< ישעה 34 >
קרבו גוים לשמע ולאמים הקשיבו תשמע הארץ ומלאה תבל וכל צאצאיה׃ | 1 |
Musembere mmwe amawanga muwulirize. Musseeyo omwoyo mmwe abantu. Ensi ewulirize, ne byonna ebigirimu, ensi ne byonna ebigivaamu.
כי קצף ליהוה על כל הגוים וחמה על כל צבאם החרימם נתנם לטבח׃ | 2 |
Mukama anyiigidde amawanga gonna, ekiruyi kye kiri ku magye gaabwe gonna. Alibazikiririza ddala, alibawaayo okuttibwa.
וחלליהם ישלכו ופגריהם יעלה באשם ונמסו הרים מדמם׃ | 3 |
Abantu baabwe abattibwa balisuulibwa ebweru, n’emirambo gyabwe giriwunya, n’ensozi zirinnyikira omusaayi gwabwe.
ונמקו כל צבא השמים ונגלו כספר השמים וכל צבאם יבול כנבל עלה מגפן וכנבלת מתאנה׃ | 4 |
Emmunyeenye zonna ez’omu ggulu zirisaanuuka, n’eggulu liryezingako ng’omuzingo; n’eggye ery’omu ggulu lirigwa, ng’ebikoola ebiwotose ebiva ku muzabbibu, ng’ebirimba ebyayongobera ebiva ku mutiini.
כי רותה בשמים חרבי הנה על אדום תרד ועל עם חרמי למשפט׃ | 5 |
Weewaawo ekitala kyange kinywedde ne kijjuzibwa mu ggulu, era laba, kikkira ku Edomu okusala omusango, abantu be mmaliddewo ddala.
חרב ליהוה מלאה דם הדשנה מחלב מדם כרים ועתודים מחלב כליות אילים כי זבח ליהוה בבצרה וטבח גדול בארץ אדום׃ | 6 |
Ekitala kya Mukama kisaabye omusaayi, kiriko amasavu, omusaayi gw’abaana b’endiga n’embuzi, amasavu agava mu nsingo za sseddume. Mukama alina ekiweebwayo mu Bozula, era waliyo n’okuttibwa okw’amaanyi mu Edomu.
וירדו ראמים עמם ופרים עם אבירים ורותה ארצם מדם ועפרם מחלב ידשן׃ | 7 |
Embogo zirifiira wamu nazo, n’obute obulume, ne ziseddume zirifiira wamu nazo. Ensi yaabwe erijjula omusaayi, n’enfuufu erinnyikira amasavu.
כי יום נקם ליהוה שנת שלומים לריב ציון׃ | 8 |
Mukama alina olunaku olw’okuwalanirako eggwanga, omwaka ogw’okwesasuza, olw’ensonga eya Sayuuni.
ונהפכו נחליה לזפת ועפרה לגפרית והיתה ארצה לזפת בערה׃ | 9 |
Emigga gya Edomu girikalira ne gifuuka bulimbo, n’enfuufu ye erifuuka ng’obuwunga bwa salufa ayokya. Ensi ye erifuuka ng’obulimbo obuggya omuliro.
לילה ויומם לא תכבה לעולם יעלה עשנה מדור לדור תחרב לנצח נצחים אין עבר בה׃ | 10 |
Talizikizibwa emisana n’ekiro, n’omukka gwe gulinyooka ennaku zonna. Edomu alisigala kifulukwa emirembe n’emirembe, era tewaliba n’omu ayita mu nsi eyo.
וירשוה קאת וקפוד וינשוף וערב ישכנו בה ונטה עליה קו תהו ואבני בהו׃ | 11 |
Ekiwuugulu eky’omu ddungu n’ekiwuugulu ekireekaana, birikibeeramu. Ekiwuugulu ekinene ne namuŋŋoona birizimbamu ebisu byabyo. Katonda aligololera ekipimo eky’okwewunika, n’ekipimo ekinaaleka Edomu nga njereere.
חריה ואין שם מלוכה יקראו וכל שריה יהיו אפס׃ | 12 |
Abakungu be tebalibaako kye bayita bwakabaka, n’abalangira be bonna baliggwaawo.
ועלתה ארמנתיה סירים קמוש וחוח במבצריה והיתה נוה תנים חציר לבנות יענה׃ | 13 |
Amaggwa galimera ku minaala egy’ekibuga kye, n’emyennyango n’amatovu ne bimera mu bigo bye ebyanywezebwa. Aliyiggibwa ebibe, era ebiwuugulu birimufuula ekifo eky’okuwummulirangamu.
ופגשו ציים את איים ושעיר על רעהו יקרא אך שם הרגיעה לילית ומצאה לה מנוח׃ | 14 |
Ensolo ez’omu ddungu gye zirisisinkana empisi, n’embuzi enkambwe ez’omu nsiko gye ziriramusiganyiza. Era eyo ebisolo ebitambula ekiro nabyo biriwummula nga byefunidde ekifo eky’okuwummulirangamu.
שמה קננה קפוז ותמלט ובקעה ודגרה בצלה אך שם נקבצו דיות אשה רעותה׃ | 15 |
Ekiwuugulu kiribiikira eyo amagi, ne kigaalula, ne kirabirira abaana baakyo wansi w’ekisiikirize kyakyo. Era eyo ne kamunye gy’alikuŋŋaanira, empanga n’enseera.
דרשו מעל ספר יהוה וקראו אחת מהנה לא נעדרה אשה רעותה לא פקדו כי פי הוא צוה ורוחו הוא קבצן׃ | 16 |
Tunula mu muzingo gwa Mukama osome. Tewali na kimu ku ebyo ekiribulayo, era ekirume kiriba n’ekikazi, n’ekikazi ne kiba n’ekirume. Akamwa ka Mukama ke kalagidde, era Omwoyo we yalibikuŋŋaanya.
והוא הפיל להן גורל וידו חלקתה להם בקו עד עולם יירשוה לדור ודור ישכנו בה׃ | 17 |
Agabira buli kimu omugabo gwakyo, era omukono gwe gubigabanyiza mu kigera. Birikibeeramu ennaku zonna, bibeere omwo emirembe n’emirembe.