< בראשית 9 >
ויברך אלהים את נח ואת בניו ויאמר להם פרו ורבו ומלאו את הארץ׃ | 1 |
Awo Katonda n’awa Nuuwa ne batabani be omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale mweyongerenga nnyo mujjuze ensi.
ומוראכם וחתכם יהיה על כל חית הארץ ועל כל עוף השמים בכל אשר תרמש האדמה ובכל דגי הים בידכם נתנו׃ | 2 |
Ensolo zonna ez’omu nsiko, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, na buli ekitambula ku nsi, buli ekiri mu nnyanja, byonna binaakutyanga, mbikuwadde mu mikono gyo.
כל רמש אשר הוא חי לכם יהיה לאכלה כירק עשב נתתי לכם את כל׃ | 3 |
Buli kintu ekiramu, ekitambula onookiryanga. Nga bwe nakuwa ebimera, kaakano nkuwa buli kintu.
אך בשר בנפשו דמו לא תאכלו׃ | 4 |
“Naye toolyenga nnyama ng’ekyalimu omusaayi gwayo.
ואך את דמכם לנפשתיכם אדרש מיד כל חיה אדרשנו ומיד האדם מיד איש אחיו אדרש את נפש האדם׃ | 5 |
Era ndivunaana ayiwa omusaayi gwammwe ne nvunaana n’omuntu olw’omusaayi gw’ensolo ne muvunaana n’olw’omusaayi gwa muntu munne.
שפך דם האדם באדם דמו ישפך כי בצלם אלהים עשה את האדם׃ | 6 |
“Buli anaayiwanga omusaayi gw’omuntu, n’ogugwe gunaayiibwanga, kubanga mu kifaananyi kya Katonda, Katonda mwe yakolera omuntu.
ואתם פרו ורבו שרצו בארץ ורבו בה׃ | 7 |
Naye ggwe onoozaalanga ne weeyongera obungi. Oneeyongeranga ku nsi.”
ויאמר אלהים אל נח ואל בניו אתו לאמר׃ | 8 |
Awo Katonda n’agamba Nuuwa ne batabani bwe baali
ואני הנני מקים את בריתי אתכם ואת זרעכם אחריכם׃ | 9 |
nti, “Laba nkola endagaano yange nammwe ne bonna abaliva mu mmwe oluvannyuma lwammwe,
ואת כל נפש החיה אשר אתכם בעוף בבהמה ובכל חית הארץ אתכם מכל יצאי התבה לכל חית הארץ׃ | 10 |
era na buli kitonde ekiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko zonna, ne byonna bye muvudde nabyo mu lyato, ne buli kitonde kyonna ku nsi.
והקמתי את בריתי אתכם ולא יכרת כל בשר עוד ממי המבול ולא יהיה עוד מבול לשחת הארץ׃ | 11 |
Nkola endagaano yange eno nammwe: tewaabengawo mataba gazikiriza bulamu bwonna, tewakyaddayo kubaawo mataba gasaanyaawo nsi.”
ויאמר אלהים זאת אות הברית אשר אני נתן ביני וביניכם ובין כל נפש חיה אשר אתכם לדרת עולם׃ | 12 |
Katonda n’agamba nti, “Kano ke kabonero ke nteeka wakati wange nammwe, na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe, era n’ab’emirembe egiriddawo.
את קשתי נתתי בענן והיתה לאות ברית ביני ובין הארץ׃ | 13 |
Nteeka musoke wange mu kire, nga ke kabonero ak’endagaano wakati wange n’ensi.
והיה בענני ענן על הארץ ונראתה הקשת בענן׃ | 14 |
“Kale olunaatuukanga, bwe nnaaleetaanga ekire ku nsi, musoke anaalabikiranga ku bire,
וזכרתי את בריתי אשר ביני וביניכם ובין כל נפש חיה בכל בשר ולא יהיה עוד המים למבול לשחת כל בשר׃ | 15 |
ne nzijukira endagaano yange nammwe na buli kiramu; era amazzi tegakyaddayo kuzikiriza biramu.
והיתה הקשת בענן וראיתיה לזכר ברית עולם בין אלהים ובין כל נפש חיה בכל בשר אשר על הארץ׃ | 16 |
Musoke bw’anaabanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano eteriggwaawo eriwo wakati wa Katonda na buli kitonde ekiramu ekiri ku nsi.”
ויאמר אלהים אל נח זאת אות הברית אשר הקמתי ביני ובין כל בשר אשר על הארץ׃ | 17 |
Katonda n’agamba Nuuwa nti, “Kano ke kabonero ak’endagaano gye ntaddewo wakati wange ne buli kiramu ekiri ku nsi.”
ויהיו בני נח היצאים מן התבה שם וחם ויפת וחם הוא אבי כנען׃ | 18 |
Batabani ba Nuuwa abaava mu lyato ye Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi. Kaamu ye yali kitaawe wa Kanani.
שלשה אלה בני נח ומאלה נפצה כל הארץ׃ | 19 |
Bonna abasatu be baali batabani ba Nuuwa; era okuva mu bano ensi yonna yajjula abantu.
ויחל נח איש האדמה ויטע כרם׃ | 20 |
Nuuwa n’atandika okulima n’asimba emizabbibu;
וישת מן היין וישכר ויתגל בתוך אהלה׃ | 21 |
n’anywa omwenge n’atamiira, ne yeebaka mu weema ng’ali bwereere.
וירא חם אבי כנען את ערות אביו ויגד לשני אחיו בחוץ׃ | 22 |
Kaamu kitaawe wa Kanani n’alaba obwereere bwa kitaawe, n’abuulirako baganda be ababiri abaali ebweru.
ויקח שם ויפת את השמלה וישימו על שכם שניהם וילכו אחרנית ויכסו את ערות אביהם ופניהם אחרנית וערות אביהם לא ראו׃ | 23 |
Awo ne bateeka olugoye ku bibegabega byabwe ne batambula ekyennyumannyuma, ne babikka ku bwereere bwa kitaabwe.
וייקץ נח מיינו וידע את אשר עשה לו בנו הקטן׃ | 24 |
Omwenge bwe gwamwamukako, Nuuwa n’azuukuka n’ategeera mutabani we omuto ky’amukoze.
ויאמר ארור כנען עבד עבדים יהיה לאחיו׃ | 25 |
N’akolimira ezzadde lya Kaamu n’agamba nti, “Kanani akolimirwe, abeere muddu wa baddu eri baganda be.”
ויאמר ברוך יהוה אלהי שם ויהי כנען עבד למו׃ | 26 |
Era n’agamba nti, “Mukama Katonda wange, awe Seemu omukisa, Kanani abeere muddu we.”
יפת אלהים ליפת וישכן באהלי שם ויהי כנען עבד למו׃ | 27 |
Katonda yaza Yafeesi, abeere mu weema za Seemu, Kanani abeere muddu we.
ויחי נח אחר המבול שלש מאות שנה וחמשים שנה׃ | 28 |
Oluvannyuma lw’amataba Nuuwa yawangaala emyaka emirala ebikumi bisatu mu ataano.
ויהיו כל ימי נח תשע מאות שנה וחמשים שנה וימת׃ | 29 |
Emyaka gyonna Nuuwa, gye yamala ku nsi ne giba lwenda mu amakumi ataano, n’afa.