< ישעה 29 >
הוי אריאל אריאל קרית חנה דוד ספו שנה על שנה חגים ינקפו׃ | 1 |
Zikusanze ggwe Alyeri, Alyeri ekibuga Dawudi kye yabeeramu, yongera omwaka ku mwaka, n’entuuko zo ez’embaga zigende mu maaso.
והציקותי לאריאל והיתה תאניה ואניה והיתה לי כאריאל׃ | 2 |
Wabula ndizingiza Alyeri, alikuba ebiwoobe era alikungubaga, era aliba gye ndi ng’ekyoto kya Alyeri.
וחניתי כדור עליך וצרתי עליך מצב והקימתי עליך מצרת׃ | 3 |
Ndikuba olusiisira okukwetooloola wonna, era ndikwetoolooza eminaala, ne nkusaako ebifunvu.
ושפלת מארץ תדברי ומעפר תשח אמרתך והיה כאוב מארץ קולך ומעפר אמרתך תצפצף׃ | 4 |
Olikkakkanyizibwa era olyogera ng’oli mu ttaka, n’ebigambo byo biriwulikika nga biri wansi nnyo ng’oli mu nfuufu. Eddoboozi lyo liriba ng’ery’oyo aliko akazimu nga liva mu ttaka, n’ebigambo byo biriba bya kyama nga biva mu nfuufu.
והיה כאבק דק המון זריך וכמץ עבר המון עריצים והיה לפתע פתאם׃ | 5 |
Naye abalabe bo abangi baliba ng’enfuufu eweweddwa, n’ebibinja by’abakozi b’ebibi abasingayo obubi bibe ng’ebisasiro ebifuumuuka.
מעם יהוה צבאות תפקד ברעם וברעש וקול גדול סופה וסערה ולהב אש אוכלה׃ | 6 |
Amangwago mu kaseera katono Mukama Katonda ow’Eggye alikukyalira mu kubwatuuka ne mu musisi, ne mu ddoboozi ery’omwanguka, ne mu kibuyaga ne mu nnimi z’omuliro omukambwe oguzikiriza.
והיה כחלום חזון לילה המון כל הגוים הצבאים על אריאל וכל צביה ומצדתה והמציקים לה׃ | 7 |
Awo ebibinja by’amawanga gonna ebirwana ne Alyeri birimulumba, birirumba n’ekigo kye ne bimutaayiza; kiriba ng’ekirooto, ng’okwolesebwa mu kiro
והיה כאשר יחלם הרעב והנה אוכל והקיץ וריקה נפשו וכאשר יחלם הצמא והנה שתה והקיץ והנה עיף ונפשו שוקקה כן יהיה המון כל הגוים הצבאים על הר ציון׃ | 8 |
ng’omuntu alumwa enjala bw’aloota ng’alya naye bw’agolokoka n’asigala ng’akyalumwa enjala; oba ng’omuntu alumwa ennyonta bw’aloota ng’anywa naye n’agolokoka nga munafu ng’akyalumwa ennyonta. Ekyo kye kirituuka ku bibinja by’amawanga gonna agalwana n’Olusozi Sayuuni.
התמהמהו ותמהו השתעשעו ושעו שכרו ולא יין נעו ולא שכר׃ | 9 |
Muwuniikirire era mwewuunye Muzibirire era muzibe amaaso; Batamiire, naye si na nvinnyo, batagala, naye si lwa mwenge.
כי נסך עליכם יהוה רוח תרדמה ויעצם את עיניכם את הנביאים ואת ראשיכם החזים כסה׃ | 10 |
Mukama akuwadde otulo tungi, azibye amaaso gammwe bannabbi, era abisse emitwe gyammwe abalabi.
ותהי לכם חזות הכל כדברי הספר החתום אשר יתנו אתו אל יודע הספר לאמר קרא נא זה ואמר לא אוכל כי חתום הוא׃ | 11 |
Okwolesebwa kuno kwonna tekulina makulu gy’oli okuggyako okuba ebigambo ebissibwako akabonero mu muzingo. Omuzingo bw’oguwa omuntu, asobola okusoma n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Sisobola, kuliko akabonero.”
ונתן הספר על אשר לא ידע ספר לאמר קרא נא זה ואמר לא ידעתי ספר׃ | 12 |
Oba omuzingo bw’oguwa omuntu atasobola kusoma, n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Simanyi kusoma.”
