< ירמיה 30 >
הדבר אשר היה אל ירמיהו מאת יהוה לאמר׃ | 1 |
Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya nti,
כה אמר יהוה אלהי ישראל לאמר כתב לך את כל הדברים אשר דברתי אליך אל ספר׃ | 2 |
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Wandiika ku muzingo ebigambo byonna bye njogedde naawe.
כי הנה ימים באים נאם יהוה ושבתי את שבות עמי ישראל ויהודה אמר יהוה והשבתים אל הארץ אשר נתתי לאבותם וירשוה׃ | 3 |
Ennaku zijja, lwe ndikomyawo abantu bange Isirayiri ne Yuda okuva mu busibe, mbazzeeyo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe babeere omwo,’ bw’ayogera Mukama.”
ואלה הדברים אשר דבר יהוה אל ישראל ואל יהודה׃ | 4 |
Bino bye bigambo Mukama bye yayogera ebikwata ku Isirayiri ne Yuda nti,
כי כה אמר יהוה קול חרדה שמענו פחד ואין שלום׃ | 5 |
“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “‘Emiranga egy’okutya giwulirwa, bulabe teri mirembe.
שאלו נא וראו אם ילד זכר מדוע ראיתי כל גבר ידיו על חלציו כיולדה ונהפכו כל פנים לירקון׃ | 6 |
Mubuuze mulabe. Omusajja alumwa okuzaala? Kale lwaki ndaba buli musajja ow’amaanyi ng’atadde emikono gye ku lubuto ng’omukazi alumwa okuzaala, buli muntu mu maaso yenna asiiwuuse ng’agenda okufa?
הוי כי גדול היום ההוא מאין כמהו ועת צרה היא ליעקב וממנה יושע׃ | 7 |
Nga luliba lwa nnaku olunaku olwo! Tewali lulirufaanana. Kiriba kiseera kya kabi eri Yakobo, naye aliwona n’akiyitamu.
והיה ביום ההוא נאם יהוה צבאות אשבר עלו מעל צוארך ומוסרותיך אנתק ולא יעבדו בו עוד זרים׃ | 8 |
“‘Olulituuka ku lunaku olwo, ndimenya ekikoligo okuva mu nsingo zaabwe era ne mbasaleko amasamba, ab’amawanga nga tebakyaddayo kubafuula baddu,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
ועבדו את יהוה אלהיהם ואת דוד מלכם אשר אקים להם׃ | 9 |
Wabula, bajja kuweerezanga Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe gwe ndibayimusiza.
ואתה אל תירא עבדי יעקב נאם יהוה ואל תחת ישראל כי הנני מושיעך מרחוק ואת זרעך מארץ שבים ושב יעקב ושקט ושאנן ואין מחריד׃ | 10 |
“‘Noolwekyo totya, ggwe Yakobo omuweereza wange, toggwaamu maanyi ggwe Isirayiri,’ bw’ayogera Mukama. ‘Ddala ddala ndibalokola okubaggya mu kifo eky’ewala, nziggye ezzadde lyammwe okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse. Yakobo aliddamu okuba n’emirembe n’obutebenkevu, era tewali n’omu alimutiisatiisa.
כי אתך אני נאם יהוה להושיעך כי אעשה כלה בכל הגוים אשר הפצותיך שם אך אתך לא אעשה כלה ויסרתיך למשפט ונקה לא אנקך׃ | 11 |
Ndi wamu nammwe era ndibalokola, wadde nga ndizikiririza ddala amawanga gye mbagobedde, siribazikiririza ddala mmwe,’ bw’ayogera Mukama. Ndibakangavvula n’obwenkanya, siribaleka nga temubonerezebbwa n’akatono.
כי כה אמר יהוה אנוש לשברך נחלה מכתך׃ | 12 |
“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “‘Ekiwundu kyo tekiwonyezeka, Ebisago byo si byakuwona.
אין דן דינך למזור רפאות תעלה אין לך׃ | 13 |
Tewali n’omu wa kukuwolereza, tewali ddagala lya kiwundu kyo, toowonyezebwe.
