< במדבר 3 >
ואלה תולדת אהרן ומשה ביום דבר יהוה את משה בהר סיני׃ | 1 |
Luno lwe lulyo lwa Alooni n’olwa Musa mu biseera Mukama mwe yayogerera ne Musa ku Lusozi Sinaayi.
ואלה שמות בני אהרן הבכור נדב ואביהוא אלעזר ואיתמר׃ | 2 |
Gano ge mannya ga batabani ba Alooni: Nadabu, omubereberye, ne Abiku, ne Eriyazaali, ne Isamaali.
אלה שמות בני אהרן הכהנים המשחים אשר מלא ידם לכהן׃ | 3 |
Ago ge mannya ga batabani ba Alooni, abaafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni okuba bakabona, era abaayawulibwa okuweereza mu mulimu gw’obwakabona.
וימת נדב ואביהוא לפני יהוה בהקרבם אש זרה לפני יהוה במדבר סיני ובנים לא היו להם ויכהן אלעזר ואיתמר על פני אהרן אביהם׃ | 4 |
Naye nno Nadabu ne Abiku baatondokera mu maaso ga Mukama ne bafa, kubanga baayokya ekiweebwayo eri Mukama Katonda n’omuliro ogutakkirizibwa nga bali mu ddungu ly’e Sinaayi. Tebaalina baana; bwe batyo, Eriyazaali ne Isamaali ne basigala nga be bokka abaaweerezanga nga bakabona ebbanga lyonna kitaabwe Alooni lye yamala nga mulamu.
וידבר יהוה אל משה לאמר׃ | 5 |
Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
הקרב את מטה לוי והעמדת אתו לפני אהרן הכהן ושרתו אתו׃ | 6 |
“Leeta ab’omu kika kya Leevi obakwase Alooni kabona bamuweerezenga.
ושמרו את משמרתו ואת משמרת כל העדה לפני אהל מועד לעבד את עבדת המשכן׃ | 7 |
Banaamukoleranga emirimu era ne baweereza n’ekibiina kyonna awali Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakola emirimu awali Eweema ya Mukama.
ושמרו את כל כלי אהל מועד ואת משמרת בני ישראל לעבד את עבדת המשכן׃ | 8 |
Banaalabiriranga ebintu byonna eby’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bakola emirimu gy’omu Weema ya Mukama nga batuukiriza ebyo byonna ebivunaanyizibwa abaana ba Isirayiri.
ונתתה את הלוים לאהרן ולבניו נתונם נתונם המה לו מאת בני ישראל׃ | 9 |
Abaleevi onoobawanga eri Alooni ne batabani be; baweereddwa ddala Alooni nga baggyibwa mu baana ba Isirayiri.
ואת אהרן ואת בניו תפקד ושמרו את כהנתם והזר הקרב יומת׃ | 10 |
Onoolonda Alooni ne batabani be okubeera bakabona; naye bwe wanaabangawo omuntu omulala yenna n’asembera awatukuvu, anaafanga.”
וידבר יהוה אל משה לאמר׃ | 11 |
Mukama Katonda n’ayongera okugamba Musa nti,
ואני הנה לקחתי את הלוים מתוך בני ישראל תחת כל בכור פטר רחם מבני ישראל והיו לי הלוים׃ | 12 |
“Laba, neetwalidde Abaleevi nga mbaggya mu baana ba Isirayiri mu kifo ky’abaana ababereberye abazaalibwa abakazi mu baana ba Isirayiri. Abaleevi banaabanga bange,
כי לי כל בכור ביום הכתי כל בכור בארץ מצרים הקדשתי לי כל בכור בישראל מאדם עד בהמה לי יהיו אני יהוה׃ | 13 |
kubanga byonna ebizaalibwa ebibereberye byange. Bwe natta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri neeyawulira ebibereberye byonna mu Isirayiri okubeeranga ebyange, abantu n’ebisolo. Nze Mukama Katonda.”
וידבר יהוה אל משה במדבר סיני לאמר׃ | 14 |
Awo Mukama Katonda n’agamba Musa mu ddungu ly’e Sinaayi nti,
פקד את בני לוי לבית אבתם למשפחתם כל זכר מבן חדש ומעלה תפקדם׃ | 15 |
“Bala Abaleevi bonna mu mpya zaabwe ne mu bika byabwe. Bala buli mwana mulenzi ow’omwezi ogumu n’okusingawo.”
ויפקד אתם משה על פי יהוה כאשר צוה׃ | 16 |
Bw’atyo Musa n’ababala nga Mukama Katonda bwe yamulagira, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.
ויהיו אלה בני לוי בשמתם גרשון וקהת ומררי׃ | 17 |
Gano ge mannya ga batabani ba Leevi: Gerusoni, ne Kokasi, ne Merali.
ואלה שמות בני גרשון למשפחתם לבני ושמעי׃ | 18 |
Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusoni ng’empya zaabwe bwe zaali: Libuni ne Simeeyi.