ויאמר אדני יען כי נגש העם הזה בפיו ובשפתיו כבדוני ולבו רחק ממני ותהי יראתם אתי מצות אנשים מלמדה׃ | 13 |
Mukama agamba nti, “Abantu bano bansemberera n’akamwa kaabwe, ne banzisaamu ekitiibwa n’emimwa gyabwe, naye ng’emitima gyabwe gindi wala. Okunsinza kwe bansinza, biragiro abantu bye baayigiriza.
לכן הנני יוסף להפליא את העם הזה הפלא ופלא ואבדה חכמת חכמיו ובינת נבניו תסתתר׃ | 14 |
Noolwekyo, laba ŋŋenda kwewuunyisa abantu bano. Amagezi g’abagezi galizikirira, n’okutegeera kw’abategeevu kuliggwaawo.”
הוי המעמיקים מיהוה לסתר עצה והיה במחשך מעשיהם ויאמרו מי ראנו ומי יודענו׃ | 15 |
Zibasanze abo abakola kyonna kye basobola okukweka Mukama enteekateeka zaabwe, abo abakola emirimu gyabwe mu kizikiza nga bagamba nti, “Ani atulaba? Ani alimanya?”
הפככם אם כחמר היצר יחשב כי יאמר מעשה לעשהו לא עשני ויצר אמר ליוצרו לא הבין׃ | 16 |
Mufuula ebintu ne birabika ng’omubumbi alowoozebwa okwenkanankana n’ebbumba. Ekyakolebwa kiyinza okwogera ku eyakikola nti, “Teyankola”? Ensuwa eyinza okugamba omubumbi nti, “Talina ky’amanyi”?
הלוא עוד מעט מזער ושב לבנון לכרמל והכרמל ליער יחשב׃ | 17 |
Mu kiseera kitono, Lebanooni tekirifuulibwa nnimiro ngimu, n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira?
ושמעו ביום ההוא החרשים דברי ספר ומאפל ומחשך עיני עורים תראינה׃ | 18 |
Mu biro ebyo abaggavu b’amatu baliwulira ebigambo by’omuzingo, n’amaaso g’abazibe galizibuka okuva mu kiseera ekizibu ne mu kizikiza.
ויספו ענוים ביהוה שמחה ואביוני אדם בקדוש ישראל יגילו׃ | 19 |
Abawombeefu balisanyukira mu Mukama nate, n’abeetaaga balisanyukira mu Mutukuvu wa Isirayiri.
כי אפס עריץ וכלה לץ ונכרתו כל שקדי און׃ | 20 |
Weewaawo asinga obubi aliggwaawo, n’omunyoomi alibula, n’abo bonna abeesunga okukola obutali butuukirivu,
מחטיאי אדם בדבר ולמוכיח בשער יקשון ויטו בתהו צדיק׃ | 21 |
abo abakozesa ebigambo okufuula omuntu omusobya, abatega eyeerwanako mu mbuga z’amateeka, abawa obujulizi obw’obulimba, ne baleetera abataliiko musango obutawulirwa mu mbuga z’amateeka, balisalibwako.
לכן כה אמר יהוה אל בית יעקב אשר פדה את אברהם לא עתה יבוש יעקב ולא עתה פניו יחורו׃ | 22 |
Noolwekyo Mukama eyanunula Ibulayimu bw’ati bw’ayogera eri ennyumba ya Yakobo nti, Yakobo taliddayo kuswazibwa, n’obwenyi bwabwe tebulisiiwuuka.
כי בראתו ילדיו מעשה ידי בקרבו יקדישו שמי והקדישו את קדוש יעקב ואת אלהי ישראל יעריצו׃ | 23 |
Bwe baliraba omulimu gw’emikono gyange mu baana baabwe, balikuuma erinnya lyange nga ttukuvu. Balikakasa obutuukirivu bw’Omutukuvu wa Yakobo era baliyimirira ne beewuunya Katonda wa Isirayiri.
וידעו תעי רוח בינה ורוגנים ילמדו לקח׃ | 24 |
Abo abaabula mu mwoyo balifuna okutegeera, n’abo abeemulugunya balikkiriza okuyigirizibwa.