< ירמיה 22 >
כה אמר יהוה רד בית מלך יהודה ודברת שם את הדבר הזה׃ | 1 |
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Serengeta ogende mu lubiri lwa kabaka wa Yuda
ואמרת שמע דבר יהוה מלך יהודה הישב על כסא דוד אתה ועבדיך ועמך הבאים בשערים האלה׃ | 2 |
olangirire obubaka buno nti, Wulira ekigambo kya Katonda ggwe kabaka wa Yuda, ggw’atuula ku ntebe ya Dawudi, mmwe abakungu n’abantu bammwe abayita mu miryango gino.
כה אמר יהוה עשו משפט וצדקה והצילו גזול מיד עשוק וגר יתום ואלמנה אל תנו אל תחמסו ודם נקי אל תשפכו במקום הזה׃ | 3 |
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Musale emisango egy’ensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mumuggye mu mukono gw’oyo amujooga. Temukola kibi oba eby’obukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gw’abantu abataliiko musango mu kifo kino.
כי אם עשו תעשו את הדבר הזה ובאו בשערי הבית הזה מלכים ישבים לדוד על כסאו רכבים ברכב ובסוסים הוא ועבדו ועמו׃ | 4 |
Kubanga bwe muneegendereza ne mukuuma ebiragiro bino, olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi baliyita mu miryango gy’olubiri luno nga batudde mu magaali gaabwe n’abo abeebagadde embalaasi nga bawerekerwako n’abakungu baabwe, n’abantu baabwe.
ואם לא תשמעו את הדברים האלה בי נשבעתי נאם יהוה כי לחרבה יהיה הבית הזה׃ | 5 |
‘Naye bwe mutaagondere biragiro bino, nneelayirira ku lwange nti olubiri luno lulifuuka matongo,’ bw’ayogera Mukama.”
כי כה אמר יהוה על בית מלך יהודה גלעד אתה לי ראש הלבנון אם לא אשיתך מדבר ערים לא נושבה׃ | 6 |
Kubanga kino Mukama ky’agamba ku lubiri lwa kabaka wa Yuda nti, “Newaakubadde ng’oli nga Gireyaadi gye ndi, ng’entikko y’olusozi Lebanooni, ddala ddala nzija kukufuula ddungu, ng’ebibuga ebitaliimu bantu.
וקדשתי עליך משחתים איש וכליו וכרתו מבחר ארזיך והפילו על האש׃ | 7 |
Ndikusindikira abakuzikiriza, buli musajja n’ebyokulwanyisa bye, era balitema emivule gyo egisinga obulungi ne bagisuula mu muliro.
ועברו גוים רבים על העיר הזאת ואמרו איש אל רעהו על מה עשה יהוה ככה לעיר הגדולה הזאת׃ | 8 |
“Abantu abava mu mawanga amangi baliyita ku kibuga kino nga beebuuzaganya bokka ne bokka nti, ‘Lwaki Mukama yakola ekintu ekifaanana bwe kiti ku kibuga kino ekikulu bwe kiti?’
ואמרו על אשר עזבו את ברית יהוה אלהיהם וישתחוו לאלהים אחרים ויעבדום׃ | 9 |
Era eky’okuddamu kibeere nti, ‘Kubanga beerabira endagaano ya Mukama Katonda waabwe ne basinza era ne baweereza bakatonda abalala.’”
אל תבכו למת ואל תנדו לו בכו בכו להלך כי לא ישוב עוד וראה את ארץ מולדתו׃ | 10 |
Temukaabira kabaka afudde oba okumukungubagira, wabula mukaabire nnyo oyo omuwaŋŋanguse, kubanga taliddayo kulaba nsi ye nate.
כי כה אמר יהוה אל שלם בן יאשיהו מלך יהודה המלך תחת יאשיהו אביו אשר יצא מן המקום הזה לא ישוב שם עוד׃ | 11 |
Kubanga kino Mukama ky’agamba ku Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya n’afuuka kabaka wa Yuda naye n’atwalibwa. “Talidda.
כי במקום אשר הגלו אתו שם ימות ואת הארץ הזאת לא יראה עוד׃ | 12 |
Alifiira eyo gye baamutwala nga musibe, taliraba nsi eno nate.”
הוי בנה ביתו בלא צדק ועליותיו בלא משפט ברעהו יעבד חנם ופעלו לא יתן לו׃ | 13 |
“Zimusanze oyo azimba olubiri ku butali butuukirivu, ebisenge bye ebya waggulu ku butali bwenkanya abantu b’ensi ye n’abakozeseza bwereere n’atabasasula mpeera yaabwe.
האמר אבנה לי בית מדות ועליות מרוחים וקרע לו חלוני וספון בארז ומשוח בששר׃ | 14 |
Agamba nti, ‘Nzija kwezimbira olubiri olunene n’ebisenge ebya waggulu ebigazi ennyo.’ Kale nnaakola amadirisa amanene nnaateekamu emivule era nnaasiigako langi emyufu.
