< נחום 2 >

עלה מפיץ על פניך נצור מצרה צפה דרך חזק מתנים אמץ כח מאד׃ 1
Nineeve, olumbiddwa omulabe; kuuma ekigo, Kuuma ekkubo, weesibire ddala onywere mu kiwato, kuŋŋaanya amaanyi go gonna.
כי שב יהוה את גאון יעקב כגאון ישראל כי בקקום בקקים וזמריהם שחתו׃ 2
Kubanga Mukama alizzaawo ekitiibwa kya Yakobo, kibe ng’ekitiibwa kya Isirayiri, newaakubadde ng’abazikiriza baabasaanyawo, ne boonoona emizabbibu gyabwe.
מגן גבריהו מאדם אנשי חיל מתלעים באש פלדות הרכב ביום הכינו והברשים הרעלו׃ 3
Engabo z’eggye erikutabadde zonna myufu n’engoye ze bambadde nazo bwe zityo. Amagaali g’ebyuuma gamasamasa ku lunaku lwe gategekebwa, era n’amafumu gagalulwa mu ngeri ey’entiisa!
בחוצות יתהוללו הרכב ישתקשקון ברחבות מראיהן כלפידם כברקים ירוצצו׃ 4
Amagaali g’abalwanyi gatayira mu nguudo, gadda eno n’eri, galabika ng’emimuli egyaka, gamyansa ng’eggulu.
יזכר אדיריו יכשלו בהלכותם ימהרו חומתה והכן הסכך׃ 5
Omuduumizi bw’ayita abalwanyi be bajja bagwirana. Badduka mbiro ku bbugwe w’ekibuga we beetegekera okwerwanako.
שערי הנהרות נפתחו וההיכל נמוג׃ 6
Enzigi ez’omugga zigguddwawo, amazzi ne gasaanyaawo olubiri.
והצב גלתה העלתה ואמהתיה מנהגות כקול יונים מתפפת על לבבהן׃ 7
Etteeka lyayisibwa ku kibuga nti kiriwaŋŋangusibwa, abaddu abakazi bakungubaga ng’amayiba, nga bwe beekuba mu bifuba.
ונינוה כברכת מים מימי היא והמה נסים עמדו עמדו ואין מפנה׃ 8
Ab’omu Nineeve bafaanana ng’ekidiba eky’amazzi agakalira. Wadde nga babakoowoola nti, “Muyimirire, muyimirire!” bo beeyongerayo bweyongezi.
בזו כסף בזו זהב ואין קצה לתכונה כבד מכל כלי חמדה׃ 9
Ffeeza yaakyo temugirekaawo, ne zaabu nayo mugitwalire ddala, omunyago teguggwaayo, eby’obugagga byakyo ebitabalika ebirungi ddala.
בוקה ומבוקה ומבלקה ולב נמס ופק ברכים וחלחלה בכל מתנים ופני כלם קבצו פארור׃ 10
Ekibuga kisigadde kyangaala! Abantu bonna emitima gibeewanise, emibiri gibakankana, amaviivi gabakubagana, basiiwuuse ne mu maaso.
איה מעון אריות ומרעה הוא לכפרים אשר הלך אריה לביא שם גור אריה ואין מחריד׃ 11
Eri ludda wa empuku y’empologoma, ekifo we ziriisiza empologoma zaazo ento, empologoma ensajja, n’enkazi, n’ento we zaatambuliranga nga tewali kizikanga?
אריה טרף בדי גרותיו ומחנק ללבאתיו וימלא טרף חריו ומענתיו טרפה׃ 12
Empologoma ensajja yayigganga ennyama y’abaana ebamala, n’enkazi n’ezittira eyaazo, n’ejjuza empuku n’omuyiggo, ne mu bisulo ne mujjula ennyama.
הנני אליך נאם יהוה צבאות והבערתי בעשן רכבה וכפיריך תאכל חרב והכרתי מארץ טרפך ולא ישמע עוד קול מלאככה׃ 13
“Laba nze Mukama ow’Eggye nkwolekedde, era ndyokya amagaali go gonna ne ganyooka, n’ekitala kirizikiriza empologoma zo ento. Era tolifuna munyago mulala nate ku nsi, n’eddoboozi ly’ababaka bo teririddayo kuwulirwa.”

< נחום 2 >