< איוב 14 >

אדם ילוד אשה קצר ימים ושבע רגז׃ 1
“Omuntu azaalibwa omukazi, abeera ku nsi akaseera katono era abeera mu kutegana.
כציץ יצא וימל ויברח כצל ולא יעמוד׃ 2
Amulisa ng’ekimuli n’awotoka; abulawo mangu ng’ekisiikirize, tabeerera.
אף על זה פקחת עינך ואתי תביא במשפט עמך׃ 3
Otunuulira omuntu afaanana bw’atyo? Olimuleeta gy’oli asalirwe omusango?
מי יתן טהור מטמא לא אחד׃ 4
Ani ayinza okuggya ekirongoofu mu kitali kirongoofu? Tewali n’omu!
אם חרוצים ימיו מספר חדשיו אתך חקו עשית ולא יעבור׃ 5
Ennaku z’omuntu zaagererwa, wagera obungi bw’emyezi gye era n’oteekawo ekkomo ly’atasobola kusukka.
שעה מעליו ויחדל עד ירצה כשכיר יומו׃ 6
Kale tomufaako muleke yekka, okutuusa lw’alimala okutuukiriza emirimu gye ng’omupakasi.
כי יש לעץ תקוה אם יכרת ועוד יחליף וינקתו לא תחדל׃ 7
“Wakiri waliwo essuubi ng’omuti guloka: Bwe gutemebwa, guloka nate, era ekikolo kyagwo ekiggya tekifa.
אם יזקין בארץ שרשו ובעפר ימות גזעו׃ 8
Emirandira gyagwo gyandikaddiyidde mu ttaka era n’ekikonge ne kifiira mu ttaka,
מריח מים יפרח ועשה קציר כמו נטע׃ 9
naye olw’emirandira okutambula ne ginoonya amazzi kimulisa ne kireeta amatabi ng’ekisimbe.
וגבר ימות ויחלש ויגוע אדם ואיו׃ 10
Naye omuntu afa era n’agalamizibwa, assa ogw’enkomerero n’akoma.
אזלו מים מני ים ונהר יחרב ויבש׃ 11
Ng’amazzi bwe gaggwa mu nnyanja oba omugga bwe gukalira ne guggwaawo,
ואיש שכב ולא יקום עד בלתי שמים לא יקיצו ולא יערו משנתם׃ 12
bw’atyo omuntu bw’agalamira, era n’atasituka okutuusa eggulu bwe linaggwaawo, abantu tebajja kuzuukuka oba kuggyibwa mu tulo twabwe.
מי יתן בשאול תצפנני תסתירני עד שוב אפך תשית לי חק ותזכרני׃ (Sheol h7585) 13
“Singa kale onkweka emagombe era n’onziika okutuusa obusungu bwo lwe buliggwaawo! Singa ongerera ekiseera n’onzijukira! (Sheol h7585)
אם ימות גבר היחיה כל ימי צבאי איחל עד בוא חליפתי׃ 14
Omuntu bw’afa, addamu n’abeera omulamu? Ennaku zange zonna ez’okuweereza nnaalindanga okuwona kwange kujje.
תקרא ואנכי אענך למעשה ידיך תכסף׃ 15
Olimpita nange ndikuyitaba; olyegomba ekitonde emikono gyo kye gyatonda.
כי עתה צעדי תספור לא תשמור על חטאתי׃ 16
Ddala ku olwo bw’olibala ebigere byange, naye tolyekaliriza bibi byange.
חתם בצרור פשעי ותטפל על עוני׃ 17
Ebisobyo byange biriba bisibiddwa mu kisawo; olibikka ku kibi kyange.
ואולם הר נופל יבול וצור יעתק ממקמו׃ 18
“Naye ng’olusozi bwe luseebengerera ne luggwaawo, era ng’ejjinja bwe liva mu kifo kyalyo,
אבנים שחקו מים תשטף ספיחיה עפר ארץ ותקות אנוש האבדת׃ 19
ng’amazzi bwe gaggwereeza amayinja era ng’okwanjaala kwago bwe kutwala ettaka ly’oku nsi; bw’atyo bw’azikiriza essuubi ly’omuntu.
תתקפהו לנצח ויהלך משנה פניו ותשלחהו׃ 20
Omumalamu amaanyi omuwangula lumu n’aggweerawo ddala; okyusa enfaanana ye n’omugoba.
יכבדו בניו ולא ידע ויצערו ולא יבין למו׃ 21
Abaana be bwe bafuna ekitiibwa, takimanya, bwe bagwa, takiraba.
אך בשרו עליו יכאב ונפשו עליו תאבל׃ 22
Obulamu bw’omubiri gwe bwokka bw’awulira ne yeekungubagira yekka.”

< איוב 14 >