התמלך כי אתה מתחרה בארז אביך הלוא אכל ושתה ועשה משפט וצדקה אז טוב לו׃ | 15 |
“Okweyongerayongera emivule emingi kikufuula kabaka? Kitaawo teyalina byakulya na byakunywa? Yakola ebituufu eby’obwenkanya. Noolwekyo byonna byamugendera bulungi.
דן דין עני ואביון אז טוב הלוא היא הדעת אתי נאם יהוה׃ | 16 |
Yalwanirira abaavu n’abali mu bwetaavu kale byonna ne bimugendera bulungi. Ekyo si kye kitegeeza okummanya?” bw’ayogera Mukama.
כי אין עיניך ולבך כי אם על בצעך ועל דם הנקי לשפוך ועל העשק ועל המרוצה לעשות׃ | 17 |
“Naye amaaso gammwe n’emitima gyammwe biri ku magoba ag’obukuusa, ne ku kuyiwa omusaayi ogutaliiko musango ne ku kunyigiriza ne ku kunyaga.”
לכן כה אמר יהוה אל יהויקים בן יאשיהו מלך יהודה לא יספדו לו הוי אחי והוי אחות לא יספדו לו הוי אדון והוי הדה׃ | 18 |
Noolwekyo kino Mukama ky’ayogera ku Yekoyakimu omwana wa Yosiya kabaka wa Yuda nti, “Tebalimukungubagira; ‘Kikafuuwe, mukama wange!’ Kikafuuwe, obugagga bwe!
קבורת חמור יקבר סחוב והשלך מהלאה לשערי ירושלם׃ | 19 |
Aliziikibwa nga bwe baziika endogoyi, akululwe asuulibwe ebweru w’enzigi za Yerusaalemi.”
עלי הלבנון וצעקי ובבשן תני קולך וצעקי מעברים כי נשברו כל מאהביך׃ | 20 |
“Genda mu Lebanooni okaabe, leka eddoboozi lyo liwulirwe mu Basani. Kaabira ku Abalimu, kubanga bonna ababadde ku ludda lwo bazikiridde.
דברתי אליך בשלותיך אמרת לא אשמע זה דרכך מנעוריך כי לא שמעת בקולי׃ | 21 |
Nayogera gy’oli ng’okyali mu biseera byo eby’obugagga naye n’ogamba nti, ‘Sijja kuwuliriza!’ Bw’oti bw’obadde okuva mu buto bwo, togonderanga ku ddoboozi lyange.
כל רעיך תרעה רוח ומאהביך בשבי ילכו כי אז תבשי ונכלמת מכל רעתך׃ | 22 |
Empewo erikunguzza abalunzi b’ebisibo byo bonna, n’abawagizi bo batwalibwe mu buwaŋŋanguse. Olwo okwatibwe ensonyi oggweemu amaanyi olw’ebibi byo byonna.
ישבתי בלבנון מקננתי בארזים מה נחנת בבא לך חבלים חיל כילדה׃ | 23 |
Mmwe abali mu Lebanooni, abesulira mu bizimbe eby’emivule, nga mulikaaba, ng’obulumi bubajjidde! Okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.
חי אני נאם יהוה כי אם יהיה כניהו בן יהויקים מלך יהודה חותם על יד ימיני כי משם אתקנך׃ | 24 |
“Ddala ddala nga bwe ndi omulamu, wadde ggwe Koniya omwana wa Yekoyakimu, singa wali mpeta ey’obuyinza ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikusiseeko,” bw’ayogera Mukama.
ונתתיך ביד מבקשי נפשך וביד אשר אתה יגור מפניהם וביד נבוכדראצר מלך בבל וביד הכשדים׃ | 25 |
“Ndikuwaayo eri abo abanoonya obulamu bwo, abo bootya, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era n’eri Abakaludaaya.
והטלתי אתך ואת אמך אשר ילדתך על הארץ אחרת אשר לא ילדתם שם ושם תמותו׃ | 26 |
Ndikusuula mu nsi endala gye mutaazaalibwa, ggwe ne maama wo eyakuzaala, era eyo mwembi gye mulifiira.
ועל הארץ אשר הם מנשאים את נפשם לשוב שם שמה לא ישובו׃ | 27 |
Temulidda mu nsi gye mwegomba okuddamu.”
העצב נבזה נפוץ האיש הזה כניהו אם כלי אין חפץ בו מדוע הוטלו הוא וזרעו והשלכו על הארץ אשר לא ידעו׃ | 28 |
Omusajja ono Koniya kintu ekinyoomebwa, ekimenyese, ekitaliiko ayagala? Lwaki ye n’abaana be balikanyugibwa ebweru, basuulibwe mu nsi gye batamanyi?
ארץ ארץ ארץ שמעי דבר יהוה׃ | 29 |
Ayi ggwe ensi, ensi, wulira ekigambo kya Katonda!
כה אמר יהוה כתבו את האיש הזה ערירי גבר לא יצלח בימיו כי לא יצלח מזרעו איש ישב על כסא דוד ומשל עוד ביהודה׃ | 30 |
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Omusajja ono mumubale ng’atazaalangako kubanga tewali ku baana be alikulaakulana, alituula ku ntebe ya Dawudi oba aliddayo okufuga mu Yuda.”