< איוב 23 >
גם היום מרי שחי ידי כבדה על אנחתי׃ | 2 |
“N’okutuusa leero okwemulugunya kwange kubalagala, omukono gwe gunzitoowerera wadde mbadde mu kusinda.
מי יתן ידעתי ואמצאהו אבוא עד תכונתו׃ | 3 |
Singa nnali mmanyi aw’okumusanga nandisobodde okulaga gy’abeera!
אערכה לפניו משפט ופי אמלא תוכחות׃ | 4 |
Nanditutte empoza yange gy’ali, akamwa kange nga nkajjuzizza ensonga zange.
אדעה מלים יענני ואבינה מה יאמר לי׃ | 5 |
Nanditegedde kye yandinzizeemu, ne neetegereza kye yandiŋŋambye.
הברב כח יריב עמדי לא אך הוא ישם בי׃ | 6 |
Yandimpakanyizza n’amaanyi mangi? Nedda, teyandinteeseko musango.
שם ישר נוכח עמו ואפלטה לנצח משפטי׃ | 7 |
Eyo omuntu omutuukirivu asobola okutwalayo ensonga ye, era nandisumuluddwa omulamuzi wange emirembe n’emirembe.
הן קדם אהלך ואיננו ואחור ולא אבין לו׃ | 8 |
“Bwe ŋŋenda ebuvanjuba, nga taliiyo; ne bwe ŋŋenda ebugwanjuba, simusangayo.
שמאול בעשתו ולא אחז יעטף ימין ולא אראה׃ | 9 |
Bw’aba akola mu bukiikakkono simulaba, bw’adda mu bukiikaddyo, simulabako.
כי ידע דרך עמדי בחנני כזהב אצא׃ | 10 |
Naye amanyi amakubo mwe mpita, bw’anaamala okungezesa, nzija kuvaamu nga zaabu.
באשרו אחזה רגלי דרכו שמרתי ולא אט׃ | 11 |
Ebigere byange bimugoberedde; ntambulidde mu makubo ge nga sikyamakyama.
מצות שפתיו ולא אמיש מחקי צפנתי אמרי פיו׃ | 12 |
Saava ku biragiro by’akamwa ke. Nayagala ebigambo by’akamwa ke okusinga emmere yange gyendya bulijjo.
והוא באחד ומי ישיבנו ונפשו אותה ויעש׃ | 13 |
“Naye yeemalirira, ani ayinza okumuwakanya? Akola kyonna ekimusanyusa.
כי ישלים חקי וכהנה רבות עמו׃ | 14 |
Weewaawo ajja kutuukiriza by’asazzeewo okunjolekeza, era bingi byategese by’akyaleeta.
על כן מפניו אבהל אתבונן ואפחד ממנו׃ | 15 |
Kyenva mba n’entiisa nga ndi mu maaso ge; bwe ndowooza ku bino byonna, ne mmutya.
ואל הרך לבי ושדי הבהילני׃ | 16 |
Katonda anafuyizza nnyo omutima gwange, Ayinzabyonna antiisizza nnyo.
כי לא נצמתי מפני חשך ומפני כסה אפל׃ | 17 |
Naye ekizikiza tekinsirisizza, ekizikiza ekikutte ennyo ekibisse amaaso gange.”