< תהילים 119 >

אשרי תמימי דרך ההלכים בתורת יהוה׃ 1
Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu; abatambulira mu mateeka ga Mukama.
אשרי נצרי עדתיו בכל לב ידרשוהו׃ 2
Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye, era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.
אף לא פעלו עולה בדרכיו הלכו׃ 3
Abo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.
אתה צויתה פקדיך לשמר מאד׃ 4
Ggwe wateekawo ebiragiro byo; n’olagira bigonderwenga n’obwegendereza bungi.
אחלי יכנו דרכי לשמר חקיך׃ 5
Ayi Mukama, nsaba mbeerenga munywevu bulijjo; nga nkuuma bye walagira.
אז לא אבוש בהביטי אל כל מצותיך׃ 6
Bwe ntyo siriswazibwa, amaaso gange nga ngasimbye ku ebyo bye walagira byonna.
אודך בישר לבב בלמדי משפטי צדקך׃ 7
Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu, nnaakutenderezanga n’omutima omulungi.
את חקיך אשמר אל תעזבני עד מאד׃ 8
Nnaakwatanga amateeka go; Ayi Mukama, tonsuulira ddala.
במה יזכה נער את ארחו לשמר כדברך׃ 9
Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu? Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.
בכל לבי דרשתיך אל תשגני ממצותיך׃ 10
Nkunoonya n’omutima gwange gwonna; tonzikiriza kuva ku mateeka go.
בלבי צפנתי אמרתך למען לא אחטא לך׃ 11
Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange; ndyoke nneme okwonoona.
ברוך אתה יהוה למדני חקיך׃ 12
Ogulumizibwe, Ayi Mukama; onjigirize amateeka go.
בשפתי ספרתי כל משפטי פיך׃ 13
Njatula n’akamwa kange amateeka go gonna ge walagira.
בדרך עדותיך ששתי כעל כל הון׃ 14
Nsanyukira okugondera ebiragiro byo, ng’asanyukira eby’obugagga.
בפקדיך אשיחה ואביטה ארחתיך׃ 15
Nnaafumiitirizanga ku biragiro byo, ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.
בחקתיך אשתעשע לא אשכח דברך׃ 16
Nnaasanyukiranga amateeka go, era siigeerabirenga.
גמל על עבדך אחיה ואשמרה דברך׃ 17
Omuddu wo omukolere ebirungi, mbe omulamu, ngobererenga ekigambo kyo.
גל עיני ואביטה נפלאות מתורתך׃ 18
Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.
גר אנכי בארץ אל תסתר ממני מצותיך׃ 19
Nze ndi muyise ku nsi; tonkisa bye walagira.
גרסה נפשי לתאבה אל משפטיך בכל עת׃ 20
Bulijjo emmeeme yange eyaayaanira amateeka go.
גערת זדים ארורים השגים ממצותיך׃ 21
Onenya ab’amalala, abaakolimirwa, abaleka amateeka go.
גל מעלי חרפה ובוז כי עדתיך נצרתי׃ 22
Mponya okuduula kwabwe n’okunyooma kwabwe; kubanga bye walagira mbigondera.
גם ישבו שרים בי נדברו עבדך ישיח בחקיך׃ 23
Newaakubadde ng’abalangira bansalira enkwe; naye nze, omuweereza wo, nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
גם עדתיך שעשעי אנשי עצתי׃ 24
Amateeka go lye ssanyu lyange, era ge gannuŋŋamya.
דבקה לעפר נפשי חיני כדברך׃ 25
Nzigweddemu amaanyi, ndi wansi mu nfuufu; nkusaba onzizeemu endasi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
דרכי ספרתי ותענני למדני חקיך׃ 26
Nakutegeeza bye nteesezza okukola, n’onnyanukula; onjigirize amateeka go.
דרך פקודיך הבינני ואשיחה בנפלאותיך׃ 27
Njigiriza amateeka go bye gagamba, nange nnaafumiitirizanga ku byamagero byo.
דלפה נפשי מתוגה קימני כדברך׃ 28
Emmeeme empweddemu ensa olw’okunakuwala; onzizeemu amaanyi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
דרך שקר הסר ממני ותורתך חנני׃ 29
Nzigiraako ddala ebyo ebitali bya butuukirivu; olw’ekisa kyo njigiriza amateeka go.
