< איוב 21 >
Awo Yobu n’addamu n’ayogera nti,
שמעו שמוע מלתי ותהי זאת תנחומתיכם׃ | 2 |
“Muwulirize n’obwegendereza ebigambo byange, era kino kibazzeemu amaanyi.
שאוני ואנכי אדבר ואחר דברי תלעיג׃ | 3 |
Mungumiikirizeeko nga njogera, oluvannyuma museke.
האנכי לאדם שיחי ואם מדוע לא תקצר רוחי׃ | 4 |
“Okwemulugunya kwange nkw’olekezza muntu? Lwaki okugumiikiriza tekunzigwako?
פנו אלי והשמו ושימו יד על פה׃ | 5 |
Muntunuulire mwewuunye, mujja kukwata ne ku mumwa.
ואם זכרתי ונבהלתי ואחז בשרי פלצות׃ | 6 |
Bwe ndowooza ku kino, nfuna entiisa; omubiri gwange ne gukankana.
מדוע רשעים יחיו עתקו גם גברו חיל׃ | 7 |
Lwaki abakozi b’ebibi bawangaala, ne bakaddiwa ne beeyongera n’amaanyi?
זרעם נכון לפניהם עמם וצאצאיהם לעיניהם׃ | 8 |
Balaba abaana baabwe bwe banywezebbwa, ezzadde lyabwe nga balaba.
בתיהם שלום מפחד ולא שבט אלוה עליהם׃ | 9 |
Amaka gaabwe gaba n’emirembe nga temuli kutya; omuggo gwa Katonda tegubabeerako.
שורו עבר ולא יגעל תפלט פרתו ולא תשכל׃ | 10 |
Ennume zaabwe teziremererwa, ente zaabwe enkazi zizaala awatali kusowola mwana gwazo.
ישלחו כצאן עויליהם וילדיהם ירקדון׃ | 11 |
Abaana baabwe bagendera wamu nga kisibo; obuto ne bubeera mu kuzina.
ישאו כתף וכנור וישמחו לקול עוגב׃ | 12 |
Bayimbira ku bitaasa n’ennanga, ne basanyukira eddoboozi ly’omulere.
יבלו בטוב ימיהם וברגע שאול יחתו׃ (Sheol ) | 13 |
Emyaka gyabwe gyonna babeera bulungi, mangwago ne bakka mu ntaana. (Sheol )
ויאמרו לאל סור ממנו ודעת דרכיך לא חפצנו׃ | 14 |
Kyokka bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe gyaffe! Tetwegomba kumanya makubo go.
מה שדי כי נעבדנו ומה נועיל כי נפגע בו׃ | 15 |
Ayinzabyonna ye ani tulyoke tumuweereze? Kiki kye tuganyulwa bwe tumusaba?’
הן לא בידם טובם עצת רשעים רחקה מני׃ | 16 |
Naye obugagga bwabwe tebuli mu mikono gyabwe, noolwekyo amagezi g’abakozi b’ebibi ganneewunyisa.
כמה נר רשעים ידעך ויבא עלימו אידם חבלים יחלק באפו׃ | 17 |
“Ettaala y’abakozi b’ebibi yo, ezikira emirundi emeka? Ennaku ebajjira emirundi emeka? Katonda abatuusaako obulumi, ng’abasunguwalidde.
יהיו כתבן לפני רוח וכמץ גנבתו סופה׃ | 18 |
Bali ng’ebisasiro ebitwaalibwa empewo; ng’ebisusunku embuyaga bye zitwala.
אלוה יצפן לבניו אונו ישלם אליו וידע׃ | 19 |
Katonda abonereza abaana olw’ekibi kya bakitaabwe. Asasule omuntu yennyini oyo alyoke ategeere!
יראו עינו כידו ומחמת שדי ישתה׃ | 20 |
Leka amaaso ge ye yennyini galabe okuzikirira; leka anywe ku kiruyi kya Ayinzabyonna.
כי מה חפצו בביתו אחריו ומספר חדשיו חצצו׃ | 21 |
Kubanga aba afaayo ki ku maka g’aba alese, nga emyezi gye egyamutegekerwa giweddeko?
הלאל ילמד דעת והוא רמים ישפוט׃ | 22 |
“Eriyo ayinza okuyigiriza Katonda amagezi, kubanga asalira omusango n’abo abasinga okuba aba waggulu?
זה ימות בעצם תמו כלו שלאנן ושליו׃ | 23 |
Omusajja omu afiira w’abeerera ow’amaanyi, nga munywevu ddala ali mu mirembe gye,
עטיניו מלאו חלב ומח עצמותיו ישקה׃ | 24 |
omubiri gwe nga guliisiddwa bulungi, amagumba ge nga gajjudde obusomyo.
וזה ימות בנפש מרה ולא אכל בטובה׃ | 25 |
Omusajja omulala n’afa ng’alina obulumi ku mutima, nga teyafuna kintu kyonna kirungi.
יחד על עפר ישכבו ורמה תכסה עליהם׃ | 26 |
Ne beebaka kye kimu mu ttaka, envunyu ne zibabikka bombi.
הן ידעתי מחשבותיכם ומזמות עלי תחמסו׃ | 27 |
“Mmanyi bulungi ddala kye mulowooza, enkwe ze mwagala okunsalira.
כי תאמרו איה בית נדיב ואיה אהל משכנות רשעים׃ | 28 |
Mugamba nti, ‘Kaakano eruwa ennyumba y’omusajja ow’amaanyi, eweema abasajja abakozi b’ebibi mwe baabeeranga?’
הלא שאלתם עוברי דרך ואתתם לא תנכרו׃ | 29 |
Temwebuuzanga ku abo abatambula eŋŋendo? Temukkiriza bye babagamba,
כי ליום איד יחשך רע ליום עברות יובלו׃ | 30 |
nti omusajja omukozi w’ebibi awona ku lunaku olw’emitawaana, era awona ku lunaku olw’ekiruyi?
מי יגיד על פניו דרכו והוא עשה מי ישלם לו׃ | 31 |
Ani avumirira ebikolwa bye maaso ku maaso, ani amusasula ebyo by’akoze?
והוא לקברות יובל ועל גדיש ישקוד׃ | 32 |
Atwalibwa ku ntaana, era amalaalo ge gakuumibwa.
מתקו לו רגבי נחל ואחריו כל אדם ימשוך ולפניו אין מספר׃ | 33 |
Ettaka eriri mu lusenyi limuwoomera, abantu bonna bamugoberera, n’abalala abatamanyiddwa muwendo ne bamukulembera.
ואיך תנחמוני הבל ותשובתיכם נשאר מעל׃ | 34 |
“Kaakano musobola mutya okuŋŋumya n’ebitaliimu? Tewali kisigaddeyo ku bye mwanzizeemu wabula obulimba!”