< ירמיה 10 >
שמעו את הדבר אשר דבר יהוה עליכם בית ישראל׃ | 1 |
Muwulire ekigambo Katonda ky’abagamba, mmwe ennyumba ya Isirayiri.
כה אמר יהוה אל דרך הגוים אל תלמדו ומאתות השמים אל תחתו כי יחתו הגוים מהמה׃ | 2 |
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Temugobereranga makubo g’amawanga oba okweraliikirira obubonero obw’oku ku ggulu, kubanga amawanga ge byeraliikirira.
כי חקות העמים הבל הוא כי עץ מיער כרתו מעשה ידי חרש במעצד׃ | 3 |
Kubanga empisa ez’amawanga tezigasa; batema omuti mu kibira, omubazzi n’aguyooyoota n’ebyuma bye.
בכסף ובזהב ייפהו במסמרות ובמקבות יחזקום ולוא יפיק׃ | 4 |
Bagunyiriza ne ffeeza ne zaabu, bagukomerera n’enninga n’ennyondo guleme okunyeenyanyeenya.
כתמר מקשה המה ולא ידברו נשוא ינשוא כי לא יצעדו אל תיראו מהם כי לא ירעו וגם היטיב אין אותם׃ | 5 |
Bakatonda bafaanana nga ssemufu mu nnimiro y’ebibala, era tebasobola kwogera kubanga basitulwa busitulwa tebasobola kutambula. Tobatya, tebayinza kukukola kabi konna, wadde okukola akalungi n’akamu.”
מאין כמוך יהוה גדול אתה וגדול שמך בגבורה׃ | 6 |
Tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama Katonda. Oli mukulu, era erinnya lyo ly’amaanyi nnyo.
מי לא יראך מלך הגוים כי לך יאתה כי בכל חכמי הגוים ובכל מלכותם מאין כמוך׃ | 7 |
Ani ataakutye, Ayi Kabaka w’amawanga? Kubanga kino kye kikugwanira. Kubanga mu bagezigezi bonna bannaggwanga ne mu bwakabaka bwabwe bwonna tewali ali nga ggwe.
ובאחת יבערו ויכסלו מוסר הבלים עץ הוא׃ | 8 |
Bonna tebalina magezi basirusiru, abo abayigira ku bakatonda ababajje mu miti.
כסף מרקע מתרשיש יובא וזהב מאופז מעשה חרש וידי צורף תכלת וארגמן לבושם מעשה חכמים כלם׃ | 9 |
Ffeeza eyaweesebwa ey’empewere eggyibwa e Talusiisi, ne zaabu eva e Yufazi, ffundi n’omuweesi wa zaabu bye bakoze byambazibwa engoye eza kaniki ne z’effulungu. Gino gyonna mirimu gy’abasajja abakalabakalaba.
ויהוה אלהים אמת הוא אלהים חיים ומלך עולם מקצפו תרעש הארץ ולא יכלו גוים זעמו׃ | 10 |
Naye Mukama ye Katonda ddala, ye Katonda omulamu, era Kabaka ow’emirembe gyonna. Bw’asunguwala, ensi ekankana, amawanga tegasobola kugumira busungu bwe.
כדנה תאמרון להום אלהיא די שמיא וארקא לא עבדו יאבדו מארעא ומן תחות שמיא אלה׃ | 11 |
“Bw’oti bw’oba obagamba nti, ‘Bakatonda abataakola ggulu na nsi ba kuzikirira bave ku nsi ne wansi w’eggulu.’”
עשה ארץ בכחו מכין תבל בחכמתו ובתבונתו נטה שמים׃ | 12 |
Mukama yakola ensi n’amaanyi ge, n’atonda ebitonde byonna n’amagezi ge, era okutegeera kwe, kwe kwayanjuluza eggulu.