דרך אמונה בחרתי משפטיך שויתי׃ 30
Nonzeewo okubeera omwesigwa; ntambulire mu ebyo bye walagira.
דבקתי בעדותיך יהוה אל תבישני׃ 31
Nnyweredde ku biragiro byo, Ayi Mukama, tondeka kuswazibwa.
דרך מצותיך ארוץ כי תרחיב לבי׃ 32
Bw’onoosumulula omutima gwange, nnaatambuliranga mu makubo go ng’ebiragiro byo bwe biri.
הורני יהוה דרך חקיך ואצרנה עקב׃ 33
Njigiriza, Ayi Mukama, okugonderanga ebiragiro byo; ndyoke mbinywezenga ennaku zonna ez’obulamu bwange.
הבינני ואצרה תורתך ואשמרנה בכל לב׃ 34
Mpa okutegeera ndyoke nkuume amateeka go era ngakwate n’omutima gwange gwonna.
הדריכני בנתיב מצותיך כי בו חפצתי׃ 35
Ntambuliza mu mateeka go, kubanga mwe nsanyukira.
הט לבי אל עדותיך ואל אל בצע׃ 36
Okyuse omutima gwange ogulaze eri ebyo bye walagira; so si eri eby’okufuna ebitaliimu.
העבר עיני מראות שוא בדרכך חיני׃ 37
Kyusa amaaso gange galeme okunneegombesa ebitaliimu; obulamu bwange obufuule obuggya ng’ekigambo kyo bwe kiri.
הקם לעבדך אמרתך אשר ליראתך׃ 38
Tuukiriza kye wasuubiza omuddu wo, kubanga ekyo kye wasuubiza abo abakutya.
העבר חרפתי אשר יגרתי כי משפטיך טובים׃ 39
Nziggyako okunyoomebwa kuno kwe ntya, kubanga ebiragiro byo birungi.
הנה תאבתי לפקדיך בצדקתך חיני׃ 40
Laba, njayaanira ebiragiro byo; onkomyewo mu butuukirivu bwo.
ויבאני חסדך יהוה תשועתך כאמרתך׃ 41
Okwagala kwo okutaggwaawo kujje gye ndi, Ayi Mukama; ompe obulokozi bwo nga bwe wasuubiza;
ואענה חרפי דבר כי בטחתי בדברך׃ 42
ndyoke mbeere n’eky’okwanukula abo abambonyaabonya; kubanga neesiga kigambo kyo.
ואל תצל מפי דבר אמת עד מאד כי למשפטך יחלתי׃ 43
Toganya kigambo ekitali kya mazima okuva mu kamwa kange; kubanga essuubi lyange liri mu ebyo bye walagira.
ואשמרה תורתך תמיד לעולם ועד׃ 44
Nnaagonderanga amateeka go ennaku zonna, emirembe n’emirembe.
ואתהלכה ברחבה כי פקדיך דרשתי׃ 45
Era nnaatambulanga n’emirembe, kubanga ngoberedde ebyo bye walagira.
ואדברה בעדתיך נגד מלכים ולא אבוש׃ 46
Era nnaayogeranga ku biragiro by’omu maaso ga bakabaka, nga sikwatibwa nsonyi.
ואשתעשע במצותיך אשר אהבתי׃ 47
Kubanga nsanyukira amateeka go, era ngaagala.
ואשא כפי אל מצותיך אשר אהבתי ואשיחה בחקיך׃ 48
Nzisaamu nnyo ekitiibwa ebiragiro byo era mbyagala. Nnaafumiitirizanga ku mateeka go.
זכר דבר לעבדך על אשר יחלתני׃ 49
Jjukira ekigambo kye wansuubiza, nze omuddu wo, kubanga gwe wampa essuubi.
זאת נחמתי בעניי כי אמרתך חיתני׃ 50
Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.
זדים הליצני עד מאד מתורתך לא נטיתי׃ 51
Ab’amalala banduulira obutamala, naye nze siva ku mateeka go.
זכרתי משפטיך מעולם יהוה ואתנחם׃ 52
Bwe ndowooza ku biragiro byo eby’edda, Ayi Mukama, biwummuza omutima gwange.
זלעפה אחזתני מרשעים עזבי תורתך׃ 53
Nkyawa nnyo abakola ebibi, abaleka amateeka go.
זמרות היו לי חקיך בבית מגורי׃ 54
Ebiragiro byo binfuukidde ennyimba buli we nsula nga ndi mu lugendo lwange.