ובני קהת למשפחתם עמרם ויצהר חברון ועזיאל׃ | 19 |
Bano be batabani ba Kokasi ng’empya zaabwe bwe zaali: Amulaamu, ne Izukali ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.
ובני מררי למשפחתם מחלי ומושי אלה הם משפחת הלוי לבית אבתם׃ | 20 |
Bano be batabani ba Merali ng’empya zaabwe bwe zaali: Makuli ne Musi. Ebyo bye bika by’Abaleevi ng’empya za bakitaabwe bwe zaali.
לגרשון משפחת הלבני ומשפחת השמעי אלה הם משפחת הגרשני׃ | 21 |
Mu Gerusoni mwe mwava oluggya lwa Abalibuni n’oluggya lwa Abasimeeyi; ezo nga z’empya za Abagerusoni.
פקדיהם במספר כל זכר מבן חדש ומעלה פקדיהם שבעת אלפים וחמש מאות׃ | 22 |
Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kasanvu mu ebikumi bitaano.
משפחת הגרשני אחרי המשכן יחנו ימה׃ | 23 |
Ab’omu Gerusoni nga baakusiisiranga ku ludda olw’ebugwanjuba emmanju wa Weema ya Mukama.
ונשיא בית אב לגרשני אליסף בן לאל׃ | 24 |
Omukulembeze w’empya za Abagerusoni yali Eriyasaafu mutabani wa Laeri.
ומשמרת בני גרשון באהל מועד המשכן והאהל מכסהו ומסך פתח אהל מועד׃ | 25 |
Abagerusoni be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga balabirira ebigibikkako n’eggigi ery’omu mulyango oguyingira mu Weema,
וקלעי החצר ואת מסך פתח החצר אשר על המשכן ועל המזבח סביב ואת מיתריו לכל עבדתו׃ | 26 |
n’entimbe ez’omu luggya, n’entimbe ez’omu mizigo egiggulira ku luggya okwebungulula Weema n’ekyoto. Era banaalabiriranga n’emiguwa awamu n’ebintu byonna ebinaakozesebwanga ku mirimu egyo.
ולקהת משפחת העמרמי ומשפחת היצהרי ומשפחת החברני ומשפחת העזיאלי אלה הם משפחת הקהתי׃ | 27 |
Mu Kokasi mwe mwava oluggya lwa Abamulaamu, n’oluggya lwa Abayizukaali, n’oluggya lwa Abakebbulooni, n’oluggya lwa Abawuziyeeri; ezo z’empya za Abakokasi.
במספר כל זכר מבן חדש ומעלה שמנת אלפים ושש מאות שמרי משמרת הקדש׃ | 28 |
Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kanaana mu lukaaga. Abakokasi be baweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga awatukuvu.
משפחת בני קהת יחנו על ירך המשכן תימנה׃ | 29 |
Ab’omu Kokasi nga baakusiisiranga ku ludda olw’obukiikaddyo obwa Weema ya Mukama.
ונשיא בית אב למשפחת הקהתי אליצפן בן עזיאל׃ | 30 |
Omukulembeze w’empya za Abakokasi yali Erizafani mutabani wa Wuziyeeri.
ומשמרתם הארן והשלחן והמנרה והמזבחת וכלי הקדש אשר ישרתו בהם והמסך וכל עבדתו׃ | 31 |
Abakokasi be baabanga n’obuvunaanyizibwa okulabirira Essanduuko ey’Endagaano, n’emmeeza, n’ekikondo ky’ettaala, n’ebyoto, n’ebintu eby’omu watukuvu ebikozesebwa mu kuweereza, n’eggigi; n’emirimu gyonna egyekuusa ku buweereza obwo.
ונשיא נשיאי הלוי אלעזר בן אהרן הכהן פקדת שמרי משמרת הקדש׃ | 32 |
Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona ye yalondebwa okuba omukulu w’abakulembeze ba Abaleevi, era n’okulabirira abo abaaweerezanga mu watukuvu.
למררי משפחת המחלי ומשפחת המושי אלה הם משפחת מררי׃ | 33 |
Mu Merali mwe mwava oluggya lwa Abamakuli n’oluggya lwa Abamusi; ezo nga ze mpya za Abamerali.
ופקדיהם במספר כל זכר מבן חדש ומעלה ששת אלפים ומאתים׃ | 34 |
Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo abaabalibwa baali kakaaga mu ebikumi bibiri.
ונשיא בית אב למשפחת מררי צוריאל בן אביחיל על ירך המשכן יחנו צפנה׃ | 35 |
Omukulembeze w’empya za Abamerali yali Zuliyeeri mutabani wa Abikayiri; Abamerali nga baakusiisiranga ku bukiikaddyo obwa Weema ya Mukama.
ופקדת משמרת בני מררי קרשי המשכן ובריחיו ועמדיו ואדניו וכל כליו וכל עבדתו׃ | 36 |
Be baavunaanyizibwanga emikiikiro, n’empagi, n’ebikondo, n’ebikwata ku Weema ya Mukama byonna n’ebyekuusa ku mirimu gyayo.
