< איוב 30 >

ועתה שחקו עלי צעירים ממני לימים אשר מאסתי אבותם לשית עם כלבי צאני׃ 1
“Naye kaakano bansekerera; abantu abansinga obuto, bakitaabwe be nnandibadde nteeka wamu n’embwa ezikuuma endiga zange.
גם כח ידיהם למה לי עלימו אבד כלח׃ 2
Amaanyi g’emikono gyabwe gaali gangasa ki? Abantu abaali baweddemu amaanyi ag’obuvubuka bwabwe,
בחסר ובכפן גלמוד הערקים ציה אמש שואה ומשאה׃ 3
abakoozimbye abaali mu bwetaavu era abayala, bameketa ettaka ekkalu mu nsi enjereere mu budde obw’ekiro.
הקטפים מלוח עלי שיח ושרש רתמים לחמם׃ 4
Banoga ebiragala ebiwoomerera ng’omunnyo mu bisaka, enkolokolo ez’omwoloola y’emmere yaabwe.
מן גו יגרשו יריעו עלימו כגנב׃ 5
Baagobebwa bave mu bantu bannaabwe, ne babaleekaanira gy’obeera nti, baali babbi.
בערוץ נחלים לשכן חרי עפר וכפים׃ 6
Baawalirizibwa okubeera mu migga egyakalira, mu njazi ne mu binnya wansi mu ttaka.
בין שיחים ינהקו תחת חרול יספחו׃ 7
Baakaabira mu bisaka ng’ensolo ne beekweka mu bikoola by’emiti.
בני נבל גם בני בלי שם נכאו מן הארץ׃ 8
Ezzadde ly’abasirusiru abatalina bwe bayitibwa, baagobebwa mu nsi.
ועתה נגינתם הייתי ואהי להם למלה׃ 9
Naye kaakano abaana baabwe bansekerera nga bannyimba; nfuuse ekyenyinyalwa gye bali,
תעבוני רחקו מני ומפני לא חשכו רק׃ 10
abatanjagala abanneesalako, banguwa okunfujjira amalusu mu maaso.
כי יתרו פתח ויענני ורסן מפני שלחו׃ 11
Kaakano Katonda nga bw’atagguludde akasaale kange, ammazeemu amaanyi; beeyisizza nga bwe balaba mu maaso gange.
על ימין פרחח יקומו רגלי שלחו ויסלו עלי ארחות אידם׃ 12
Abantu bano bannumba ku mukono gwange ogwa ddyo; bategera ebigere byange emitego, ne baziba amakubo banzikirize.
נתסו נתיבתי להותי יעילו לא עזר למו׃ 13
Banzingiza ne banzikiriza, nga tewali n’omu abayambye.
כפרץ רחב יאתיו תחת שאה התגלגלו׃ 14
Banzingiza ng’abayita mu kituli ekigazi, bayingira nga bayita mu muwaatwa.
ההפך עלי בלהות תרדף כרוח נדבתי וכעב עברה ישעתי׃ 15
Nnumbiddwa ebitiisa eby’amaanyi; ekitiibwa kyange kifuumuuse ng’ekifuuyiddwa empewo, era n’obukuumi bwange ne bubulawo ng’ekire.”
ועתה עלי תשתפך נפשי יאחזוני ימי עני׃ 16
“Era kaakano obulamu bwange buseebengerera buggwaawo, ennaku ez’okubonaabona zinzijjidde.
לילה עצמי נקר מעלי וערקי לא ישכבון׃ 17
Ekiro kifumita amagumba gange era obulumi bwe nnina tebukoma.
ברב כח יתחפש לבושי כפי כתנתי יאזרני׃ 18
Mu maanyi ge amangi Katonda abeera ng’olugoye lwe nneebikka, n’ensibibwa ng’ekitogi ky’ekyambalo kyange.
הרני לחמר ואתמשל כעפר ואפר׃ 19
Ansuula mu bitosi, ne nfuuka ng’enfuufu n’evvu.
אשוע אליך ולא תענני עמדתי ותתבנן בי׃ 20
“Nkukaabirira nti, Ayi Katonda, naye toddamu; nnyimirira, naye ontunuulira butunuulizi.
תהפך לאכזר לי בעצם ידך תשטמני׃ 21
Onkyukira n’obusungu; onnumba n’omukono gwo ogw’amaanyi.
תשאני אל רוח תרכיבני ותמגגני תשוה׃ 22
Onsitula mu bbanga n’ongobesa empewo, n’onziza eno n’eri mu muyaga.
כי ידעתי מות תשיבני ובית מועד לכל חי׃ 23
Mmanyi nga olintuusa mu kufa, mu kifo kye wateekerawo abalamu bonna.
אך לא בעי ישלח יד אם בפידו להן שוע׃ 24
“Ddala tewali ayamba muntu anyigirizibwa ng’akaaba mu kunyigirizibwa kwe.
אם לא בכיתי לקשה יום עגמה נפשי לאביון׃ 25
Saakaabira abo abaali mu buzibu? Emmeeme yange teyalumirirwa abaavu?
כי טוב קויתי ויבא רע ואיחלה לאור ויבא אפל׃ 26
Naye bwe nanoonya obulungi, ekibi kye kyajja; bwe nanoonya ekitangaala, ekizikiza kye kyajja.
מעי רתחו ולא דמו קדמני ימי עני׃ 27
Olubuto lwange lutokota, terusirika; ennaku ez’okubonaabona kwange zinjolekedde.
קדר הלכתי בלא חמה קמתי בקהל אשוע׃ 28
Nzenna ŋŋenda nzirugala naye si lwa kwokebwa musana; nnyimirira mu lukuŋŋaana, ne nsaba obuyambi.
אח הייתי לתנים ורע לבנות יענה׃ 29
Nfuuse muganda w’ebibe, munne w’ebiwuugulu.
עורי שחר מעלי ועצמי חרה מני חרב׃ 30
Olususu lwange luddugadde, era lususumbuka; n’omubiri gwange gwokerera.
ויהי לאבל כנרי ועגבי לקול בכים׃ 31
Ettendo lyange lifuuseemu kukaaba n’akalere kange ne kavaamu eddoboozi ery’ebiwoobe.”

< איוב 30 >