< איוב 15 >
ויען אליפז התימני ויאמר׃ | 1 |
Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti,
החכם יענה דעת רוח וימלא קדים בטנו׃ | 2 |
“Omuntu ow’amagezi yandizzeemu n’amagezi agataliimu, oba n’ajjuza olubuto lwe embuyaga ez’ebuvanjuba?
הוכח בדבר לא יסכון ומלים לא יועיל בם׃ | 3 |
Yandiwakanye n’ebigambo ebitaliiko kye bigasa, oba okwogera ebigambo ebitalina kye bikola?
אף אתה תפר יראה ותגרע שיחה לפני אל׃ | 4 |
Naye onyooma Katonda n’oziyiza okwewaayo eri Katonda.
כי יאלף עונך פיך ותבחר לשון ערומים׃ | 5 |
Kubanga obutali butuukirivu bwo bwe buyigiriza akamwa ko, era olonzeewo okukozesa olulimi lw’abalimba.
ירשיעך פיך ולא אני ושפתיך יענו בך׃ | 6 |
Akamwa ko kennyini ke kakusalira omusango si nze, emimwa gyo gyennyini gye gikulumiriza.
הראישון אדם תולד ולפני גבעות חוללת׃ | 7 |
“Gwe wasooka abantu bonna okuzaalibwa? Oba ggwe wazaalibwa ensozi nga tezinnabaawo?
הבסוד אלוה תשמע ותגרע אליך חכמה׃ | 8 |
Ofaayo okuwuliriza okuteesa kwa Katonda? Olowooza gwe mugezi wekka?
מה ידעת ולא נדע תבין ולא עמנו הוא׃ | 9 |
Kiki ky’omanyi kye tutamanyi? Kubikkulirwa ki kw’olina ffe kwe tutalina?
גם שב גם ישיש בנו כביר מאביך ימים׃ | 10 |
Ab’envi abakaddiye bali ku ludda lwaffe, abasajja abakulu n’okusinga kitaawo.
המעט ממך תנחמות אל ודבר לאט עמך׃ | 11 |
Katonda by’akugambye ebikuzzaamu amaanyi bitono nnyo tebikumala, ebigambo ebikubuuliddwa mu bukkakkamu?
מה יקחך לבך ומה ירזמון עיניך׃ | 12 |
Lwaki omutima gwo gukubuzizza, amaaso go ne gatemereza
כי תשיב אל אל רוחך והצאת מפיך מלין׃ | 13 |
n’olyoka ofuka obusungu bwo eri Katonda, n’ofukumula ebigambo bwe bityo okuva mu kamwa ko?
מה אנוש כי יזכה וכי יצדק ילוד אשה׃ | 14 |
“Omuntu ye ani, alyoke abeere omutukuvu, oba oyo azaalibwa omukazi nti ayinza okuba omutuukirivu?
הן בקדשו לא יאמין ושמים לא זכו בעיניו׃ | 15 |
Katonda bw’aba tassa bwesige mu batukuvu be, n’eggulu ne liba nga si ttukuvu mu maaso ge,
אף כי נתעב ונאלח איש שתה כמים עולה׃ | 16 |
oba oleeta otya omuntu obuntu, omugwagwa era omuvundu, anywa obutali butuukirivu nga amazzi!
אחוך שמע לי וזה חזיתי ואספרה׃ | 17 |
“Mpuliriza nnaakunnyonnyola, leka nkubuulire kye ndabye:
אשר חכמים יגידו ולא כחדו מאבותם׃ | 18 |
abasajja ab’amagezi kye bagambye nga tebalina kye bakwese ku kye baafuna okuva eri bakadde baabwe
להם לבדם נתנה הארץ ולא עבר זר בתוכם׃ | 19 |
abo bokka abaweebwa ensi nga tewali mugwira agiyitamu.
כל ימי רשע הוא מתחולל ומספר שנים נצפנו לעריץ׃ | 20 |
Omuntu omukozi w’ebibi, aba mu kubonaabona ennaku ze zonna, n’anyigirizibwa emyaka gyonna egyamutegekerwa.
קול פחדים באזניו בשלום שודד יבואנו׃ | 21 |
Amaloboozi agatiisa gajjuza amatu ge; byonna bwe biba ng’ebiteredde, abanyazi ne bamulumba.
לא יאמין שוב מני חשך וצפו הוא אלי חרב׃ | 22 |
Atya okuva mu kizikiza adde, ekitala kiba kimulinze okumusala.
נדד הוא ללחם איה ידע כי נכון בידו יום חשך׃ | 23 |
Adda eno n’eri ng’anoonya ky’anaalya, amanyi ng’olunaku olw’ekizikiza lumutuukiridde.
יבעתהו צר ומצוקה תתקפהו כמלך עתיד לכידור׃ | 24 |
Okweraliikirira n’obubalagaze bimubuutikira, bimujjula nga kabaka eyetegekedde olutalo.
כי נטה אל אל ידו ואל שדי יתגבר׃ | 25 |
Kubanga anyeenyerezza Katonda ekikonde, ne yeegereegeranya ku oyo Ayinzabyonna,
ירוץ אליו בצואר בעבי גבי מגניו׃ | 26 |
n’agenda n’ekyejo amulumbe, n’engabo ennene enzito.
כי כסה פניו בחלבו ויעש פימה עלי כסל׃ | 27 |
“Wadde nga yenna yagejja amaaso ng’ajjudde amasavu mu mbiriizi,
וישכון ערים נכחדות בתים לא ישבו למו אשר התעתדו לגלים׃ | 28 |
wakubeera mu bibuga eby’amatongo, ne mu bifulukwa, ennyumba ezigwa okufuuka ebifunfugu.
לא יעשר ולא יקום חילו ולא יטה לארץ מנלם׃ | 29 |
Taddeyo kugaggawala, n’obugagga bwe tebulirwawo, n’ebintu by’alina tebirifuna mirandira mu ttaka.
לא יסור מני חשך ינקתו תיבש שלהבת ויסור ברוח פיו׃ | 30 |
Taliwona kizikiza, olulimi lw’omuliro lunaakazanga amatabi ge, era omukka gw’omu kamwa gulimugobera wala.
אל יאמן בשו נתעה כי שוא תהיה תמורתו׃ | 31 |
Alemenga okwerimba nga yeesiga ebitaliimu, kubanga talina ky’ajja kuganyulwa.
בלא יומו תמלא וכפתו לא רעננה׃ | 32 |
Wa kusasulwa byonna ng’obudde tebunnatuuka, n’amatabi ge tegalikula.
יחמס כגפן בסרו וישלך כזית נצתו׃ | 33 |
Aliba ng’omuzabbibu ogugiddwako emizabbibu egitannaba kwengera, ng’omuzeyituuni ogukunkumula ebikoola byagwo.
כי עדת חנף גלמוד ואש אכלה אהלי שחד׃ | 34 |
Kubanga ekibiina ky’abatatya Katonda kinaabeeranga kigumba, era omuliro gunaayokyanga weema ezinaabangamu enguzi.
הרה עמל וילד און ובטנם תכין מרמה׃ | 35 |
Baba embuto ez’ekibi ne bazaala obutali butuukirivu, embuto zaabwe zizaala obulimba.”