< מִשְׁלֵי 15 >

מענה רך ישיב חמה ודבר עצב יעלה אף׃ 1
Okuddamu n’eggonjebwa kumalawo ekiruyi, naye ekigambo eky’obukambwe kisaanuula obusungu.
לשון חכמים תיטיב דעת ופי כסילים יביע אולת׃ 2
Olulimi lw’omugezi lwogera by’amagezi, naye akamwa k’abasirusiru kafukumula busirusiru bwereere.
בכל מקום עיני יהוה צפות רעים וטובים׃ 3
Amaaso ga Mukama galaba buli wantu, alaba abatuukirivu n’abakozi b’ebibi.
מרפא לשון עץ חיים וסלף בה שבר ברוח׃ 4
Olulimi oluzimba muti gwa bulamu, naye olulimi olulimba lubetenta omutima.
אויל ינאץ מוסר אביו ושמר תוכחת יערם׃ 5
Omusirusiru anyooma okubuulirirwa kwa kitaawe, naye omutegeevu assaayo omwoyo eri okunenyezebwa.
בית צדיק חסן רב ובתבואת רשע נעכרת׃ 6
Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu obugagga bungi, naye omukozi w’ebibi by’afuna, bimuleetera emitawaana.
שפתי חכמים יזרו דעת ולב כסילים לא כן׃ 7
Akamwa k’amagezi kabunyisa okumanya, naye omutima gw’abasirusiru si bwe gukola.
זבח רשעים תועבת יהוה ותפלת ישרים רצונו׃ 8
Ssaddaaka y’aboonoonyi ya muzizo eri Mukama, naye okusaba kw’abalongoofu lye ssanyu lye.
תועבת יהוה דרך רשע ומרדף צדקה יאהב׃ 9
Ekkubo ly’omwonoonyi lya muzizo eri Mukama, naye Mukama ayagala oyo anoonya obutuukirivu.
מוסר רע לעזב ארח שונא תוכחת ימות׃ 10
Oyo aleka ekkubo ettuufu alikangavvulwa n’amaanyi, n’oyo akyawa okunenyezebwa alifa.
שאול ואבדון נגד יהוה אף כי לבות בני אדם׃ (Sheol h7585) 11
Okufa n’okuzikirira biri mu maaso ga Mukama, n’okulaba alaba nnyo emitima gy’abaana b’abantu! (Sheol h7585)
לא יאהב לץ הוכח לו אל חכמים לא ילך׃ 12
Omunyoomi tayagala kunenyezebwa, era teeyeebuuza ku b’amagezi.
לב שמח ייטב פנים ובעצבת לב רוח נכאה׃ 13
Omutima omusanyufu guleeta essanyu ku maaso, naye omutima omunyiikaavu gunafuya emmeeme.
לב נבון יבקש דעת ופני כסילים ירעה אולת׃ 14
Omutima omutegeevu gunoonya okumanya, naye akamwa k’abasirusiru kalya busirusiru.
כל ימי עני רעים וטוב לב משתה תמיד׃ 15
Omuntu bw’aba omunyiikaavu, buli kimu kimwononekera, naye omutima omusanyufu gujaguza buli kaseera.
טוב מעט ביראת יהוה מאוצר רב ומהומה בו׃ 16
Okuba n’akatono ng’otya Mukama, kusinga okuba n’ebingi naye ng’oli mu mitawaana.
טוב ארחת ירק ואהבה שם משור אבוס ושנאה בו׃ 17
Okulya emmere ng’eriko enva endiirwa awali okwagalana, kisinga okuliirako ebyassava awali obukyayi.
איש חמה יגרה מדון וארך אפים ישקיט ריב׃ 18
Omuntu asunguwala amangu asaanuula oluyombo, naye omugumiikiriza akakkanya embeera.
דרך עצל כמשכת חדק וארח ישרים סללה׃ 19
Ekkubo ly’omugayaavu lijjula amaggwa, naye ekkubo ly’omutuukirivu golokofu.
בן חכם ישמח אב וכסיל אדם בוזה אמו׃ 20
Omwana omugezi asanyusa kitaawe, naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina.
אולת שמחה לחסר לב ואיש תבונה יישר לכת׃ 21
Obusirusiru ssanyu eri oyo atalina magezi, naye omuntu ategeera atambulira mu kkubo eggolokofu.
הפר מחשבות באין סוד וברב יועצים תקום׃ 22
Awatali kuluŋŋamizibwa entegeka zifa, naye awali abawi b’amagezi abangi ziyitamu.
שמחה לאיש במענה פיו ודבר בעתו מה טוב׃ 23
Okuddamu obulungi kisanyusa, era kirungi ekigambo ekirungi okujjira mu kiseera ekituufu.
ארח חיים למעלה למשכיל למען סור משאול מטה׃ (Sheol h7585) 24
Ekkubo ery’obulamu liyimusa omugezi, ne limuziyiza okukka emagombe. (Sheol h7585)
בית גאים יסח יהוה ויצב גבול אלמנה׃ 25
Mukama azikiriza ennyumba y’ab’amalala, kyokka akuuma ensalo za nnamwandu.
תועבת יהוה מחשבות רע וטהרים אמרי נעם׃ 26
Enkwe za muzizo eri Mukama, naye ebigambo ebisaanidde, bimusanyusa.
עכר ביתו בוצע בצע ושונא מתנת יחיה׃ 27
Oyo anoonya okugaggawalira mu bukyamu aleetera ennyumba ye emitawaana, naye oyo akyawa enguzi aliba mulamu.
לב צדיק יהגה לענות ופי רשעים יביע רעות׃ 28
Omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza bye gunaayanukula, naye akamwa k’omwonoonyi kafubutula ebitasaana.
רחוק יהוה מרשעים ותפלת צדיקים ישמע׃ 29
Mukama ali wala n’aboonoonyi, naye awulira okusaba kw’abatuukirivu.
מאור עינים ישמח לב שמועה טובה תדשן עצם׃ 30
Amaaso agajjudde essanyu gasanyusa omutima, n’amawulire amalungi galeetera amagumba obulamu.
אזן שמעת תוכחת חיים בקרב חכמים תלין׃ 31
Oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa okuleeta obulamu, alituula wamu n’abagezi.
פורע מוסר מואס נפשו ושומע תוכחת קונה לב׃ 32
Agayaalirira okubuulirirwa yeerumya yekka, naye oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa afuna okutegeera.
יראת יהוה מוסר חכמה ולפני כבוד ענוה׃ 33
Okutya Mukama kuyigiriza omuntu amagezi, n’obwetoowaze kye kitiibwa ky’omuntu oyo.

< מִשְׁלֵי 15 >