< איוב 26 >
מה עזרת ללא כח הושעת זרוע לא עז׃ | 2 |
“Ng’oyambye oyo atalina maanyi! Ng’oyambye omukono ogwo ogutalina maanyi!
מה יעצת ללא חכמה ותושיה לרב הודעת׃ | 3 |
Ng’amagezi ga kitalo ago g’owadde oyo atalina magezi! Ng’owadde okuluŋŋamizibwa okuyitirivu!
את מי הגדת מלין ונשמת מי יצאה ממך׃ | 4 |
Ani akuyambye okwogera ebigambo ebyo? Era mwoyo ki ogwogeredde mu kamwa ko?
הרפאים יחוללו מתחת מים ושכניהם׃ | 5 |
“Abafu kye balimu tekigumiikirizika, n’abo abali wansi w’amazzi ne bonna abagabeeramu.
ערום שאול נגדו ואין כסות לאבדון׃ (Sheol ) | 6 |
Amagombe gali bwereere mu maaso ga Katonda; n’okuzikiriza tekulina kikubisse. (Sheol )
נטה צפון על תהו תלה ארץ על בלי מה׃ | 7 |
Ayanjuluza eggulu ery’obukiikakkono mu bbanga ejjereere, awanika ensi awatali kigiwanirira.
צרר מים בעביו ולא נבקע ענן תחתם׃ | 8 |
Asiba amazzi mu bire bye; ate ebire tebyabika olw’okuzitoowererwa.
מאחז פני כסה פרשז עליו עננו׃ | 9 |
Abikka obwenyi bw’omwezi, agwanjululizaako ebire bye.
חק חג על פני מים עד תכלית אור עם חשך׃ | 10 |
Ateekawo ekipimo ekiraga waggulu amazzi g’ennyanja we gayita, ng’ensalo eyawula ekitangaala n’ekizikiza.
עמודי שמים ירופפו ויתמהו מגערתו׃ | 11 |
Empagi z’eggulu zikankana, zeewuunya olw’okunenya kwe.
בכחו רגע הים ובתובנתו מחץ רהב׃ | 12 |
Afuukuula ennyanja n’obuyinza bwe, n’asalaasala Lakabu mu bitundutundu n’amagezi ge.
ברוחו שמים שפרה חללה ידו נחש בריח׃ | 13 |
Yafuuwa omukka ogwatereeza eggulu, omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka.
הן אלה קצות דרכו ומה שמץ דבר נשמע בו ורעם גבורתו מי יתבונן׃ | 14 |
Naye nga bino katundu butundu ku bye yakola. Nga kye tumuwulirako katundu butundu ku ekyo ky’ali! Ani ayinza okutegeera okubwatuka kw’obuyinza bwe?”