< מִשְׁלֵי 26 >

כשלג בקיץ וכמטר בקציר כן לא נאוה לכסיל כבוד׃ 1
Ng’omuzira bwe gutasaana mu biseera bya kusiga oba enkuba mu makungula, n’ekitiibwa bwe kitasaanira musirusiru.
כצפור לנוד כדרור לעוף כן קללת חנם לא תבא׃ 2
Ng’enkazaluggya ewabye, ng’akataayi akabuukabuuka, ekikolimo ekitasaanidde tekibaako kye kikola.
שוט לסוס מתג לחמור ושבט לגו כסילים׃ 3
Embooko ya mbalaasi, n’olukoba lwa ndogoyi, n’omuggo gusaanira migongo gya basirusirusiru.
אל תען כסיל כאולתו פן תשוה לו גם אתה׃ 4
Toyanukulanga musirusiru ng’obusirusiru bwe, bwe buli, oleme kubeera nga ye.
ענה כסיל כאולתו פן יהיה חכם בעיניו׃ 5
Omusirusiru omuddangamu ng’obusirusiru bwe, bwe buli, si kulwa nga yeerowooza nti mugezi.
מקצה רגלים חמס שתה שלח דברים ביד כסיל׃ 6
Omuntu atuma omusirusiru, aba ng’eyeetemyeko ebigere n’anywa obusungu.
דליו שקים מפסח ומשל בפי כסילים׃ 7
Ng’amagulu g’omulema bwe galengejja obulengezzi, bwe lutyo n’olugero bwe lubeera mu kamwa k’omusirusiru.
כצרור אבן במרגמה כן נותן לכסיל כבוד׃ 8
Ng’atadde ejjinja mu nvuumuulo bw’aba, n’oyo awa omusirusiru ekitiibwa bw’atyo bw’abeera.
חוח עלה ביד שכור ומשל בפי כסילים׃ 9
Ng’eriggwa bwe lifumita mu mukono gw’omutamiivu, bwe lutyo n’olugero bwe lubeera mu kamwa k’abasirusiru.
רב מחולל כל ושכר כסיל ושכר עברים׃ 10
Ng’omulasi w’akasaale, amala galasa buli gw’asanze, bw’abeera bw’atyo apangisa omusirusiru oba omuyise yenna gw’asanze.
ככלב שב על קאו כסיל שונה באולתו׃ 11
Ng’embwa bw’eddira ebisesemye by’ayo, bw’atyo bw’abeera omusirusiru adda mu nsobi ze.
ראית איש חכם בעיניו תקוה לכסיל ממנו׃ 12
Olaba omuntu omugezi mu maaso ge ye? Omusirusiru alina essuubi okumusinga.
אמר עצל שחל בדרך ארי בין הרחבות׃ 13
Omugayaavu agamba nti, “Mu kkubo eriyo empologoma, empologoma enkambwe eyita mu luguudo!”
הדלת תסוב על צירה ועצל על מטתו׃ 14
Ng’oluggi bwe lukyukira ku ppata zaalwo, bw’atyo omugayaavu bw’akyukira ku kitanda kye.
טמן עצל ידו בצלחת נלאה להשיבה אל פיו׃ 15
Omugayaavu akoza n’engalo ze mu kibya, naye olw’obunafu bwe n’atasobola kuzizza mu kamwa.
חכם עצל בעיניו משבעה משיבי טעם׃ 16
Omugayaavu alowooza nti mugezi, okusinga abantu omusanvu abaddamu ebibuuzo mu butuufu.
מחזיק באזני כלב עבר מתעבר על ריב לא לו׃ 17
Ng’asika embwa amatu, omuyise bw’abeera eyeeyingiza mu luyombo olutali lulwe.
כמתלהלה הירה זקים חצים ומות׃ 18
Ng’omulalu akasuka emmuli ez’omuliro oba obusaale obutta,
כן איש רמה את רעהו ואמר הלא משחק אני׃ 19
bw’abeera omuntu alimba munne, n’agamba nti, “Mbadde nsaaga busaazi.”
באפס עצים תכבה אש ובאין נרגן ישתק מדון׃ 20
Enku bwe zibula omuliro guzikira, awatali lugambo ennyombo ziggwaawo.
פחם לגחלים ועצים לאש ואיש מדונים לחרחר ריב׃ 21
Ng’amanda ku gannaago agaliko omuliro, oba enku ku muliro, bw’abeera omusajja omuyombi mu kuwakula entalo.
דברי נרגן כמתלהמים והם ירדו חדרי בטן׃ 22
Ebigambo by’omuntu ageya biri ng’emmere ewoomerera, bigenda mu bitundu by’omubiri eby’ewala.
כסף סיגים מצפה על חרש שפתים דלקים ולב רע׃ 23
Ng’ekintu eky’ebbumba ekibikkiddwako amasengere, bwe gibeera emimwa eminyiikivu egisibuka ku mutima omubi.
בשפתו ינכר שונא ובקרבו ישית מרמה׃ 24
Omuntu ow’enkwe alimbalimba n’emimwa gye naye ng’aterese obulimba mu mutima gwe.
כי יחנן קולו אל תאמן בו כי שבע תועבות בלבו׃ 25
Wadde nga by’ayogera bisanyusa, tomukkiririzaamu kubanga eby’emizizo musanvu bijjuza mu mutima gwe.
תכסה שנאה במשאון תגלה רעתו בקהל׃ 26
Enkwe ze ziyinza okubikkibwa mu kubuzaabuuza, naye obutali butuukirivu bwe buliggyibwayo mu lukuŋŋaana.
כרה שחת בה יפל וגלל אבן אליו תשוב׃ 27
Buli asima ekinnya y’alikigwamu, n’oyo aliyiringisa ejjinja gwe liriddira.
לשון שקר ישנא דכיו ופה חלק יעשה מדחה׃ 28
Olulimi olulimba lukyawa abo be lufumita, n’akamwa akawaanawaana kaleeta okuzikirira.

< מִשְׁלֵי 26 >