< איוב 13 >
הן כל ראתה עיני שמעה אזני ותבן לה׃ | 1 |
“Laba, eriiso lyange lyalaba ebyo byonna, n’okutu kwange ne kuwulira ne mbitegeera.
כדעתכם ידעתי גם אני לא נפל אנכי מכם׃ | 2 |
Kye mumanyi nange kye mmanyi; siri wa wansi ku mmwe.
אולם אני אל שדי אדבר והוכח אל אל אחפץ׃ | 3 |
Naye neegomba okwogera n’oyo Ayinzabyonna, era n’okuleeta ensonga zange mu maaso ga Katonda.
ואולם אתם טפלי שקר רפאי אלל כלכם׃ | 4 |
Naye mmwe mumpayiriza; muli basawo abatagasa mmwe mwenna!
מי יתן החרש תחרישון ותהי לכם לחכמה׃ | 5 |
Kale singa musirika! Olwo lwe mwandibadde n’amagezi.
שמעו נא תוכחתי ורבות שפתי הקשיבו׃ | 6 |
Muwulire kaakano endowooza yange, muwulirize okwegayirira kw’emimwa gyange.
הלאל תדברו עולה ולו תדברו רמיה׃ | 7 |
Katonda munaamwogerera nga mwogera ebitali bya butuukirivu? Munaamwogerera eby’obulimba?
הפניו תשאון אם לאל תריבון׃ | 8 |
Munaamulaga ng’ataliiko luuyi, munaamuwoleza ensonga ze.
הטוב כי יחקר אתכם אם כהתל באנוש תהתלו בו׃ | 9 |
Singa akukebera, anaakusanga oli bulungi? Oyinza okumulimba nga bw’oyinza okulimba abantu?
הוכח יוכיח אתכם אם בסתר פנים תשאון׃ | 10 |
Tayinza butakunenya, singa osaliriza mu bubba.
הלא שאתו תבעת אתכם ופחדו יפל עליכם׃ | 11 |
Ekitiibwa kye ekisukiridde tekyandikutiisizza? Entiisa ye teyandikuguddeko?
זכרניכם משלי אפר לגבי חמר גביכם׃ | 12 |
Ebigambo byammwe ebijjukirwa ngero za vvu, n’okwewolereza kwammwe kwa bbumba.
החרישו ממני ואדברה אני ויעבר עלי מה׃ | 13 |
Musirike nze njogere; kyonna ekinantukako kale kintuukeko.
על מה אשא בשרי בשני ונפשי אשים בכפי׃ | 14 |
Lwaki neeteeka mu mitawaana, obulamu bwange ne mbutwalira mu mikono gyange?
הן יקטלני לא איחל אך דרכי אל פניו אוכיח׃ | 15 |
Ne bw’anzita, mu ye mwe nnina essuubi, ddala ddala nditwala ensonga zange mu maaso ge.
גם הוא לי לישועה כי לא לפניו חנף יבוא׃ | 16 |
Ddala kino kinaavaamu okusumululwa kwange, kubanga teri muntu atatya Katonda ayinza kwetantala kujja mu maaso ge!
שמעו שמוע מלתי ואחותי באזניכם׃ | 17 |
Muwulirize ebigambo byange n’obwegendereza; amatu gammwe gawulire bye ŋŋamba.
הנה נא ערכתי משפט ידעתי כי אני אצדק׃ | 18 |
Kaakano nga bwe ntegese empoza yange, mmanyi nti nzija kwejeerera.
מי הוא יריב עמדי כי עתה אחריש ואגוע׃ | 19 |
Waliwo ayinza okuleeta emisango gye nvunaanibwa? Bwe kiba bwe kityo, nzija kusirika nfe.
אך שתים אל תעש עמדי אז מפניך לא אסתר׃ | 20 |
Ebintu ebyo ebibiri byokka by’oba ompa, Ayi Katonda, awo sijja kukwekweka.
כפך מעלי הרחק ואמתך אל תבעתני׃ | 21 |
Nzigyako omukono gwo, olekere awo okuntiisatiisa n’okunkangakanga.
וקרא ואנכי אענה או אדבר והשיבני׃ | 22 |
Kale nno ompite nzija kukuddamu, oba leka njogere ggwe onziremu.
כמה לי עונות וחטאות פשעי וחטאתי הדיעני׃ | 23 |
Nsobi meka era bibi bimeka bye nkoze? Ndaga ekibi kyange era n’omusango gwange.
למה פניך תסתיר ותחשבני לאויב לך׃ | 24 |
Lwaki okweka amaaso go, n’onfuula omulabe wo?
העלה נדף תערוץ ואת קש יבש תרדף׃ | 25 |
Onoobonyaabonya ekikoola ekifuuyiddwa omuyaga? Onooyigga ebisasiro ebikaze?
כי תכתב עלי מררות ותורישני עונות נעורי׃ | 26 |
Kubanga ompadiikako ebintu ebiruma, n’ondeetera okuddamu okwetikka ebibi byange eby’omu buvubuka.
ותשם בסד רגלי ותשמור כל ארחותי על שרשי רגלי תתחקה׃ | 27 |
Oteeka ebigere byange mu nvuba, era okuuma butiribiri amakubo gange mwe mpita ng’oteeka obubonero ku bisinziiro by’ebigere byange.
והוא כרקב יבלה כבגד אכלו עש׃ | 28 |
Bw’atyo omuntu bw’aggwaawo ng’ekintu ekivundu, ng’olugoye oluliiriddwa ennyenje.”