< מִשְׁלֵי 6 >

בני אם ערבת לרעך תקעת לזר כפיך׃ 1
Mutabani obanga weeyimirira muliraanwa wo, ne weeyama okuyamba omuntu gw’otomanyi, oli mu katyabaga.
נוקשת באמרי פיך נלכדת באמרי פיך׃ 2
Obanga weesibye n’ebigambo ggwe kennyini bye wayogera, ng’ebigambo by’omu kamwa ko bikusibye,
עשה זאת אפוא בני והנצל כי באת בכף רעך לך התרפס ורהב רעיך׃ 3
kino mwana wange ky’oba okola okusobola okwewonya, kubanga kaakano oli mu buyinza bwa muliraanwa wo: Yanguwa, ogende weetoowaze, weegayirire muliraanwa wo.
אל תתן שנה לעיניך ותנומה לעפעפיך׃ 4
Amaaso go togaganya kwebaka, wadde ebikowe byo okubongoota.
הנצל כצבי מיד וכצפור מיד יקוש׃ 5
Onunule obulamu bwo ng’empeewo bw’edduka okuva mu ngalo z’omuyizzi, era ng’ekinyonyi, bwe kiva mu mutego gw’omutezi.
לך אל נמלה עצל ראה דרכיה וחכם׃ 6
Yigira ku biwuka, mugayaavu ggwe; fumiitiriza engeri gye bikolamu obiyigireko.
אשר אין לה קצין שטר ומשל׃ 7
Tebirina mukulembeze, mukungu oba mufuzi yenna abikulembera,
תכין בקיץ לחמה אגרה בקציר מאכלה׃ 8
kyokka byekuŋŋaanyiza emmere mu biseera eby’amakungula, ne bitereka emmere mu biseera ebituufu mu mwaka.
עד מתי עצל תשכב מתי תקום משנתך׃ 9
Olituusa ddi okwebaka mugayaavu ggwe? Oligolokoka ddi n’ova mu tulo two?
מעט שנות מעט תנומות מעט חבק ידים לשכב׃ 10
Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono, n’okufunya emikono okuwummulako,
ובא כמהלך ראשך ומחסרך כאיש מגן׃ 11
obwavu bulikutuukako ng’omutemu, era n’obwetaavu ng’omutemu.
אדם בליעל איש און הולך עקשות פה׃ 12
Omuntu ataliiko ky’agasa, omusajja omubi agenda ayogera ebigambo ebitabulatabula,
קרץ בעינו מלל ברגלו מרה באצבעתיו׃ 13
agenda atemyatemya ku liiso, nga bw’akuba ebigere ate nga bw’asongasonga olunwe,
תהפכות בלבו חרש רע בכל עת מדנים ישלח׃ 14
olw’omutima omukyamu, ateekateeka okukola ebibi, bulijjo aleeta obutakkaanya mu bantu!
על כן פתאם יבוא אידו פתע ישבר ואין מרפא׃ 15
Noolwekyo okuzikirira kulimujjira mbagirawo, mu kaseera buseera alibetentebwa awatali kuwona.
שש הנה שנא יהוה ושבע תועבות נפשו׃ 16
Waliwo ebintu mukaaga Mukama by’akyawa, weewaawo musanvu eby’omuzizo gy’ali.
עינים רמות לשון שקר וידים שפכות דם נקי׃ 17
Amaaso ag’amalala, emimwa egirimba, okuttira abantu obwereere;
לב חרש מחשבות און רגלים ממהרות לרוץ לרעה׃ 18
omutima ogutegeka okukola ebibi, ebigere ebyanguwa okukola ebibi,
יפיח כזבים עד שקר ומשלח מדנים בין אחים׃ 19
obujulizi obw’obulimba, n’omuntu aleeta obutakkaanya mu booluganda.
נצר בני מצות אביך ואל תטש תורת אמך׃ 20
Mwana wange nyweza ebiragiro bya kitaawo, era togayaalirira kuyigiriza kwa maama wo.
קשרם על לבך תמיד ענדם על גרגרתך׃ 21
Bisibenga ku mutima gwo ennaku zonna era obisibe binywerere mu bulago bwo.
בהתהלכך תנחה אתך בשכבך תשמר עליך והקיצות היא תשיחך׃ 22
Bijja kukuluŋŋamyanga buli gy’onoolaganga, ne bw’onoobanga weebase binaakukuumanga, ate ng’ozuukuse binaabanga naawe.
כי נר מצוה ותורה אור ודרך חיים תוכחות מוסר׃ 23
Kubanga amateeka ttabaaza, era n’okuyigiriza kitangaala, okukulabula olw’okukuluŋŋamya, ly’ekkubo ery’obulamu,
לשמרך מאשת רע מחלקת לשון נכריה׃ 24
okukuwonya omukazi ow’ebibi, okukuggya mu kunyumiikiriza kw’omukazi omwenzi.
אל תחמד יפיה בלבבך ואל תקחך בעפעפיה׃ 25
Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo, wadde okumukkiriza okukuwamba n’amaaso ge,
כי בעד אשה זונה עד ככר לחם ואשת איש נפש יקרה תצוד׃ 26
kubanga malaaya akussa ku muwendo ogugula omugaati, era omukazi omwenzi anoonya kuzikiririza ddala bulamu bwo.
היחתה איש אש בחיקו ובגדיו לא תשרפנה׃ 27
Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye, ebyambalo bye ne bitaggya?
אם יהלך איש על הגחלים ורגליו לא תכוינה׃ 28
Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya, ebigere bye ne bitasiriira?
כן הבא אל אשת רעהו לא ינקה כל הנגע בה׃ 29
Bwe kityo bwe kiri eri omusajja agenda ne muka muliraanwa we, buli akwata ku mukazi ng’oyo talirema kubonerezebwa olw’ekibi kye.
לא יבוזו לגנב כי יגנוב למלא נפשו כי ירעב׃ 30
Abantu tebasekerera muntu bw’abba, olw’okwewonya enjala.
ונמצא ישלם שבעתים את כל הון ביתו יתן׃ 31
Naye bwe bamukwata aba alina okuwa engassi ya mirundi musanvu; ne bwe kiba nga kimumalako ebintu bye byonna eby’omu nju ye.
נאף אשה חסר לב משחית נפשו הוא יעשנה׃ 32
Naye buli ayenda ku mukazi talina magezi; kubanga azikiririza ddala emmeeme ye ye.
נגע וקלון ימצא וחרפתו לא תמחה׃ 33
Alifuna ebiwundu n’okunyoomebwa; n’obuswavu tebulimusangulibwako.
כי קנאה חמת גבר ולא יחמול ביום נקם׃ 34
Kubanga obuggya buleetera omusajja okuswakira, era taliba na kisa n’akatono nga yeesasuza.
לא ישא פני כל כפר ולא יאבה כי תרבה שחד׃ 35
Talikkiriza mutango gwonna, wadde okuwooyawooyezebwa enguzi ennene.

< מִשְׁלֵי 6 >