< ישעה 41 >
החרישו אלי איים ולאמים יחליפו כח יגשו אז ידברו יחדו למשפט נקרבה׃ | 1 |
“Musirike mumpulirize mmwe ebizinga, amawanga gaddemu amaanyi. Mwetegeke okuleeta emisango gyammwe mu mbuga mujja kufuna obwogerero. Tukuŋŋaane tulabeko omutuufu.
מי העיר ממזרח צדק יקראהו לרגלו יתן לפניו גוים ומלכים ירד יתן כעפר חרבו כקש נדף קשתו׃ | 2 |
“Ani eyayita omuweereza we okuva mu buvanjuba, eyamuyita akole emirimu gye amuweereze mu butuukirivu? Ani eyamuwa obuwanguzi ku bakabaka ne ku mawanga, n’abafuula ng’enfuufu n’ekitala kye, obusaale bwe ne bubafuula ebisasiro ebitwalibwa empewo?
ירדפם יעבור שלום ארח ברגליו לא יבוא׃ | 3 |
N’agenda ng’abagoba embiro n’ayita bulungi mu makubo ebigere bye gye by’ali bitayitanga.
מי פעל ועשה קרא הדרות מראש אני יהוה ראשון ואת אחרנים אני הוא׃ | 4 |
Ani eyakola kino ng’ayita emirembe gy’abantu okuva ku lubereberye? Nze Mukama ow’olubereberye era ow’enkomerero, nze wuuyo.”
ראו איים וייראו קצות הארץ יחרדו קרבו ויאתיון׃ | 5 |
Ebizinga by’alaba ne bitya; n’ensi yonna n’ekankana: baasembera kumpi ne batuuka.
איש את רעהו יעזרו ולאחיו יאמר חזק׃ | 6 |
Buli muntu yayamba muliraanwa we ng’agamba nti; “Guma omwoyo!”
ויחזק חרש את צרף מחליק פטיש את הולם פעם אמר לדבק טוב הוא ויחזקהו במסמרים לא ימוט׃ | 7 |
Awo omubazzi n’agumya omuweesi wa zaabu omwoyo, n’oyo ayooyoota n’akayondo n’agumya oyo akuba ku luyijja ng’ayogera ku kyuma ekigatta nti, “Nga kirungi,” era ne bakikomerera n’emisumaali kireme okusagaasagana.
ואתה ישראל עבדי יעקב אשר בחרתיך זרע אברהם אהבי׃ | 8 |
“Naye ggwe Isirayiri omuweereza wange, Yakobo gwe nalonda, ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange,
אשר החזקתיך מקצות הארץ ומאציליה קראתיך ואמר לך עבדי אתה בחרתיך ולא מאסתיך׃ | 9 |
ggwe, gwe naggya ku nkomerero y’ensi ne nkuyita okuva mu bitundu by’ensi ebikomererayo ddala, ne nkugamba nti, ‘Oli muddu wange,’ nze nakulonda so sikusuulanga:
אל תירא כי עמך אני אל תשתע כי אני אלהיך אמצתיך אף עזרתיך אף תמכתיך בימין צדקי׃ | 10 |
Totya kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo. Nnaakuwanga amaanyi. Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.”
הן יבשו ויכלמו כל הנחרים בך יהיו כאין ויאבדו אנשי ריבך׃ | 11 |
“Laba, abo bonna abakukambuwalidde balikwatibwa ensonyi ne balaba ennaku. Abo abakuwakanya balifuuka ekitagasa ne baggwaawo.
תבקשם ולא תמצאם אנשי מצתך יהיו כאין וכאפס אנשי מלחמתך׃ | 12 |
Olibanoonya abo abaakukijjanyanga naye n’otobalaba. Abo abaakulwanyisanga baliggwaamu ensa.
כי אני יהוה אלהיך מחזיק ימינך האמר לך אל תירא אני עזרתיך׃ | 13 |
Kubanga nze Mukama Katonda wo akukwata ku mukono ogwa ddyo, nze nkugamba nti, Totya nze nzija kukuyamba.
אל תיראי תולעת יעקב מתי ישראל אני עזרתיך נאם יהוה וגאלך קדוש ישראל׃ | 14 |
Wadde ng’oli lusiriŋŋanyi totya, ggwe Isirayiri, kubanga nnaakuyamba,” bw’ayogera Mukama Omununuzi wo, Omutukuvu wa Isirayiri.
הנה שמתיך למורג חרוץ חדש בעל פיפיות תדוש הרים ותדק וגבעות כמץ תשים׃ | 15 |
“Laba ndikufuula ng’ekyuma ekiggya ekisala ennyo, ekyogi eky’amannyo amangi. Muliwuula ensozi ne muzimementulira ddala, obusozi ne mubufuula ebisusunku.