זכרתי בלילה שמך יהוה ואשמרה תורתך׃ 55
Mu kiro nzijukira erinnya lyo, Ayi Mukama, ne neekuuma amateeka go.
זאת היתה לי כי פקדיך נצרתי׃ 56
Olw’okukugonderanga nfunye emikisa gyo mingi.
חלקי יהוה אמרתי לשמר דבריך׃ 57
Ggwe mugabo gwange, Ayi Mukama; nasuubiza okukugonderanga.
חליתי פניך בכל לב חנני כאמרתך׃ 58
Nkwegayirira n’omutima gwange gwonna, ondage ekisa kyo nga bwe wasuubiza.
חשבתי דרכי ואשיבה רגלי אל עדתיך׃ 59
Bwe ndabye amakubo amakyamu ge nkutte, ne nkyuka okugoberera ebiragiro byo.
חשתי ולא התמהמהתי לשמר מצותיך׃ 60
Nyanguwa nnyo okugondera amateeka go, so seekunya.
חבלי רשעים עודני תורתך לא שכחתי׃ 61
Newaakubadde ng’emiguwa gy’ababi ginsibye, naye seerabirenga mateeka go.
חצות לילה אקום להודות לך על משפטי צדקך׃ 62
Nzuukuka mu ttumbi okukwebaza, olw’ebiragiro byo ebituukirivu.
חבר אני לכל אשר יראוך ולשמרי פקודיך׃ 63
Ntambula n’abo abakutya, abo bonna abakwata amateeka go.
חסדך יהוה מלאה הארץ חקיך למדני׃ 64
Ensi, Ayi Mukama, ejjudde okwagala kwo; onjigirize amateeka go.
טוב עשית עם עבדך יהוה כדברך׃ 65
Okoze bulungi omuddu wo, Ayi Mukama, ng’ekigambo kyo bwe kiri.
טוב טעם ודעת למדני כי במצותיך האמנתי׃ 66
Njigiriza okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi, era ompe okumanya; kubanga nzikiririza mu mateeka go.
טרם אענה אני שגג ועתה אמרתך שמרתי׃ 67
Bwe wali tonnambonereza nakyama nnyo, naye kaakano ŋŋondera ekigambo kyo.
טוב אתה ומטיב למדני חקיך׃ 68
Ayi Mukama, oli mulungi era okola ebirungi; onjigirize amateeka go.
טפלו עלי שקר זדים אני בכל לב אצר פקודיך׃ 69
Ab’amalala banjogeddeko nnyo eby’obulimba, naye nze nkwata ebyo bye walagira, n’omutima gwange gwonna.
טפש כחלב לבם אני תורתך שעשעתי׃ 70
Omutima gwabwe gugezze ne gusavuwala; naye nze nsanyukira amateeka go.
טוב לי כי עניתי למען אלמד חקיך׃ 71
Okubonerezebwa kwangasa, ndyoke njige amateeka go.
טוב לי תורת פיך מאלפי זהב וכסף׃ 72
Amateeka go ge walagira ga mugaso nnyo gye ndi okusinga enkumi n’enkumi eza ffeeza ne zaabu.
ידיך עשוני ויכוננוני הבינני ואלמדה מצותיך׃ 73
Emikono gyo gye gyankola ne gimmumba, mpa okutegeera ndyoke njige amateeka go.
יראיך יראוני וישמחו כי לדברך יחלתי׃ 74
Abo abakutya banandabanga ne basanyuka, kubanga essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
ידעתי יהוה כי צדק משפטיך ואמונה עניתני׃ 75
Mmanyi, Ayi Mukama, ng’amateeka go matukuvu, era wali mutuufu okumbonereza.
יהי נא חסדך לנחמני כאמרתך לעבדך׃ 76
Kale okwagala kwo okutaggwaawo kumbeere kumpi kunsanyuse, nga bwe wansuubiza, nze omuddu wo.
יבאוני רחמיך ואחיה כי תורתך שעשעי׃ 77
Kkiriza okusaasira kwo kuntuukeko ndyoke mbeere mulamu; kubanga mu mateeka go mwe nsanyukira.
יבשו זדים כי שקר עותוני אני אשיח בפקודיך׃ 78
Ab’amalala baswazibwe, kubanga bampisizza bubi nga siriiko kye nkoze. Naye nze nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
ישובו לי יראיך וידעו עדתיך׃ 79
Abo abakutya bajje gye ndi, abategeera amateeka go.
