< תהילים 17 >

תפלה לדוד שמעה יהוה צדק הקשיבה רנתי האזינה תפלתי בלא שפתי מרמה׃ 1
Okusaba kwa Dawudi. Wulira, Ayi Mukama, okukoowoola kwange nga nneegayirira, wuliriza okukaaba kwange. Tega okutu owulirize okukoowoola kwange, kubanga tekuva ku mimwa gya bulimba.
מלפניך משפטי יצא עיניך תחזינה מישרים׃ 2
Nzigyako omusango; kubanga olaba ekituufu.
בחנת לבי פקדת לילה צרפתני בל תמצא זמתי בל יעבר פי׃ 3
Weekenneenyezza omutima gwange era n’onkebera n’ekiro. Ne bw’onongezesa toobeeko kibi ky’onsangamu; kubanga mmaliridde obutayogeranga bya bulimba.
לפעלות אדם בדבר שפתיך אני שמרתי ארחות פריץ׃ 4
Ggwe, gwe nkoowoola, ngoberedde ebigambo by’akamwa ko, ne neewala ebikolwa by’abantu abakambwe.
תמך אשרי במעגלותיך בל נמוטו פעמי׃ 5
Nnyweredde mu makubo go, era ebigere byange tebiigalekenga.
אני קראתיך כי תענני אל הט אזנך לי שמע אמרתי׃ 6
Nkukoowoola, Ayi Katonda, kubanga mmanyi ng’onnyanukula; ontegere okutu kwo owulire okusaba kwange.
הפלה חסדיך מושיע חוסים ממתקוממים בימינך׃ 7
Ndaga okwagala kwo okutaggwaawo, okwewuunyisa, ggwe alokola n’omukono gwo ogwa ddyo abo bonna abakweyuna nga badduka abalabe baabwe.
שמרני כאישון בת עין בצל כנפיך תסתירני׃ 8
Onkuume ng’emmunye ey’eriiso lyo; onkweke mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
מפני רשעים זו שדוני איבי בנפש יקיפו עלי׃ 9
Omponye ababi abannumba, n’abalabe bange abanneetoolodde.
חלבמו סגרו פימו דברו בגאות׃ 10
Omutima gwabwe mukakanyavu, n’akamwa kaabwe koogera by’amalala.
אשרינו עתה סבבוני עיניהם ישיתו לנטות בארץ׃ 11
Banzingizza era banneetoolodde; bansimbye amaaso nga beeteeseteese okunsuula wansi.
דמינו כאריה יכסוף לטרוף וככפיר ישב במסתרים׃ 12
Bali ng’empologoma enjala gy’eruma eyeeteeseteese okutaagula omuyiggo gwayo era ng’empologoma enkulu eteeze.
קומה יהוה קדמה פניו הכריעהו פלטה נפשי מרשע חרבך׃ 13
Golokoka n’ekitala kyo, Ayi Mukama, oyolekere abalabe bange obawangule, omponye ababi abo.
ממתים ידך יהוה ממתים מחלד חלקם בחיים וצפינך תמלא בטנם ישבעו בנים והניחו יתרם לעולליהם׃ 14
Ayi Mukama, mponya abantu, abantu ab’ensi n’omukono gwo, kubanga balowooleza mu bya bulamu buno byokka, n’emigabo gyabwe giri mu nsi. Embuto zaabwe zigezze, obagaggawazizza ne baterekera n’abaana baabwe ne bazzukulu baabwe.
אני בצדק אחזה פניך אשבעה בהקיץ תמונתך׃ 15
Nze ndikulaba n’amaaso mu butuukirivu era ndimatira, bwe ndiraba obwenyi bwo nga nzuukuse.

< תהילים 17 >