לקול תתו המון מים בשמים ויעלה נשאים מקצה ארץ ברקים למטר עשה ויוצא רוח מאצרתיו׃ | 13 |
Bw’afulumya eddoboozi lye, amazzi agali mu bire gawuluguma, asobozesa ebire okusituka nga biva ku nkomerero y’ensi. Amyansisa eggulu mu nkuba, era n’aggya empewo mu mawanika ge.
נבער כל אדם מדעת הביש כל צורף מפסל כי שקר נסכו ולא רוח בם׃ | 14 |
Buli muntu talina magezi era taliimu kutegeera; buli muweesi wa zaabu aswala olw’ekifaananyi ky’akoze. Kubanga ebifaananyi bye ebisaanuuse bulimba, era tebiriimu bulamu.
הבל המה מעשה תעתעים בעת פקדתם יאבדו׃ | 15 |
Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.
לא כאלה חלק יעקב כי יוצר הכל הוא וישראל שבט נחלתו יהוה צבאות שמו׃ | 16 |
Oyo Katonda Omugabo gwa Yakobo tali ng’ebyo, ye Mutonzi w’ebintu byonna, era owa Isirayiri, eggwanga ery’omugabo gwe, Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
אספי מארץ כנעתך ישבתי במצור׃ | 17 |
Mukuŋŋaanye ebyammwe muve mu nsi, mmwe abazingiziddwa.
כי כה אמר יהוה הנני קולע את יושבי הארץ בפעם הזאת והצרותי להם למען ימצאו׃ | 18 |
Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba nfuumuula abantu mbaggye mu nsi eno, era ndibaleetako ennaku balyoke bawambibwe.”
אוי לי על שברי נחלה מכתי ואני אמרתי אך זה חלי ואשאנו׃ | 19 |
Zinsanze nze olw’ekiwundu kyange ekinnuma ennyo. Naye ate ne ŋŋamba nti, “Eno ndwadde yange, nteekwa okugigumira.”
אהלי שדד וכל מיתרי נתקו בני יצאני ואינם אין נטה עוד אהלי ומקים יריעותי׃ | 20 |
Eweema yange eyonooneddwa, era emiguwa gyonna gikutuse, abaana bange bandese, tewakyali. Tewali n’omu asigaddewo kaakano kuzimba weema yange wadde okuzimba ekigango kyange.
כי נבערו הרעים ואת יהוה לא דרשו על כן לא השכילו וכל מרעיתם נפוצה׃ | 21 |
Kubanga abasumba bafuuse ng’ensolo tebakyebuuza ku Mukama. Noolwekyo tebakulaakulana era endiga zaabwe zonna zisaasaanye.
קול שמועה הנה באה ורעש גדול מארץ צפון לשום את ערי יהודה שממה מעון תנים׃ | 22 |
Wuliriza! Amawulire gatuuse, waliwo akeegugungo ak’amaanyi okuva mu nsi ey’omu bukiikakkono, kajja kufuula ebibuga bya Yuda amatongo, ebisulo by’ebibe.
ידעתי יהוה כי לא לאדם דרכו לא לאיש הלך והכין את צעדו׃ | 23 |
Mmanyi Ayi Mukama Katonda ng’obulamu bw’omuntu si bubwe, omuntu si y’aluŋŋamya amakubo ge.
יסרני יהוה אך במשפט אל באפך פן תמעטני׃ | 24 |
Nnuŋŋamya, Mukama Katonda naye mu kigera ekisaanidde, si mu busungu bwo, si kulwa ng’onfuula ekitaliimu.
שפך חמתך על הגוים אשר לא ידעוך ועל משפחות אשר בשמך לא קראו כי אכלו את יעקב ואכלהו ויכלהו ואת נוהו השמו׃ | 25 |
Yiwa obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi, agatakutwala ng’ekikulu, ku bantu abatakoowoola linnya lyo. Kubanga bamazeewo Yakobo, bamuliiridde ddala era ne boonoona ensi ye.