יהי לבי תמים בחקיך למען לא אבוש׃ 80
Mbeera, omutima gwange guleme kubaako kya kunenyezebwa mu mateeka go, nneme kuswazibwa!
כלתה לתשועתך נפשי לדברך יחלתי׃ 81
Emmeeme yange erumwa nnyo ennyonta ng’eyaayaanira obulokozi bwo, essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
כלו עיני לאמרתך לאמר מתי תנחמני׃ 82
Ntunuulidde ebbanga ddene n’amaaso gange ne ganfuuyirira nga nninda okutuukirira kw’ekisuubizo kyo; ne neebuuza nti, “Olinsanyusa ddi?”
כי הייתי כנאד בקיטור חקיך לא שכחתי׃ 83
Newaakubadde nga nfuuse ng’ensawo ey’eddiba, eya wayini eri mu mukka, naye seerabira bye walagira.
כמה ימי עבדך מתי תעשה ברדפי משפט׃ 84
Ayi Mukama, nze omuddu wo nnaalindirira kutuusa ddi nga tonnabonereza abo abanjigganya?
כרו לי זדים שיחות אשר לא כתורתך׃ 85
Abantu ab’amalala abatatya Katonda bansimidde ebinnya mu kkubo; be bo abatagondera mateeka go.
כל מצותיך אמונה שקר רדפוני עזרני׃ 86
Amateeka go gonna geesigibwa; abo abatakwagala banjigganyiza bwereere; nkusaba onnyambe!
כמעט כלוני בארץ ואני לא עזבתי פקודיך׃ 87
Baali kumpi okunzikiririza ddala ku nsi kuno; naye nze sivudde ku ebyo bye walagira.
כחסדך חיני ואשמרה עדות פיך׃ 88
Olw’okwagala kwo okutaggwaawo ndekera obulamu bwange, ndyoke nkuume ebyo bye walagira ebiva mu kamwa ko.
לעולם יהוה דברך נצב בשמים׃ 89
Ayi Mukama, Ekigambo kyo kinywevu mu ggulu, kya mirembe gyonna.
לדר ודר אמונתך כוננת ארץ ותעמד׃ 90
Obwesigwa bwo tebuggwaawo emirembe gyonna; watonda ensi era enyweredde ddala.
למשפטיך עמדו היום כי הכל עבדיך׃ 91
Amateeka go na buli kati manywevu; kubanga ebintu byonna bikuweereza.
לולי תורתך שעשעי אז אבדתי בעניי׃ 92
Singa nnali sisanyukira mu mateeka go, nandizikiridde olw’obulumi bwe nalimu.
לעולם לא אשכח פקודיך כי בם חייתני׃ 93
Siyinza kwerabira biragiro byo; kubanga mu ebyo obulamu bwange mw’obufuulidde obuggya.
לך אני הושיעני כי פקודיך דרשתי׃ 94
Ndi wuwo, ndokola, kubanga neekuumye bye walagira.
לי קוו רשעים לאבדני עדתיך אתבונן׃ 95
Newaakubadde ng’abakola ebibi beekukumye nga banteeze okunzikiriza; naye nze nyweredde ku ebyo bye walagira.
לכל תכלה ראיתי קץ רחבה מצותך מאד׃ 96
Ebintu byonna biriko we bikoma naye amateeka go tegakugirwa.
מה אהבתי תורתך כל היום היא שיחתי׃ 97
Amateeka go nga ngagala nnyo! Ngafumiitirizaako olunaku lwonna.
מאיבי תחכמני מצותך כי לעולם היא לי׃ 98
Amateeka go ganfuula mugezi okusinga abalabe bange, kubanga ge gannuŋŋamya bulijjo.
מכל מלמדי השכלתי כי עדותיך שיחה לי׃ 99
Ntegeera okusinga abasomesa bange bonna, kubanga nfumiitiriza nnyo ebyo bye walagira.
מזקנים אתבונן כי פקודיך נצרתי׃ 100
Ntegeera okusinga abakadde; kubanga ŋŋondera ebyo bye walagira.
מכל ארח רע כלאתי רגלי למען אשמר דברך׃ 101
Neekuumye obutatambulira mu kkubo lyonna ekyamu, nsobole okugondera ekigambo kyo.
