< הושע 8 >

אל חכך שפר כנשר על בית יהוה יען עברו בריתי ועל תורתי פשעו׃ 1
“Ffuwa ekkondeere. Empungu eri ku nnyumba ya Mukama kubanga abantu bamenye endagaano yange ne bajeemera amateeka gange.
לי יזעקו אלהי ידענוך ישראל׃ 2
Isirayiri bankaabira nga boogera nti, ‘Katonda waffe, tukumanyi.’
זנח ישראל טוב אויב ירדפו׃ 3
Naye Isirayiri baleseeyo ekirungi; omulabe kyaliva abayigganya.
הם המליכו ולא ממני השירו ולא ידעתי כספם וזהבם עשו להם עצבים למען יכרת׃ 4
Balonda bakabaka nga sikkirizza, balonda abakulembeze be sikakasizza. Beekolera ebifaananyi ebyole mu ffeeza yaabwe ne mu zaabu yaabwe ebiribaleetera okuzikirira.
זנח עגלך שמרון חרה אפי בם עד מתי לא יוכלו נקין׃ 5
Kanyuga ebweru ekifaananyi ky’ennyana yo, ggwe Samaliya. Obusungu bwange bubabuubuukirako. Balituusa ddi okuba abatali batuukirivu?
כי מישראל והוא חרש עשהו ולא אלהים הוא כי שבבים יהיה עגל שמרון׃ 6
Bava mu Isirayiri. Ennyana eyo omuntu eyakuguka mu by’okuweesa, ye yagikola so si Katonda. Era ennyana eyo eya Samaliya eribetentebwa.
כי רוח יזרעו וסופתה יקצרו קמה אין לו צמח בלי יעשה קמח אולי יעשה זרים יבלעהו׃ 7
“Basiga empewo, ne bakungula embuyaga. Ekikolo olw’obutaba na mutwe, kyekiriva kirema okubala ensigo. Naye ne bwe kyandibaze, bannaggwanga bandigiridde.
נבלע ישראל עתה היו בגוים ככלי אין חפץ בו׃ 8
Isirayiri amaliddwawo; ali wakati mu mawanga ng’ekintu ekitagasa.
כי המה עלו אשור פרא בודד לו אפרים התנו אהבים׃ 9
Bambuse ne bagenda eri Obwasuli, ng’endogoyi ey’omu nsiko eri yokka. Efulayimu aguliridde abaganzi.
גם כי יתנו בגוים עתה אקבצם ויחלו מעט ממשא מלך שרים׃ 10
Newaakubadde nga beetunze eri amawanga, ndibakuŋŋaanya, era ndibawaayo eri okubonaabona nga banyigirizibwa kabaka ow’amaanyi.
כי הרבה אפרים מזבחת לחטא היו לו מזבחות לחטא׃ 11
“Newaakubadde nga Efulayimu baazimba ebyoto bingi eby’ebiweebwayo olw’ekibi, bifuuse byoto bya kukolerako bibi.
אכתוב לו רבו תורתי כמו זר נחשבו׃ 12
Nabawandiikira ebintu bingi mu mateeka gange, naye ne babifuula ekintu ekigwira.
זבחי הבהבי יזבחו בשר ויאכלו יהוה לא רצם עתה יזכר עונם ויפקד חטאותם המה מצרים ישובו׃ 13
Bawaayo ebiweebwayo gye ndi, ne balya ennyama yaabyo, Mukama tabasanyukira. Kaakano alijukira obutali butuukirivu bwabwe n’ababonereza olw’ebibi byabwe: Baliddayo e Misiri.
וישכח ישראל את עשהו ויבן היכלות ויהודה הרבה ערים בצרות ושלחתי אש בעריו ואכלה ארמנתיה׃ 14
Isirayiri yeerabidde omutonzi we, n’azimba embiri, ne Yuda ne yeeyongera okuzimba ebibuga ebiriko bbugwe; naye ndisindika omuliro ku bibuga byabwe, ne gwokya ebigo byabwe.”

< הושע 8 >