ועמדי החצר סביב ואדניהם ויתדתם ומיתריהם׃ | 37 |
Okwo baagattangako empagi zonna ezeebunguludde oluggya n’entobo zaazo, n’enkondo za Weema n’emiguwa.
והחנים לפני המשכן קדמה לפני אהל מועד מזרחה משה ואהרן ובניו שמרים משמרת המקדש למשמרת בני ישראל והזר הקרב יומת׃ | 38 |
Musa ne Alooni ne batabani baabwe baasiisiranga ku ludda olw’ebuvanjuba olwa Weema ya Mukama, okwolekera enjuba gy’eva mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Baavunaanyizibwanga okulabirira awatukuvu ku lw’abaana ba Isirayiri. Omuntu omulala yenna eyasembereranga awatukuvu, ng’ateekwa kufa.
כל פקודי הלוים אשר פקד משה ואהרן על פי יהוה למשפחתם כל זכר מבן חדש ומעלה שנים ועשרים אלף׃ | 39 |
Omuwendo gwonna ogw’Abaleevi abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali, nga mwe muli abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa ne Alooni, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri.
ויאמר יהוה אל משה פקד כל בכר זכר לבני ישראל מבן חדש ומעלה ושא את מספר שמתם׃ | 40 |
Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Bala abaana ba Isirayiri bonna aboobulenzi ababereberye okuva ku mwana ow’omwezi ogumu n’okusingawo okole olukalala lw’amannya gaabwe gonna.
ולקחת את הלוים לי אני יהוה תחת כל בכר בבני ישראל ואת בהמת הלוים תחת כל בכור בבהמת בני ישראל׃ | 41 |
Era ojja kunfunira Abaleevi mu kifo ky’ababereberye ab’abaana ba Isirayiri, era onfunire n’ente ez’Abaleevi mu kifo ky’ente ez’abaana ba Isirayiri embereberye. Nze Mukama Katonda.”
ויפקד משה כאשר צוה יהוה אתו את כל בכר בבני ישראל׃ | 42 |
Awo Musa n’abala abaana ba Isirayiri ababereberye nga Mukama Katonda bwe yamulagira.
ויהי כל בכור זכר במספר שמות מבן חדש ומעלה לפקדיהם שנים ועשרים אלף שלשה ושבעים ומאתים׃ | 43 |
Okugatta awamu abaana aboobulenzi ababereberye bonna okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo abaabalibwa, nga n’amannya gaabwe gawandiikiddwa ku lukalala, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri mu nsanvu mu basatu.
וידבר יהוה אל משה לאמר׃ | 44 |
Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
קח את הלוים תחת כל בכור בבני ישראל ואת בהמת הלוים תחת בהמתם והיו לי הלוים אני יהוה׃ | 45 |
“Nfunira Abaleevi badde mu kifo ky’abaana ba Isirayiri ababereberye, n’ente z’Abaleevi zidde mu kifo ky’ente z’abaana ba Isirayiri, era Abaleevi banaabanga bange. Nze Mukama Katonda.
ואת פדויי השלשה והשבעים והמאתים העדפים על הלוים מבכור בני ישראל׃ | 46 |
Okununula ababereberye ab’abaana ba Isirayiri ebikumi ebibiri mu ensanvu mu abasatu abasukkirira ku muwendo gw’Abaleevi abasajja,
ולקחת חמשת חמשת שקלים לגלגלת בשקל הקדש תקח עשרים גרה השקל׃ | 47 |
onoddiranga gulaamu amakumi ataano mu ttaano ku buli omu, ng’ogeraageranyiza ku gulaamu kkumi n’emu ey’awatukuvu nga bw’eri, ye sekeri ey’obuzito ze gulaamu kkumi n’emu n’ekitundu.
ונתתה הכסף לאהרן ולבניו פדויי העדפים בהם׃ | 48 |
Ensimbi ez’okununula abaana ba Isirayiri abasukkiriramu oziwanga Alooni ne batabani be.”
ויקח משה את כסף הפדיום מאת העדפים על פדויי הלוים׃ | 49 |
Bw’atyo Musa n’asolooza ensimbi ez’okwenunula ku abo abaasukkirira ku muwendo gw’abo abaanunulibwa Abaleevi.
מאת בכור בני ישראל לקח את הכסף חמשה וששים ושלש מאות ואלף בשקל הקדש׃ | 50 |
Yasolooza ku babereberye ab’abaana ba Isirayiri effeeza ey’obuzito obwa kilo kkumi na ttaano n’ekitundu, ng’engeraageranya ya sekeri y’awatukuvu bw’eri.
ויתן משה את כסף הפדים לאהרן ולבניו על פי יהוה כאשר צוה יהוה את משה׃ | 51 |
Musa n’addira ensimbi ez’okwenunula n’aziwa Alooni ne batabani be, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.