ממשפטיך לא סרתי כי אתה הורתני׃ 102
Sivudde ku mateeka go, kubanga ggwe waganjigiriza.
מה נמלצו לחכי אמרתך מדבש לפי׃ 103
Ebisuubizo byo nga bimpoomera nnyo! Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gw’enjuki.
מפקודיך אתבונן על כן שנאתי כל ארח שקר׃ 104
Mu biragiro byo mwe nfunira okutegeera; kyenva nkyawa ekkubo lyonna ekyamu.
נר לרגלי דברך ואור לנתיבתי׃ 105
Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange, era kye kimulisa ekkubo lyange.
נשבעתי ואקימה לשמר משפטי צדקך׃ 106
Ndayidde ekirayiro era nkikakasizza nga nnaakwatanga amateeka ag’obutuukirivu bwo.
נעניתי עד מאד יהוה חיני כדברך׃ 107
Nnumizibwa nnyo; nzizaamu obulamu, Ayi Mukama, ng’ekigambo kyo bwe kiri.
נדבות פי רצה נא יהוה ומשפטיך למדני׃ 108
Okkirize Ayi Mukama ettendo akamwa kange lye kakuwa; era onjigirize amateeka go.
נפשי בכפי תמיד ותורתך לא שכחתי׃ 109
Newaakubadde ng’obulamu bwange ntera okubutambuza nga bwe njagala, naye seerabira mateeka go.
נתנו רשעים פח לי ומפקודיך לא תעיתי׃ 110
Abakola ebibi banteze omutego, naye sikyamye kuva ku ebyo bye walagira.
נחלתי עדותיך לעולם כי ששון לבי המה׃ 111
Ebiragiro byo gwe mugabo gwange emirembe gyonna; weewaawo, ebyo bye bisanyusa omutima gwange.
נטיתי לבי לעשות חקיך לעולם עקב׃ 112
Omutima gwange gweteeseteese okukwatanga ebiragiro byo ennaku zonna ez’obulamu bwange.
סעפים שנאתי ותורתך אהבתי׃ 113
Nkyawa abalina emitima egisagaasagana, naye nze njagala amateeka go.
סתרי ומגני אתה לדברך יחלתי׃ 114
Ggwe kiddukiro kyange era ggwe ngabo yange; essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
סורו ממני מרעים ואצרה מצות אלהי׃ 115
Muve we ndi mmwe abakola ebitali bya butuukirivu, mundeke nkwate ebiragiro bya Katonda wange.
סמכני כאמרתך ואחיה ואל תבישני משברי׃ 116
Onnyweze nga bwe wasuubiza, ndyoke mbeere omulamu; nneme kuswazibwa ne nzigwamu essuubi.
סעדני ואושעה ואשעה בחקיך תמיד׃ 117
Onnyweze ndyoke nfuuke ow’eddembe, era nkwatenga ebiragiro byo bulijjo.
סלית כל שוגים מחקיך כי שקר תרמיתם׃ 118
Onyooma abo bonna abaleka ebiragiro byo; weewaawo obugezigezi bwabwe tebuliimu kantu.
סגים השבת כל רשעי ארץ לכן אהבתי עדתיך׃ 119
Abakola ebibi bonna mu nsi obalaba ng’ebisasiro; nze kyenva njagala ebyo bye walagira.
סמר מפחדך בשרי וממשפטיך יראתי׃ 120
Nkankana nzenna nga nkutya, era ntya amateeka go.
עשיתי משפט וצדק בל תניחני לעשקי׃ 121
Nkoze eby’obwenkanya era eby’obutuukirivu; tondeka mu mikono gy’abo abanjooga.
ערב עבדך לטוב אל יעשקני זדים׃ 122
Okakase okundaganga ekisa kyo bulijjo, oleme kukkiriza ababi okunjooganga.
עיני כלו לישועתך ולאמרת צדקך׃ 123
Amaaso gange ganfuuyiririra, nga nnindirira obulokozi bwo n’ebyo bye wasuubiza mu butuukirivu bwo.
עשה עם עבדך כחסדך וחקיך למדני׃ 124
Nze omuddu wo nkolaako ng’okwagala kwo bwe kuli; era onjigirize amateeka go.
עבדך אני הבינני ואדעה עדתיך׃ 125
Ndi muddu wo, mpa okwawula ekirungi n’ekibi; ndyoke ntegeere ebiragiro byo.
