< איוב 3 >

אחרי כן פתח איוב את פיהו ויקלל את יומו׃ 1
Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu n’ayasamya akamwa ke n’akolimira olunaku kwe yazaalirwa.
ויען איוב ויאמר׃ 2
N’agamba nti,
יאבד יום אולד בו והלילה אמר הרה גבר׃ 3
“Olunaku kwe nazaalirwa luzikirire, n’ekiro lwe kyalangirirwa nti omwana mulenzi.
היום ההוא יהי חשך אל ידרשהו אלוה ממעל ואל תופע עליו נהרה׃ 4
Olunaku olwo lubuutikirwe ekizikiza, omusana guleme okulwakako, Katonda aleme okulufaako.
יגאלהו חשך וצלמות תשכן עליו עננה יבעתהו כמרירי יום׃ 5
Ekizikiza n’ekisiikirize eky’okufa birujjule, ekire kirutuuleko, ekizikiza kikankanye ekitangaala kyalwo.
הלילה ההוא יקחהו אפל אל יחד בימי שנה במספר ירחים אל יבא׃ 6
Ekizikiza ekikutte be zigizigi kirunyage, luleme okubalirwa awamu n’ennaku eziri mu mwaka, wadde okuyingizibwa mu ezo eziri mu mwezi.
הנה הלילה ההוא יהי גלמוד אל תבא רננה בו׃ 7
Yee, lubeere lugumba, waleme okuba eddoboozi lyonna ery’essanyu eririwulirwako.
יקבהו אררי יום העתידים ערר לויתן׃ 8
Abo abakolimira ennyanja n’ennaku balukolimire, n’abo abamanyi okuzuukusa agasolo galukwata mu nnyanja, balukolimire.
יחשכו כוכבי נשפו יקו לאור ואין ואל יראה בעפעפי שחר׃ 9
Emmunyeenye ez’omu matulutulu gaalwo zibe ekizikiza, lulindirire ekitangaala kirubulwe, luleme okulaba ebikowe by’oku nkya.
כי לא סגר דלתי בטני ויסתר עמל מעיני׃ 10
Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange, nneme okulaba obuyinike.
למה לא מרחם אמות מבטן יצאתי ואגוע׃ 11
“Lwaki saafa nga nzalibwa, oba ne nfa nga nva mu lubuto lwa mmange?
מדוע קדמוני ברכים ומה שדים כי אינק׃ 12
Lwaki amaviivi ganzikiriza okugatuulako era n’amabeere okugayonka?
כי עתה שכבתי ואשקוט ישנתי אז ינוח לי׃ 13
Kaakano nandibadde ngalamidde nga neesirikidde, nandibadde neebase nga neewummulidde,
עם מלכים ויעצי ארץ הבנים חרבות למו׃ 14
wamu ne bakabaka n’abakungu ab’ensi, abezimbira embiri kaakano amatongo,
או עם שרים זהב להם הממלאים בתיהם כסף׃ 15
oba n’abalangira abaalina zaabu, abajjuzanga ffeeza mu nnyumba zaabwe.
או כנפל טמון לא אהיה כעללים לא ראו אור׃ 16
Oba lwaki saaziikibwa ng’omwana azaaliddwa ng’afudde, atalabye ku kitangaala?
שם רשעים חדלו רגז ושם ינוחו יגיעי כח׃ 17
Eyo ababi gye batatawaanyizibwa, era n’abakooye gye bawummulira.
יחד אסירים שאננו לא שמעו קול נגש׃ 18
Abasibe gye bawummulira awamu, gye batawulirira kiragiro ky’oyo abaduumira.
קטן וגדול שם הוא ועבד חפשי מאדניו׃ 19
Abakopi n’abakungu gye babeera; abaddu gye batatuntuzibwa bakama baabwe.
למה יתן לעמל אור וחיים למרי נפש׃ 20
“Lwaki omuyinike aweebwa ekitangaala, ne kimulisiza oyo alumwa mu mwoyo,
המחכים למות ואיננו ויחפרהו ממטמונים׃ 21
era lwaki yeegomba okufa naye ne kutajja, n’akunoonya okusinga obugagga obuziikiddwa,
השמחים אלי גיל ישישו כי ימצאו קבר׃ 22
abajaguza ekisukkiridde, ne basanyuka ng’atuuse ku ntaana?
לגבר אשר דרכו נסתרה ויסך אלוה בעדו׃ 23
Lwaki okuwa ekitangaala oyo, atayinza kulaba kkubo, Katonda gw’akomedde?
כי לפני לחמי אנחתי תבא ויתכו כמים שאגתי׃ 24
Kubanga nkaaba mu kifo ky’okulya, n’okusinda kwange kufukumuka ng’amazzi.
כי פחד פחדתי ויאתיני ואשר יגרתי יבא לי׃ 25
Ekintu kye nantiiranga ddala era kye nakyawa kye kyantukako.
לא שלותי ולא שקטתי ולא נחתי ויבא רגז׃ 26
Siwummudde wadde okusiriikirira wadde okuba n’emirembe, wabula buzibu bwereere bwe bunzijidde.”

< איוב 3 >