< תהילים 123 >
שיר המעלות אליך נשאתי את עיני הישבי בשמים׃ | 1 |
Oluyimba nga balinnya amadaala. Nnyimusa amaaso gange gy’oli, Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.
הנה כעיני עבדים אל יד אדוניהם כעיני שפחה אל יד גברתה כן עינינו אל יהוה אלהינו עד שיחננו׃ | 2 |
Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe; n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we, n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe, okutuusa lw’alitusaasira.
חננו יהוה חננו כי רב שבענו בוז׃ | 3 |
Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire, kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.
רבת שבעה לה נפשנו הלעג השאננים הבוז לגאיונים׃ | 4 |
Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala, n’okunyoomebwa ab’amalala.