עת לעשות ליהוה הפרו תורתך׃ 126
Ekiseera kituuse, Ayi Mukama, okubaako ky’okola, kubanga amateeka go gamenyeddwa.
על כן אהבתי מצותיך מזהב ומפז׃ 127
Naye nze njagala amateeka go okusinga zaabu, wadde zaabu omulongoose.
על כן כל פקודי כל ישרתי כל ארח שקר שנאתי׃ 128
Kubanga mmanyi ng’ebiragiro byo byonna bituufu; nkyawa buli kkubo lyonna ekyamu.
פלאות עדותיך על כן נצרתם נפשי׃ 129
Ebiragiro byo bya kitalo; kyenva mbigondera.
פתח דבריך יאיר מבין פתיים׃ 130
Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa bireeta omusana; n’atategeera bulungi bimugeziwaza.
פי פערתי ואשאפה כי למצותיך יאבתי׃ 131
Njasamya akamwa kange ne mpejjawejja nga njaayaanira amateeka go.
פנה אלי וחנני כמשפט לאהבי שמך׃ 132
Nkyukira, onkwatirwe ekisa, nga bw’okolera bulijjo abo abaagala erinnya lyo.
פעמי הכן באמרתך ואל תשלט בי כל און׃ 133
Oluŋŋamye ebigere byange ng’ekigambo kyo bwe kiri, era tokkiriza kibi kyonna kunfuga.
פדני מעשק אדם ואשמרה פקודיך׃ 134
Mponya okujooga kw’abantu, bwe ntyo nkwatenga ebiragiro byo.
פניך האר בעבדך ולמדני את חקיך׃ 135
Ontunuulire, nze omuddu wo, n’amaaso ag’ekisa, era onjigirizenga amateeka go.
פלגי מים ירדו עיני על לא שמרו תורתך׃ 136
Amaziga gakulukuta mu maaso gange ng’omugga, olw’abo abatakwata mateeka go.
צדיק אתה יהוה וישר משפטיך׃ 137
Oli mutuukirivu, Ayi Katonda, era amateeka go matuufu.
צוית צדק עדתיך ואמונה מאד׃ 138
Ebiragiro byo bye wateekawo bituukirivu, era byesigibwa.
צמתתני קנאתי כי שכחו דבריך צרי׃ 139
Nnyiikadde nnyo munda yange, olw’abalabe bange abatassaayo mwoyo eri ebiragiro byo.
צרופה אמרתך מאד ועבדך אהבה׃ 140
Ebisuubizo byo byetegerezebwa nnyo, kyenva mbyagala.
צעיר אנכי ונבזה פקדיך לא שכחתי׃ 141
Newaakubadde ndi muntu wa bulijjo era anyoomebwa, naye seerabira biragiro byo.
צדקתך צדק לעולם ותורתך אמת׃ 142
Obutuukirivu bwo bwa lubeerera, n’amateeka go ga mazima.
צר ומצוק מצאוני מצותיך שעשעי׃ 143
Newaakubadde nga ndi mu kulumwa n’okutegana okungi, amateeka go ge gansanyusa.
צדק עדותיך לעולם הבינני ואחיה׃ 144
Ebiragiro byo bituufu emirembe gyonna; onjigirize okubitegeera ndyoke mbeere omulamu.
קראתי בכל לב ענני יהוה חקיך אצרה׃ 145
Nkoowoola n’omutima gwange gwonna, Ayi Mukama, onnyanukule! Nnaagonderanga amateeka go.
קראתיך הושיעני ואשמרה עדתיך׃ 146
Nkukaabirira, ondokole, nkwate ebiragiro byo.
קדמתי בנשף ואשועה לדבריך יחלתי׃ 147
Ngolokoka bunatera okukya ne nkukaabirira onnyambe; essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
קדמו עיני אשמרות לשיח באמרתך׃ 148
Seebaka ekiro kyonna nga nfumiitiriza ku ebyo bye wasuubiza.
קולי שמעה כחסדך יהוה כמשפטך חיני׃ 149
Olw’okwagala kwo okutaggwaawo wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, ompe obulamu obuggya ng’amateeka go bwe gali.
קרבו רדפי זמה מתורתך רחקו׃ 150
Abo ab’enkwe era abatakwata mateeka go bansemberedde, kyokka bali wala n’amateeka go.
