< מִשְׁלֵי 4 >

שמעו בנים מוסר אב והקשיבו לדעת בינה׃ 1
Muwulirize baana bange okuyigiriza kwange ng’okwa kitammwe, era musseeyo omwoyo mufune okutegeera.
כי לקח טוב נתתי לכם תורתי אל תעזבו׃ 2
Kubanga mbawa okuyigiriza okulungi; temulekanga biragiro byange.
כי בן הייתי לאבי רך ויחיד לפני אמי׃ 3
Bwe nnali omuvubuka nga ndi ne kitange, omwana omu yekka omwagalwa, owa mmange,
וירני ויאמר לי יתמך דברי לבך שמר מצותי וחיה׃ 4
yanjigiriza n’aŋŋamba nti, “Ebigambo byange bikuumenga ku mutima gwo, kuuma ebiragiro byange obeere mulamu.
קנה חכמה קנה בינה אל תשכח ואל תט מאמרי פי׃ 5
Funa amagezi; funa okutegeera, teweerabiranga era tovanga ku bigambo bya mu kamwa kange.
אל תעזבה ותשמרך אהבה ותצרך׃ 6
Togalekanga, nago ganaakukuumanga, gaagale nago ganaakulabiriranga.
ראשית חכמה קנה חכמה ובכל קנינך קנה בינה׃ 7
Ddala amagezi kye kintu ekisingira ddala obukulu; noolwekyo fuba ofune amagezi, era fubira ddala nnyo ofune okutegeera.
סלסלה ותרוממך תכבדך כי תחבקנה׃ 8
Amagezi gagulumize, nago gajja kukuyimusa, gaanirize, nago gajja kukuweesa ekitiibwa.
תתן לראשך לוית חן עטרת תפארת תמגנך׃ 9
Amagezi gajja kukutikkira engule ey’ekisa, era gakuwe n’engule ey’ekitiibwa.”
שמע בני וקח אמרי וירבו לך שנות חיים׃ 10
Wuliriza ggwe, mutabani, era okkirize ebigambo byange olyoke owangaalire ku nsi n’essanyu eringi.
בדרך חכמה הרתיך הדרכתיך במעגלי ישר׃ 11
Nkuluŋŋamya mu kkubo ery’amagezi, ne nkukulembera mu makubo ag’obutuukirivu.
בלכתך לא יצר צעדך ואם תרוץ לא תכשל׃ 12
Bw’onootambulanga, ekigere kyo kireme okuziyizibwa; era bw’onoddukanga, tojjanga kwesittala.
החזק במוסר אל תרף נצרה כי היא חייך׃ 13
Nywerezanga ddala okuyigirizibwa, tokutanga: kukuumenga kubanga bwe bulamu bwo.
בארח רשעים אל תבא ואל תאשר בדרך רעים׃ 14
Toyingiranga mu kkubo ly’abakozi b’ebibi, wadde okutambulira mu kkubo ly’abantu aboonoonyi.
פרעהו אל תעבר בו שטה מעליו ועבור׃ 15
Lyewalenga, tolitambulirangamu, liveeko okwate ekkubo lyo.
כי לא ישנו אם לא ירעו ונגזלה שנתם אם לא יכשולו׃ 16
Kubanga abakozi b’ebibi tebayinza kwebaka okuggyako nga bakoze ebibi, era otulo tubabulira ddala bwe baba tebalina gwe bakozeeko bulabe.
כי לחמו לחם רשע ויין חמסים ישתו׃ 17
Okukola ebibi y’emmere yaabwe, n’okukozesa eryanyi kye kyokunywa kyabwe.
וארח צדיקים כאור נגה הולך ואור עד נכון היום׃ 18
Ekkubo ly’abatuukirivu liri ng’enjuba eyakavaayo, eyeeyongera okwaka okutuusa obudde lwe butangaalira ddala.
דרך רשעים כאפלה לא ידעו במה יכשלו׃ 19
Naye ekkubo ly’ababi liri ng’ekizikiza ekikutte, tebamanyi kibaleetera kwesittala.
בני לדברי הקשיבה לאמרי הט אזנך׃ 20
Mutabani wange wuliriza n’obwegendereza ebigambo byange; osseeyo omwoyo eri bye nkutegeeza;
אל יליזו מעיניך שמרם בתוך לבבך׃ 21
ebigambo bino tebikuvangako, bikuumire ddala mu mutima gwo,
כי חיים הם למצאיהם ולכל בשרו מרפא׃ 22
kubanga bya bulamu eri abo ababifuna, era biwonya omubiri gwabwe gwonna.
מכל משמר נצר לבך כי ממנו תוצאות חיים׃ 23
Ekisinga byonna kuuma omutima gwo, kubanga y’ensulo y’obulamu bwo.
הסר ממך עקשות פה ולזות שפתים הרחק ממך׃ 24
Weewalire ddala eby’obubambavu era n’okwogera ebya swakaba.
עיניך לנכח יביטו ועפעפיך יישרו נגדך׃ 25
Amaaso go gatunulenga butereevu, era otunulenga n’obumalirivu eyo gy’olaga.
פלס מעגל רגלך וכל דרכיך יכנו׃ 26
Ttereeza bulungi amakubo go; okwate amakubo ageesigika gokka.
אל תט ימין ושמאול הסר רגלך מרע׃ 27
Tokyamanga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono; ebigere byo byewalenga ekkubo ekyamu.

< מִשְׁלֵי 4 >