< ישעה 24 >
הנה יהוה בוקק הארץ ובולקה ועוה פניה והפיץ ישביה׃ | 1 |
Laba Mukama alifuula ensi amatongo, agimalirewo ddala, era azikirize n’obwenyi bwayo era asaasaanye n’abagibeeramu.
והיה כעם ככהן כעבד כאדניו כשפחה כגברתה כקונה כמוכר כמלוה כלוה כנשה כאשר נשא בו׃ | 2 |
Bwe kityo bwe kiriba, ekiriba ku kabona kye kiriba ne ku bantu, ekiriba ku mwami kye kiriba ne ku muweereza omusajja, ekiriba ku mugole we kye kiriba ne ku muweereza we omukazi, ekiriba ku atunda kye kiriba ne ku muguzi, ekiriba ku awola kye kiriba ne ku yeewola, ekiriba ku abanja kye kiriba ne ku abanjibwa.
הבוק תבוק הארץ והבוז תבוז כי יהוה דבר את הדבר הזה׃ | 3 |
Okumalibwamu ensa, ensi erimalibwamu ddala ensa, n’okunyagibwa, erinyagibwa. Mukama Katonda y’akyogedde.
אבלה נבלה הארץ אמללה נבלה תבל אמללו מרום עם הארץ׃ | 4 |
Ensi ekala n’eggwaamu obulamu, ensi ekala n’ewuubaala, abantu ab’ekitiibwa baggwaamu amaanyi.
והארץ חנפה תחת ישביה כי עברו תורת חלפו חק הפרו ברית עולם׃ | 5 |
Ensi eyonooneddwa abantu baayo, bajeemedde amateeka, bamenye ebiragiro, ne bamenyawo n’endagaano ey’emirembe n’emirembe.
על כן אלה אכלה ארץ ויאשמו ישבי בה על כן חרו ישבי ארץ ונשאר אנוש מזער׃ | 6 |
Noolwekyo ekikolimo kimalawo ensi; n’abantu baayo bateekwa okusasula olw’omusango ogwabasinga. Abatuuze b’ensi bayidde, Era abatono be basigaddewo.
אבל תירוש אמללה גפן נאנחו כל שמחי לב׃ | 7 |
Wayini omusu aggwaamu, n’omuzabbibu gukala, ab’amasanyu bonna bakaaba olw’obulumi.
שבת משוש תפים חדל שאון עליזים שבת משוש כנור׃ | 8 |
Okujaguza kw’ebitaasa kusirise, n’oluyoogaano lw’abo ababeera mu masanyu lusirise, entongooli esanyusa esirise.
בשיר לא ישתו יין ימר שכר לשתיו׃ | 9 |
Tebakyanywa nvinnyo nga bwe bayimba, n’omwenge gukaayira abagunywa.
נשברה קרית תהו סגר כל בית מבוא׃ | 10 |
Ekibuga ekyazikirizibwa kisigadde nga matongo, na buli mulyango oguyingira mu nnyumba guzibiddwa.
צוחה על היין בחוצות ערבה כל שמחה גלה משוש הארץ׃ | 11 |
Bakaabira envinnyo mu nguudo, n’essanyu lyonna liweddewo, n’okujaguza kwonna tekukyaliwo mu nsi.
נשאר בעיר שמה ושאיה יכת שער׃ | 12 |
Ekibuga kizikiridde wankaaki waakyo amenyeddwamenyeddwa.
כי כה יהיה בקרב הארץ בתוך העמים כנקף זית כעוללת אם כלה בציר׃ | 13 |
Bwe kityo bwe kiriba ku nsi ne mu mawanga ng’omuzeyituuni bwe gunyeenyezebwa oba ng’ebinywa ebisigaddewo bwe bibeera oluvannyuma lw’okukungula kw’ezabbibu.
המה ישאו קולם ירנו בגאון יהוה צהלו מים׃ | 14 |
Bayimusa amaloboozi gaabwe, baleekaana olw’essanyu, batendereza ekitiibwa kya Mukama Katonda okuva mu bugwanjuba.
על כן בארים כבדו יהוה באיי הים שם יהוה אלהי ישראל׃ | 15 |
Noolwekyo abo abali mu buvanjuba mugulumize Mukama, mutendereze erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri, mu bizinga eby’ennyanja.
מכנף הארץ זמרת שמענו צבי לצדיק ואמר רזי לי רזי לי אוי לי בגדים בגדו ובגד בוגדים בגדו׃ | 16 |
Tuwulira okuyimba okuva ku nkomerero y’ensi, “Ekitiibwa kibeere eri Omutuukirivu.” Naye ne njogera nti, “Nsanawo, nsanawo. Zinsaze. Ab’olukwe balya mu bannaabwe olukwe, Ab’enkwe bakozesa enkwe okulya mu bannaabwe olukwe.”
פחד ופחת ופח עליך יושב הארץ׃ | 17 |
Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde, mmwe abantu b’ensi.
והיה הנס מקול הפחד יפל אל הפחת והעולה מתוך הפחת ילכד בפח כי ארבות ממרום נפתחו וירעשו מוסדי ארץ׃ | 18 |
Buli alidduka eddoboozi ery’entiisa, aligwa mu kinnya, na buli alirinnya n’ava mu kinnya alikwatibwa mu mutego. Enzigi z’eggulu ziguddwawo, N’emisingi gy’ensi gikankana.
רעה התרעעה הארץ פור התפוררה ארץ מוט התמוטטה ארץ׃ | 19 |
Ensi emenyeddwamenyeddwa, ensi eyawuliddwamu, ensi ekankanira ddala.
נוע תנוע ארץ כשכור והתנודדה כמלונה וכבד עליה פשעה ונפלה ולא תסיף קום׃ | 20 |
Ensi etagala ng’omutamiivu, eyuugayuuga ng’akasiisira bwe kayuugayuuga mu kibuyaga, omusango gwe gumulumiriza nnyo olw’obujeemu bwe, era ensi egwa n’etaddamu kuyimuka.
והיה ביום ההוא יפקד יהוה על צבא המרום במרום ועל מלכי האדמה על האדמה׃ | 21 |
Ku lunaku olwo Mukama Katonda alibonereza ab’amaanyi abali waggulu mu bwengula, ne bakabaka abali wansi ku nsi.
ואספו אספה אסיר על בור וסגרו על מסגר ומרב ימים יפקדו׃ | 22 |
Balikuŋŋaanyirizibwa wamu ng’abasibe bwe bakuŋŋanyirizibwa mu kkomera, era baliweebwa ekibonerezo eky’okuggalirwa mu kkomera ennaku ennyingi.
וחפרה הלבנה ובושה החמה כי מלך יהוה צבאות בהר ציון ובירושלם ונגד זקניו כבוד׃ | 23 |
Omwezi gulitabulwatabulwa, n’enjuba eriswazibwa; Mukama Katonda ow’Eggye alifugira mu kitiibwa ku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi, ne mu maaso g’abakadde.