< נחמיה 10 >

ועל החתומים נחמיה התרשתא בן חכליה וצדקיה׃ 1
Abassaako emikono be bano: Nekkemiya owessaza, mutabani wa Kakaliya. Ne Zeddekiya,
שריה עזריה ירמיה׃ 2
ne Seraya, ne Azaliya, ne Yeremiya,
פשחור אמריה מלכיה׃ 3
ne Pasukuli, ne Amaliya, ne Malukiya,
חטוש שבניה מלוך׃ 4
ne Kattusi, ne Sebaniya, ne Malluki,
חרם מרמות עבדיה׃ 5
ne Kalimu, ne Meremoosi, ne Obadiya,
דניאל גנתון ברוך׃ 6
ne Danyeri, ne Ginnesoni, ne Baluki,
משלם אביה מימן׃ 7
ne Messulamu, ne Abiya, ne Miyamini,
מעזיה בלגי שמעיה אלה הכהנים׃ 8
ne Maaziya, ne Birugayi ne Semaaya. Abo be baali bakabona.
והלוים וישוע בן אזניה בנוי מבני חנדד קדמיאל׃ 9
Abaleevi be bano: Yesuwa mutabani wa Azaniya, ne Binnuyi batabani ba Kenadaadi ne Kadimiyeeri
ואחיהם שבניה הודיה קליטא פלאיה חנן׃ 10
n’abaabayambangako be ba Sebaniya, ne Kodiya, ne Kerita, ne Peraya, ne Kanani,
מיכא רחוב חשביה׃ 11
ne Mikka, ne Lekobu, ne Kasabiya,
זכור שרביה שבניה׃ 12
ne Zakkuli, ne Serebiya, ne Sebaniya,
הודיה בני בנינו׃ 13
ne Kodiya, ne Baani ne Beninu.
ראשי העם פרעש פחת מואב עילם זתוא בני׃ 14
Abakulembeze b’abantu baali: Palosi, ne Pakasumowaabu, ne Eramu, ne Zattu, ne Baani,
בני עזגד בבי׃ 15
ne Bunni, ne Azugaadi, ne Bebayi,
אדניה בגוי עדין׃ 16
ne Adoniya, ne Biguvaayi, ne Adini,
אטר חזקיה עזור׃ 17
ne Ateri, ne Keezeekiya, ne Azzuli,
הודיה חשם בצי׃ 18
ne Kodiya, ne Kasumu, ne Bezayi,
חריף ענתות נובי׃ 19
ne Kalifu, ne Anasosi, ne Nebayi,
מגפיעש משלם חזיר׃ 20
ne Magupiyasi, ne Mesullamu, ne Keziri,
משיזבאל צדוק ידוע׃ 21
ne Mesezaberi, ne Zadooki, ne Yadduwa,
פלטיה חנן עניה׃ 22
ne Peratiya, ne Kanani, ne Anaya,
הושע חנניה חשוב׃ 23
ne Koseya, ne Kananiya, ne Kassubu,
הלוחש פלחא שובק׃ 24
ne Kallokesi, ne Piruka, ne Sobeki,
רחום חשבנה מעשיה׃ 25
ne Lekumu, ne Kasabuna, ne Maaseya,
ואחיה חנן ענן׃ 26
ne Akiya, ne Kanani, ne Anani,
מלוך חרם בענה׃ 27
ne Malluki, ne Kallimu ne Baana.
ושאר העם הכהנים הלוים השוערים המשררים הנתינים וכל הנבדל מעמי הארצות אל תורת האלהים נשיהם בניהם ובנתיהם כל יודע מבין׃ 28
“Abantu abalala bakabona, n’Abaleevi, n’abaakuumanga wankaaki, n’abayimbi, n’abaweereza b’omu yeekaalu, n’abo bonna abeeyawula ku mawanga agaali gabaliraanye olw’Amateeka ga Katonda, awamu ne bakyala baabwe, ne batabani baabwe bonna ne bawala baabwe bonna; bonna abamanyi era abategeera
מחזיקים על אחיהם אדיריהם ובאים באלה ובשבועה ללכת בתורת האלהים אשר נתנה ביד משה עבד האלהים ולשמור ולעשות את כל מצות יהוה אדנינו ומשפטיו וחקיו׃ 29
beegatte ku baganda baabwe abakungu balayire okugobereranga Amateeka ga Katonda agaabaweebwa Musa omuddu wa Katonda, n’okugonderanga, amateeka gonna, n’ebiragiro, byonna ebya Mukama Katonda waffe.
ואשר לא נתן בנתינו לעמי הארץ ואת בנתיהם לא נקח לבנינו׃ 30
“Tusuubiza obutafumbiza bawala baffe mu bantu abatwetoolodde, newaakubadde okukkiriza batabani baffe okuwasa bawala baabwe.