קרוב אתה יהוה וכל מצותיך אמת׃ 151
Naye ggwe, Ayi Mukama, oli kumpi nange, era n’amateeka go gonna ga mazima.
קדם ידעתי מעדתיך כי לעולם יסדתם׃ 152
Okuva edda n’edda nayiga mu biragiro byo, nga wabissaawo bibeerewo emirembe gyonna.
ראה עניי וחלצני כי תורתך לא שכחתי׃ 153
Tunuulira okubonaabona kwange omponye, kubanga seerabira mateeka go.
ריבה ריבי וגאלני לאמרתך חיני׃ 154
Ompolereze, onnunule, onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
רחוק מרשעים ישועה כי חקיך לא דרשו׃ 155
Abakola ebibi obulokozi bubabeera wala, kubanga tebanoonya mateeka go.
רחמיך רבים יהוה כמשפטיך חיני׃ 156
Ekisa kyo kinene, Ayi Mukama, onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
רבים רדפי וצרי מעדותיך לא נטיתי׃ 157
Abalabe abanjigganya bangi, naye nze siivenga ku biragiro byo.
ראיתי בגדים ואתקוטטה אשר אמרתך לא שמרו׃ 158
Nnakuwalira abo abatakwesiga, kubanga tebakwata biragiro byo.
ראה כי פקודיך אהבתי יהוה כחסדך חיני׃ 159
Laba, Ayi Mukama, bwe njagala ebiragiro byo! Onkuumenga ng’okwagala kwo bwe kuli.
ראש דברך אמת ולעולם כל משפט צדקך׃ 160
Ebigambo byo byonna bya mazima meereere; n’amateeka go ga lubeerera.
שרים רדפוני חנם ומדבריך פחד לבי׃ 161
Abafuzi banjigganyiza bwereere, naye ekigambo kyo nkissaamu ekitiibwa.
שש אנכי על אמרתך כמוצא שלל רב׃ 162
Nsanyukira ekisuubizo kyo okufaanana ng’oyo afunye obugagga obungi.
שקר שנאתי ואתעבה תורתך אהבתי׃ 163
Nkyawa era ntamwa obulimba, naye amateeka go ngagala.
שבע ביום הללתיך על משפטי צדקך׃ 164
Mu lunaku nkutendereza emirundi musanvu olw’amateeka go amatuukirivu.
שלום רב לאהבי תורתך ואין למו מכשול׃ 165
Abo abaagala amateeka go bali mu ddembe lingi; tewali kisobola kubeesittaza.
שברתי לישועתך יהוה ומצותיך עשיתי׃ 166
Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama, era mu biragiro byo mwe ntambulira.
שמרה נפשי עדתיך ואהבם מאד׃ 167
Ŋŋondera ebiragiro byo, mbyagala nnyo nnyini.
שמרתי פקודיך ועדתיך כי כל דרכי נגדך׃ 168
Buli kye nkola okimanyi, era olaba nga bwe nkwata ebiragiro byo.
תקרב רנתי לפניך יהוה כדברך הבינני׃ 169
Okukaaba kwange kutuuke gy’oli, Ayi Mukama, ompe okutegeera ng’ekigambo kyo bwe kiri.
תבוא תחנתי לפניך כאמרתך הצילני׃ 170
Okwegayirira kwange kutuuke gy’oli, onnunule nga bwe wasuubiza.
תבענה שפתי תהלה כי תלמדני חקיך׃ 171
Akamwa kange kanaakutenderezanga, kubanga gw’onjigiriza amateeka go.
תען לשוני אמרתך כי כל מצותיך צדק׃ 172
Olulimi lwange lunaayimbanga ekigambo kyo, kubanga bye walagira byonna bya butuukirivu.
תהי ידך לעזרני כי פקודיך בחרתי׃ 173
Omukono gwo gumbeerenga, kubanga nnonzeewo okukwatanga ebiragiro byo.
תאבתי לישועתך יהוה ותורתך שעשעי׃ 174
Neegomba nnyo obulokozi bwo, Ayi Mukama, era amateeka go lye ssanyu lyange.
תחי נפשי ותהללך ומשפטך יעזרני׃ 175
Ompe obulamu nkutenderezenga, era amateeka go gampanirirenga.
תעיתי כשה אבד בקש עבדך כי מצותיך לא שכחתי׃ 176
Ndi ng’endiga ebuze. Onoonye omuddu wo, kubanga seerabidde mateeka go.

< תהילים 119 >