< מִשְׁלֵי 25 >

גם אלה משלי שלמה אשר העתיקו אנשי חזקיה מלך יהודה׃ 1
Zino nazo ngero za Sulemaani abasajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda ze baakoppolola.
כבד אלהים הסתר דבר וכבד מלכים חקר דבר׃ 2
Okukisa ensonga kitiibwa kya Katonda, naye okunoonyereza ensonga kitiibwa kya bakabaka.
שמים לרום וארץ לעמק ולב מלכים אין חקר׃ 3
Ng’eggulu bwe lyewanise waggulu ennyo n’ensi bw’ekka ennyo wansi, bwe gityo n’emitima gya bakabaka bwe gitategeerekeka.
הגו סיגים מכסף ויצא לצרף כלי׃ 4
Effeeza giggyeemu ebisejja, olyoke ofune omuweesi ky’anaakozesa.
הגו רשע לפני מלך ויכון בצדק כסאו׃ 5
Ggyawo abakozi b’ebibi mu maaso ga kabaka, entebe ye ey’obwakabaka eryoke enywezebwe mu butuukirivu.
אל תתהדר לפני מלך ובמקום גדלים אל תעמד׃ 6
Teweekuzanga mu maaso ga kabaka, wadde okwewa ekifo mu bantu ab’ekitiibwa.
כי טוב אמר לך עלה הנה מהשפילך לפני נדיב אשר ראו עיניך׃ 7
Kubanga okukugamba nti, “Jjangu wano mu maaso,” kisingako okukuswaza mu maaso g’ow’ekitiibwa.
אל תצא לרב מהר פן מה תעשה באחריתה בהכלים אתך רעך׃ 8
Amaaso go bye galabye tobyanguyirizanga kubireeta mu mbuga, kubanga oluvannyuma onookola otya munno bw’anaakuswaza?
ריבך ריב את רעך וסוד אחר אל תגל׃ 9
Bw’owozanga ne muliraanwa wo, tobikkulanga kyama kya muntu mulala,
פן יחסדך שמע ודבתך לא תשוב׃ 10
akiwulira aleme okukuswaza; n’onyoomebwa ebbanga lyonna.
תפוחי זהב במשכיות כסף דבר דבר על אפניו׃ 11
Ekigambo ekyogere nga bwe kisaanidde, kiba kya muwendo nnyo nga zaabu gwe batonye mu bintu bye bakoze mu ffeeza.
נזם זהב וחלי כתם מוכיח חכם על אזן שמעת׃ 12
Ng’empeta ey’omu kutu eya zaabu, oba akakomo aka zaabu ennungi, bw’atyo omuntu ow’amagezi anenya, bw’abeera eri okutu okuwuliriza.
כצנת שלג ביום קציר ציר נאמן לשלחיו ונפש אדניו ישיב׃ 13
Ng’obunnyogovu bw’omuzira bwe bubeera mu biseera eby’okukunguliramu, bw’atyo bw’abeera omubaka omwesigwa eri abo abamutuma, aweweeza emmeeme ya bakama be.
נשיאים ורוח וגשם אין איש מתהלל במתת שקר׃ 14
Ng’ebire n’empewo omutali nkuba, omuntu asuubiza ebirabo by’atagaba bw’abeera.
בארך אפים יפתה קצין ולשון רכה תשבר גרם׃ 15
Okugumiikiriza okungi kuyinza okukkirizisa omufuzi, n’olulimi olw’eggonjebwa lumenya eggumba.
דבש מצאת אכל דיך פן תשבענו והקאתו׃ 16
Bw’ozuula omubisi gw’enjuki, lyako ogwo gwokka ogukumala, si kulwa ng’ogukkuta nnyo n’ogusesema.
הקר רגלך מבית רעך פן ישבעך ושנאך׃ 17
Tokyalanga lunye ewa muliraanwa wo, si kulwa ng’akwetamwa n’akukyawa.
מפיץ וחרב וחץ שנון איש ענה ברעהו עד שקר׃ 18
Omuntu awa obujulizi obw’obulimba ku muliraanwa we, ali ng’embuukuuli, oba ekitala, oba akasaale akoogi.
שן רעה ורגל מועדת מבטח בוגד ביום צרה׃ 19
Okwesiga omuntu ateesigika, kiri ng’oli alina erinnyo eddwadde oba ekigere ekirema.
מעדה בגד ביום קרה חמץ על נתר ושר בשרים על לב רע׃ 20
Ng’omuntu eyeeyambula engoye mu kiseera eky’obutiti, era ng’omwenge omukaatuufu bwe guteekebwako oluvu, bw’atyo bw’abeera ayimbira oyo ali mu buyinike.
אם רעב שנאך האכלהו לחם ואם צמא השקהו מים׃ 21
Omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe emmere alye, bw’aba alumwa ennyonta muwe amazzi anywe.
כי גחלים אתה חתה על ראשו ויהוה ישלם לך׃ 22
Kubanga oliba otuuma amanda g’omuliro ku mutwe gwe, era Mukama alikuwa empeera.
רוח צפון תחולל גשם ופנים נזעמים לשון סתר׃ 23
Ng’empewo ey’obukiikakkono bwereeta enkuba, n’olulimi oluyomba bwe luleetera omuntu obusungu.
טוב שבת על פנת גג מאשת מדונים ובית חבר׃ 24
Okusulanga mu kasonda waggulu ku nnyumba, kisinga okubeera n’omukazi omuyombi mu nnyumba.
מים קרים על נפש עיפה ושמועה טובה מארץ מרחק׃ 25
Ng’amazzi amannyogovu bwe gaba eri emmeeme erumwa ennyonta, bwe gatyo bwe gaba amawulire amalungi agava mu nsi ey’ewala.
מעין נרפש ומקור משחת צדיק מט לפני רשע׃ 26
Ng’oluzzi olusiikuuse, oba ensulo eyonoonese, bw’atyo bw’abeera omutuukirivu eyeewaayo eri omukozi w’ebibi.
אכל דבש הרבות לא טוב וחקר כבדם כבוד׃ 27
Si kirungi kulya mubisi gwa njuki mungi, bwe kityo si kirungi omuntu okwenoonyeza ekitiibwa.
עיר פרוצה אין חומה איש אשר אין מעצר לרוחו׃ 28
Omuntu ateefuga ali ng’ekibuga ekimenyeemenye ne kirekebwa nga tekirina bbugwe.

< מִשְׁלֵי 25 >