ועמי הארץ המביאים את המקחות וכל שבר ביום השבת למכור לא נקח מהם בשבת וביום קדש ונטש את השנה השביעית ומשא כל יד׃ 31
“Abantu abamawanga agatwetoolodde, bwe banaaleetanga ebyamaguzi oba ebyokulya okubitunda ku lunaku olwa ssabbiiti, tetuubibagulengako ku Ssabbiiti newaakubadde ku lunaku olwatukuzibwa olulala lwonna. Buli mwaka ogw’omusanvu tetuulimenga ttaka lyaffe, era tunaasonyiwanga be tubanja bonna.
והעמדנו עלינו מצות לתת עלינו שלשית השקל בשנה לעבדת בית אלהינו׃ 32
“Tunaatwalanga obuvunaanyizibwa okuwangayo eri Katonda waffe kimu kya kusatu ekya sekeri buli mwaka olw’obuweereza mu nnyumba ya Katonda waffe:
ללחם המערכת ומנחת התמיד ולעולת התמיד השבתות החדשים למועדים ולקדשים ולחטאות לכפר על ישראל וכל מלאכת בית אלהינו׃ 33
olw’emigaati egy’okulaga; olw’ekiweebwayo eky’obutta ekya buli kiseera, n’olw’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera, n’olw’ebiweebwayo ebya Ssabbiiti, n’eby’embaga y’omwezi ogwakaboneka, n’embaga ezaateekebwawo n’olw’ebintu ebyatukuzibwa; n’olw’ebiweebwayo olw’ekibi okutangiririra Isirayiri; n’olw’emirimu gyonna egy’omu nnyumba ya Katonda waffe.
והגורלות הפלנו על קרבן העצים הכהנים הלוים והעם להביא לבית אלהינו לבית אבתינו לעתים מזמנים שנה בשנה לבער על מזבח יהוה אלהינו ככתוב בתורה׃ 34
“Ffe bakabona, n’Abaleevi, n’abantu twekubidde obululu okumanya ebiseera ennyumba zaffe mwe zinaaleeteranga enku mu nnyumba ya Katonda waffe, okwakanga mu kyoto kya Mukama Katonda waffe nga kyaka buli mwaka, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka.
ולהביא את בכורי אדמתנו ובכורי כל פרי כל עץ שנה בשנה לבית יהוה׃ 35
“Ate era tutwala obuvunaanyizibwa okulaba nga buli mwaka tuleeta mu nnyumba ya Mukama ebibala ebisooka ku bisimbe byaffe ne ku buli muti ogubala ebibala.
ואת בכרות בנינו ובהמתינו ככתוב בתורה ואת בכורי בקרינו וצאנינו להביא לבית אלהינו לכהנים המשרתים בבית אלהינו׃ 36
“Era nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka, tunaaletanga abaana aboobulenzi ababereberye, n’ennyana ennume ezisooka ez’ente zaffe, n’ennyana z’amagana gaffe, n’ez’ebisibo byaffe, eri bakabona abaweerereza mu nnyumba ya Katonda waffe.
ואת ראשית עריסתינו ותרומתינו ופרי כל עץ תירוש ויצהר נביא לכהנים אל לשכות בית אלהינו ומעשר אדמתנו ללוים והם הלוים המעשרים בכל ערי עבדתנו׃ 37
“Tunaaleetanga mu mawanika g’ennyumba ya Katonda waffe, eri bakabona, ekitole ekibereberye ku mmere gye tunaabanga tugoyezza, ne ku biweebwayo byaffe, ne ku bibala ebya buli muti gwaffe ebiriibwa, ne ku wayini waffe, ne ku mafuta. Ate era tunaaleeteranga Abaleevi ekimu eky’ekkumi ku bimera byaffe, kubanga Abaleevi be bakuŋŋaanya ebitundu eby’ekkumi mu byalo byaffe byonna gye tulimira.
והיה הכהן בן אהרן עם הלוים בעשר הלוים והלוים יעלו את מעשר המעשר לבית אלהינו אל הלשכות לבית האוצר׃ 38
Kabona, ow’omu lulyo lwa Alooni, yanaawerekeranga abaleevi, bwe banaabanga bagenze okukima ebitundu eby’ekkumi, era Abaleevi banaaleetanga kimu kya kkumi ku bitundu eby’ekkumi mu nnyumba ya Katonda waffe, mu bisenge, mu mawanika.
כי אל הלשכות יביאו בני ישראל ובני הלוי את תרומת הדגן התירוש והיצהר ושם כלי המקדש והכהנים המשרתים והשוערים והמשררים ולא נעזב את בית אלהינו׃ 39
Abantu ba Isirayiri okwo nga kw’otadde n’Abaleevi, banaaleetanga ebirabo byabwe eby’emmere ey’empeke, ne wayini omuggya, n’omuzigo mu mawanika, ebintu eby’omu kifo ekitukuvu gye biterekebwa, era bakabona abaweereza, n’abakuuma wankaaki n’abayimbi gye babeera. “Tetuulagajjalirenga nnyumba ya Katonda waffe.”

< נחמיה 10 >