< תהילים 135 >

הללו יה הללו את שם יהוה הללו עבדי יהוה׃ 1
Mutendereze Mukama. Mutendereze erinnya lya Mukama. Mumutendereze mmwe abaddu ba Mukama;
שעמדים בבית יהוה בחצרות בית אלהינו׃ 2
mmwe abaweereza mu nnyumba ya Mukama, mu mpya z’ennyumba ya Katonda waffe.
הללו יה כי טוב יהוה זמרו לשמו כי נעים׃ 3
Mutendereze Mukama, kubanga Mukama mulungi; mutendereze erinnya lye kubanga ekyo kisanyusa.
כי יעקב בחר לו יה ישראל לסגלתו׃ 4
Kubanga Mukama yeerondera Yakobo okuba owuwe; ye Isirayiri gwe yeeroboza okuba eky’omuwendo.
כי אני ידעתי כי גדול יהוה ואדנינו מכל אלהים׃ 5
Mmanyi nga Mukama mukulu wa kitiibwa, era nga Mukama oyo y’asinga bakatonda bonna.
כל אשר חפץ יהוה עשה בשמים ובארץ בימים וכל תהומות׃ 6
Mukama kyonna ky’asiima ky’akola, mu ggulu ne ku nsi; mu nnyanja ne mu buziba bwayo.
מעלה נשאים מקצה הארץ ברקים למטר עשה מוצא רוח מאוצרותיו׃ 7
Alagira ebire ne byekuluumulula okuva ku nkomerero y’ensi; atonnyesa enkuba erimu okumyansa, n’asumulula empewo okuva mu mawanika ge.
שהכה בכורי מצרים מאדם עד בהמה׃ 8
Ye yakuba ababereberye ab’e Misiri; ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo.
שלח אתות ומפתים בתוככי מצרים בפרעה ובכל עבדיו׃ 9
Ye yaweereza obubonero n’ebyewuunyo wakati wo, ggwe Misiri, eri Falaawo n’abaweereza be bonna.
שהכה גוים רבים והרג מלכים עצומים׃ 10
Ye yakuba amawanga amangi, n’atta bakabaka ab’amaanyi era be bano,
לסיחון מלך האמרי ולעוג מלך הבשן ולכל ממלכות כנען׃ 11
Sikoni kabaka w’Abamoli, ne Ogi kabaka w’e Basani ne bakabaka bonna ab’e Kanani.
ונתן ארצם נחלה נחלה לישראל עמו׃ 12
Ensi yaabwe n’agiwaayo ng’obusika, okuba obusika bw’abantu be Isirayiri.
יהוה שמך לעולם יהוה זכרך לדר ודר׃ 13
Ayi Mukama, erinnya lyo lya lubeerera, era n’obukulu bwo bumanyibwa emirembe gyonna.
כי ידין יהוה עמו ועל עבדיו יתנחם׃ 14
Kubanga Katonda aliggyako abantu be omusango, era alisaasira abaweereza be.
עצבי הגוים כסף וזהב מעשה ידי אדם׃ 15
Abamawanga ebifaananyi byonna ebyole bye basinza, ebyakolebwa n’emikono gy’abantu mu ffeeza ne zaabu,
פה להם ולא ידברו עינים להם ולא יראו׃ 16
birina emimwa, naye tebyogera; birina amaaso, naye tebiraba;
אזנים להם ולא יאזינו אף אין יש רוח בפיהם׃ 17
birina amatu naye tebiwulira; so ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka.
כמוהם יהיו עשיהם כל אשר בטח בהם׃ 18
Ababikola balibifaanana; na buli abyesiga alibifaanana.
בית ישראל ברכו את יהוה בית אהרן ברכו את יהוה׃ 19
Ayi ennyumba ya Isirayiri mutendereze Mukama; mmwe ennyumba ya Alooni mutendereze Mukama.
בית הלוי ברכו את יהוה יראי יהוה ברכו את יהוה׃ 20
Mmwe ennyumba ya Leevi mutendereze Mukama; mmwe abatya Mukama mutendereze Mukama.
ברוך יהוה מציון שכן ירושלם הללו יה׃ 21
Mukama ali mu Sayuuni yeebazibwe; yeebazibwe oyo abeera mu Yerusaalemi. Mutendereze Mukama.

< תהילים 135 >