< ישעה 23 >
משא צר הילילו אניות תרשיש כי שדד מבית מבוא מארץ כתים נגלה למו׃ | 1 |
Obunnabbi obukwata ku Tuulo: Mukube ebiwoobe, mmwe ebyombo by’e Talusiisi, kubanga Tuulo kizikirizibbwa ne mutasigala nnyumba newaakubadde ebyombo we biyinza okugobera. Ekigambo kyababikulirwa okuva mu nsi ya Kittimu.
דמו ישבי אי סחר צידון עבר ים מלאוך׃ | 2 |
Musirike mmwe ab’oku kizinga nammwe abasuubuzi b’e Sidoni abagaggawalidde ku nnyanja.
ובמים רבים זרע שחר קציר יאור תבואתה ותהי סחר גוים׃ | 3 |
Ku nnyanja ennene kwajjirako ensigo za Sikoli, n’ebyamakungula bya Kiyira bye byali amagoba ga Tuulo, era yafuuka akatale k’amawanga.
בושי צידון כי אמר ים מעוז הים לאמר לא חלתי ולא ילדתי ולא גדלתי בחורים רוממתי בתולות׃ | 4 |
Okwatibwe ensonyi ggwe Sidoni naawe ggwe ekigo ky’ennyanja, kubanga ennyanja eyogedde nti: “Sirumwangako kuzaala wadde okuzaalako. Sirabiriranga baana babulenzi newaakubadde okukuza abaana aboobuwala.”
כאשר שמע למצרים יחילו כשמע צר׃ | 5 |
Ekigambo bwe kirijja eri Misiri, balinakuwalira ebigambo ebiva e Tuulo.
עברו תרשישה הילילו ישבי אי׃ | 6 |
Muwunguke mugende e Talusiisi, mukube ebiwoobe mmwe abantu ab’oku kizinga.
הזאת לכם עליזה מימי קדם קדמתה יבלוה רגליה מרחוק לגור׃ | 7 |
Kino kye kibuga kyammwe eky’amasanyu, ekibuga ekikadde, ekyagenda okusenga mu nsi eyeewala?
מי יעץ זאת על צר המעטירה אשר סחריה שרים כנעניה נכבדי ארץ׃ | 8 |
Ani eyateekateeka kino okutuuka ku Tuulo, Tuulo ekitikkira engule, ekibuga ekirina abasuubuzi abalangira, ekirina abasuubuzi abamanyifu mu nsi?
יהוה צבאות יעצה לחלל גאון כל צבי להקל כל נכבדי ארץ׃ | 9 |
Mukama Katonda ow’Eggye yakiteekateeka, amuggyemu amalala n’ekitiibwa kyonna, akkakkanye n’abo bonna abamanyifu ku nsi.
עברי ארצך כיאר בת תרשיש אין מזח עוד׃ | 10 |
Ne bw’otambula ku lukalu lwonna olw’omugga Kiyira, tokyalina kifo ebyombo we bituukira ggwe muwala wa Talusiisi.
ידו נטה על הים הרגיז ממלכות יהוה צוה אל כנען לשמד מעזניה׃ | 11 |
Mukama Katonda agolodde omukono gwe eri ennyanja, n’akankanya obwakabaka bwayo. Awadde ekiragiro ekikwata ku Kanani nti ebigo byakyo birizikirizibwa.
ויאמר לא תוסיפי עוד לעלוז המעשקה בתולת בת צידון כתיים קומי עברי גם שם לא ינוח לך׃ | 12 |
Yayogera nti, “Tokyaddayo kukola bya masanyu nate, ggwe muwala wa Sidoni embeerera obetenteddwa. Yambuka osomoke ogende e Kittimu, naye nayo tolifunirayo kuwummula.”
הן ארץ כשדים זה העם לא היה אשור יסדה לציים הקימו בחיניו עררו ארמנותיה שמה למפלה׃ | 13 |
Laba ensi ey’Abakaludaaya abantu abo abatakyaliwo. Omwasuli agifudde ekifo ekibeeramu ensolo ez’omu ddungu. Baayimusa eminaala gyabwe, ne bamenya ebigo byabwe, era n’abazikiriza.
הילילו אניות תרשיש כי שדד מעזכן׃ | 14 |
Mukube ebiwoobe mmwe ebyombo by’e Talusiisi, ekigo kyo kizikiriziddwa.
והיה ביום ההוא ונשכחת צר שבעים שנה כימי מלך אחד מקץ שבעים שנה יהיה לצר כשירת הזונה׃ | 15 |
Mu biro ebyo Tuulo kiryerabirwa okumala emyaka nsanvu, gy’emyaka kabaka gy’awangaala. Naye oluvannyuma lw’emyaka egyo ensanvu, ekirituuka ku Tuulo kiriba ng’ekiri mu luyimba olw’omwenzi.
קחי כנור סבי עיר זונה נשכחה היטיבי נגן הרבי שיר למען תזכרי׃ | 16 |
“Kwata ennanga, otambulire mu kibuga, ggwe omwenzi eyeerabiddwa. Ennanga gikube bulungi, oyimbe ennyimba nnyingi olyoke ojjukirwe.”
והיה מקץ שבעים שנה יפקד יהוה את צר ושבה לאתננה וזנתה את כל ממלכות הארץ על פני האדמה׃ | 17 |
Oluvannyuma lw’emyaka ensanvu, Mukama alikyalira Tuulo. Aliddayo ku mulimu gwe ogw’obwamalaaya, era alibukola mu bwakabaka bwonna obuli ku nsi.
והיה סחרה ואתננה קדש ליהוה לא יאצר ולא יחסן כי לישבים לפני יהוה יהיה סחרה לאכל לשבעה ולמכסה עתיק׃ | 18 |
Wabula amagoba ge ne byalifunamu biriyawulibwako bibe bya Mukama, tebiriterekebwa newaakubadde okukwekebwa, omuntu okubikozesa by’ayagala. Amagoba ge galigenda eri abo ababeera mu maaso ga Mukama, basobole okuba n’emmere emala, n’okuba n’ebyambalo ebirungi.