< תהילים 144 >

לדוד ברוך יהוה צורי המלמד ידי לקרב אצבעותי למלחמה׃ 1
Zabbuli ya Dawudi. Atenderezebwe Mukama, olwazi lwange, atendeka emikono gyange okulwana, era ateekerateekera engalo zange olutalo.
חסדי ומצודתי משגבי ומפלטי לי מגני ובו חסיתי הרודד עמי תחתי׃ 2
Mukama anjagala ye Katonda wange era kye kiddukiro kyange, ge maanyi gange amangi era ye mulokozi wange. Ye ngabo yange mwe neekweka. Awangula amawanga n’agassa wansi w’ebigere byange.
יהוה מה אדם ותדעהו בן אנוש ותחשבהו׃ 3
Ayi Mukama, omuntu kye ki ggwe okumufaako, oba omwana w’omuntu, ggwe okumulowoozaako?
אדם להבל דמה ימיו כצל עובר׃ 4
Omuntu ali nga mukka. Ennaku ze ziri ng’ekisiikirize ekiyita obuyisi.
יהוה הט שמיך ותרד גע בהרים ויעשנו׃ 5
Yawula mu ggulu lyo, Ayi Mukama, okke! Kwata ku nsozi zinyooke omukka!
ברוק ברק ותפיצם שלח חציך ותהמם׃ 6
Myansa abalabe basaasaane, era lasa obusaale bwo obazikirize.
שלח ידיך ממרום פצני והצילני ממים רבים מיד בני נכר׃ 7
Ogolole omukono gwo ng’osinziira waggulu ennyo, omponye, onzigye mu mazzi amangi, era onzigye mu mikono gya bannamawanga;
אשר פיהם דבר שוא וימינם ימין שקר׃ 8
ab’emimwa egyogera eby’obulimba, abalayira nti kya mazima, so nga bulimba bwereere.
אלהים שיר חדש אשירה לך בנבל עשור אזמרה לך׃ 9
Ayi Mukama, nnaakuyimbiranga oluyimba oluggya; nnaakukubiranga ennanga ey’enkoba ekkumi,
הנותן תשועה למלכים הפוצה את דוד עבדו מחרב רעה׃ 10
ggwe awa bakabaka obuwanguzi; amponya, nze omuddu wo Dawudi, ekitala ekyogi.
פצני והצילני מיד בני נכר אשר פיהם דבר שוא וימינם ימין שקר׃ 11
Ndokola, omponye onzigye mu mukono gwa bannamawanga bano ab’emimwa egyogera eby’obulimba, era omukono gwabwe ogwa ddyo gwa bulimba.
אשר בנינו כנטעים מגדלים בנעוריהם בנותינו כזוית מחטבות תבנית היכל׃ 12
Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama, babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi, ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.
מזוינו מלאים מפיקים מזן אל זן צאוננו מאליפות מרבבות בחוצותינו׃ 13
Amawanika gaffe gajjule ebibala ebya buli ngeri. Endiga zaffe zizaale enkumi n’obukumi zijjule amalundiro gaffe.
אלופינו מסבלים אין פרץ ואין יוצאת ואין צוחה ברחבתינו׃ 14
Ente zaffe ziwalule ebizito. Ebisenge by’ekibuga bireme kumenyebwa. Waleme kubaawo kukaaba n’okwaziirana kwonna mu nguudo ez’omu bibuga byaffe.
אשרי העם שככה לו אשרי העם שיהוה אלהיו׃ 15
Abantu abaweereddwa emikisa egyo beesiimye! Balina omukisa abantu abo abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.

< תהילים 144 >