תזרם ורוח תשאם וסערה תפיץ אותם ואתה תגיל ביהוה בקדוש ישראל תתהלל׃ | 16 |
Oliziwewa empewo n’ezifuumula, embuyaga ezifuumuka zizisaasaanye. Era naawe olisanyukira mu Mukama, era mu Mutukuvu wa Isirayiri mw’olyenyumiririza.”
העניים והאביונים מבקשים מים ואין לשונם בצמא נשתה אני יהוה אענם אלהי ישראל לא אעזבם׃ | 17 |
“Abaavu n’abali mu bwetaavu bwe baneetaganga amazzi ne baganoonya naye ne gababula, ate nga ennimi zaabwe zikaze, nze Mukama ndibawulira, nze Katonda wa Isirayiri siribaleka.
אפתח על שפיים נהרות ובתוך בקעות מעינות אשים מדבר לאגם מים וארץ ציה למוצאי מים׃ | 18 |
Ndikola emigga ku busozi obutaliiko kantu, era n’ensulo wakati mu biwonvu. Olukoola ndirufuula ennyanja, n’eddungu lirivaamu enzizi z’amazzi.
אתן במדבר ארז שטה והדס ועץ שמן אשים בערבה ברוש תדהר ותאשור יחדו׃ | 19 |
Ndisimba mu lukoola omuvule ne akasiya, omumwanyi n’omuzeyituuni, ate nsimbe mu ddungu enfugo n’omuyovu awamu ne namukago.
למען יראו וידעו וישימו וישכילו יחדו כי יד יהוה עשתה זאת וקדוש ישראל בראה׃ | 20 |
Abantu balyoke balabe bamanye, balowooze era batuuke bonna okutegeera nti omukono gwa Mukama gwe gukoze kino, nti Omutukuvu wa Isirayiri yakikoze.”
קרבו ריבכם יאמר יהוה הגישו עצמותיכם יאמר מלך יעקב׃ | 21 |
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda gye muli mmwe nti, “Mmwe bakatonda baamawanga, mujje nammwe mwogere. Muleete ensonga zammwe tuziwulire,” bw’ayogera Kabaka wa Yakobo.
יגישו ויגידו לנו את אשר תקרינה הראשנות מה הנה הגידו ונשימה לבנו ונדעה אחריתן או הבאות השמיענו׃ | 22 |
“Baleete bakatonda bwabwe batubuulire ebigenda okubaawo. Batubuulire n’ebyaliwo emabega, tusobole okubimanya, n’okubirowoozaako n’okumanya ebinaavaamu oba okutubuulira ebigenda okujja.
הגידו האתיות לאחור ונדעה כי אלהים אתם אף תיטיבו ותרעו ונשתעה ונרא יחדו׃ | 23 |
Mutubuulire ebigenda okubaawo tulyoke tumanye nga muli bakatonda. Mubeeko kye mukola ekirungi oba ekibi tulyoke tutye era tukeŋŋentererwe mu mutima.
הן אתם מאין ופעלכם מאפע תועבה יבחר בכם׃ | 24 |
Laba, temuliiko bwe muli ne bye mukola tebigasa. Abo ababasinza bennyamiza.
העירותי מצפון ויאת ממזרח שמש יקרא בשמי ויבא סגנים כמו חמר וכמו יוצר ירמס טיט׃ | 25 |
Nonze omuntu alifuluma mu bukiikakkono akoowoola erinnya lyange, abeera mu buvanjuba. Alirinnyirira abafuzi ng’asamba ettaka, abe ng’omubumbi asamba ebbumba.
מי הגיד מראש ונדעה ומלפנים ונאמר צדיק אף אין מגיד אף אין משמיע אף אין שמע אמריכם׃ | 26 |
Ani eyakyogera nti kiribeerawo tulyoke tumanye, eyakyogera edda tulyoke tugambe nti, ‘Wali mutuufu?’ Tewali n’omu yakyogerako, tewali n’omu yakimanya era tewali n’omu yawulira kigambo na kimu okuva gye muli.
ראשון לציון הנה הנם ולירושלם מבשר אתן׃ | 27 |
Nasooka okubuulira Sayuuni era ne mpeereza omubaka e Yerusaalemi ababuulire amawulire amalungi.
וארא ואין איש ומאלה ואין יועץ ואשאלם וישיבו דבר׃ | 28 |
Naye tewali n’omu mu bakatonda bammwe eyabategeeza kino. Tewali n’omu awa bigambo biruŋŋamya, tewali n’omu addamu bwe mbuuza.
הן כלם און אפס מעשיהם רוח ותהו נסכיהם׃ | 29 |
Laba, bonna temuli nsa! Bye bakola byonna tebigasa. Ebifaananyi byabwe byonna ebibajje, mpewo na butaliimu.”