bw’olirabika, Ayi Mukama, olibasiriiza n’omuliro ng’ogw’omu kyoto ekyengeredde. Mukama, ng’ajjudde obusungu, alibamira bonna, era alibamalirawo ddala.
פרימו מארץ תאבד וזרעם מבני אדם׃ 10
Olizikiriza ezzadde lyabwe ku nsi, n’abaana baabwe bonna n’obamalawo mu baana b’abantu.
כי נטו עליך רעה חשבו מזמה בל יוכלו׃ 11
Newaakubadde nga bakusalira enkwe, ne bateekateeka ebikolwa ebibi, kyokka tewali kye basobola kutuukiriza.
כי תשיתמו שכם במיתריך תכונן על פניהם׃ 12
Balikyuka ne bakudduka bwe baliraba ng’obaleezeemu omutego gwo ogw’obusaale.
רומה יהוה בעזך נשירה ונזמרה גבורתך׃ 13
Ogulumizibwenga, Ayi Mukama, mu maanyi go. Tunaayimbanga nga tutendereza obuyinza bwo.

< תהילים 21 >