כל מאהביך שכחוך אותך לא ידרשו כי מכת אויב הכיתיך מוסר אכזרי על רב עונך עצמו חטאתיך׃ | 14 |
Abakuyamba bonna bakwerabidde tebakufaako. Nkukubye ng’omulabe bwe yandikoze ne nkubonereza ng’owettima bwe yandikoze, kubanga omusango gw’ozzizza munene nnyo n’ebibi byo bingi ddala.
מה תזעק על שברך אנוש מכאבך על רב עונך עצמו חטאתיך עשיתי אלה לך׃ | 15 |
Lwaki okaaba olw’ekiwundu kyo, obulumi bwo obutaliiko ddagala? Olw’okwonoona kwo okunene n’ebibi byo ebingi ennyo nkuleeseeko ebintu bino.
לכן כל אכליך יאכלו וכל צריך כלם בשבי ילכו והיו שאסיך למשסה וכל בזזיך אתן לבז׃ | 16 |
“‘Naye bonna abakumira nabo baliriibwa, abalabe bo bonna baligenda mu buwaŋŋanguse. Abo abaakunyaga balinyagibwa, abo abaakwelula balyelulwa.
כי אעלה ארכה לך וממכותיך ארפאך נאם יהוה כי נדחה קראו לך ציון היא דרש אין לה׃ | 17 |
Naye ndikuzzaawo owone, ndiwonya ebiwundu byo,’ bw’ayogera Mukama, ‘kubanga oyitibwa eyasuulibwa, Sayuuni atalina n’omu amufaako.’
כה אמר יהוה הנני שב שבות אהלי יעקוב ומשכנתיו ארחם ונבנתה עיר על תלה וארמון על משפטו ישב׃ | 18 |
“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “‘Ndizzaawo eby’obugagga by’eweema za Yakobo era mbeere n’ekisa ku kifo kyammwe kye mwabeerangamu. Ekibuga kirizimbibwa awaali amatongo gaakyo, n’olubiri luzzibwe mu kifo kyalwo ekituufu.
ויצא מהם תודה וקול משחקים והרבתים ולא ימעטו והכבדתים ולא יצערו׃ | 19 |
Mu bo mulivaamu ennyimba ez’okwebaza era n’eddoboozi ery’okujaguza, ndibaaza, era tebaliba batono, ndibawa ekitiibwa, tebalinyoomebwa.
והיו בניו כקדם ועדתו לפני תכון ופקדתי על כל לחציו׃ | 20 |
Abaana baabwe baliba nga bwe baali mu nnaku ez’edda, era n’ebitundu byabwe mwe baabeeranga bizimbibwe nga ndaba. Ndibonereza bonna ababanyigiriza.
והיה אדירו ממנו ומשלו מקרבו יצא והקרבתיו ונגש אלי כי מי הוא זה ערב את לבו לגשת אלי נאם יהוה׃ | 21 |
Omukulembeze waabwe aliba omu ku bo; omukulembeze waabwe aliyimuka okuva mu bo. Ndimuleeta wendi era musembeze kumpi nange, kubanga ani oyo alyewaayo okunyiikira okubeera okumpi nange?’ bw’ayogera Mukama.
והייתם לי לעם ואנכי אהיה לכם לאלהים׃ | 22 |
‘Noolwekyo munaabeeranga bantu bange, nange n’abeeranga Katonda wammwe.’”
הנה סערת יהוה חמה יצאה סער מתגורר על ראש רשעים יחול׃ | 23 |
Laba, omuyaga gwa Mukama gulikuntira mu kiruyi, empewo ey’amaanyi eyeetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.
לא ישוב חרון אף יהוה עד עשתו ועד הקימו מזמות לבו באחרית הימים תתבוננו בה׃ | 24 |
Obusungu bwa Mukama obubuubuuka tebujja kukoma okutuusa ng’atuukirizza ekigendererwa ky’omutima gwe. Mu nnaku ezirijja, kino mulikitegeera.