< יחזקאל 20 >

ויהי בשנה השביעית בחמשי בעשור לחדש באו אנשים מזקני ישראל לדרש את יהוה וישבו לפני׃ 1
Awo mu mwaka ogw’omusanvu, mu mwezi ogwokutaano ku lunaku olw’ekkumi, abamu ku bakadde ba Isirayiri ne bajja okwebuuza ku Mukama Katonda, ne batuula wansi mu maaso gange.
ויהי דבר יהוה אלי לאמר׃ 2
Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, mbategeeze nti,
בן אדם דבר את זקני ישראל ואמרת אלהם כה אמר אדני יהוה הלדרש אתי אתם באים חי אני אם אדרש לכם נאם אדני יהוה׃ 3
“Omwana w’omuntu, yogera eri abakadde ba Isirayiri obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Muzze kunneebuuzaako? Mazima nga bwe ndi omulamu temujja kunneebuuzaako, bw’ayogera Mukama Katonda.’
התשפט אתם התשפוט בן אדם את תועבת אבותם הודיעם׃ 4
“Olibasalira omusango? Olibasalira omusango ggwe omwana w’omuntu? Kale bategeeze ebikolwa eby’ekivve bajjajjaabwe bye baakola,
ואמרת אליהם כה אמר אדני יהוה ביום בחרי בישראל ואשא ידי לזרע בית יעקב ואודע להם בארץ מצרים ואשא ידי להם לאמר אני יהוה אלהיכם׃ 5
era bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: ku lunaku lwe, neroboza Isirayiri, nalayirira bazzukulu b’ennyumba ya Yakobo, ne mbeeyabiza mu Misiri nga njogera nti, “Nze Mukama Katonda wammwe.”
ביום ההוא נשאתי ידי להם להוציאם מארץ מצרים אל ארץ אשר תרתי להם זבת חלב ודבש צבי היא לכל הארצות׃ 6
Ku lunaku olwo nabalayirira nti ndibaggya mu nsi y’e Misiri ne mbatwala mu nsi gye nabanoonyeza, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi esinga mu nsi zonna obulungi.
ואמר אלהם איש שקוצי עיניו השליכו ובגלולי מצרים אל תטמאו אני יהוה אלהיכם׃ 7
Ne mbagamba nti, “Buli muntu aggyewo ebintu eby’omuzizo mu maaso ge, muleme okweyonoonyesa ne bakatonda abalala ab’e Misiri, kubanga nze Mukama Katonda wammwe.”
וימרו בי ולא אבו לשמע אלי איש את שקוצי עיניהם לא השליכו ואת גלולי מצרים לא עזבו ואמר לשפך חמתי עליהם לכלות אפי בהם בתוך ארץ מצרים׃ 8
“‘Naye ne banjeemera, ne bagaana okumpuliriza; tebaggyawo bintu eby’omuzizo mu maaso gaabwe, newaakubadde okuleka bakatonda abalala ab’e Misiri. Kyenava njogera nti ndibabonerereza mu Misiri.
ואעש למען שמי לבלתי החל לעיני הגוים אשר המה בתוכם אשר נודעתי אליהם לעיניהם להוציאם מארץ מצרים׃ 9
Naye olw’obutavumisa linnya lyange mu maaso g’amawanga mwe baabeeranga, ne mu maaso gaabo be neeyabiza eri Abayisirayiri nga mbaggya mu Misiri, nakola bwe nti olw’erinnya lyange.
ואוציאם מארץ מצרים ואבאם אל המדבר׃ 10
Kyenava mbaggya mu Misiri ne mbatwala mu ddungu.
ואתן להם את חקותי ואת משפטי הודעתי אותם אשר יעשה אותם האדם וחי בהם׃ 11
Nabawa ebiragiro byange ne mbamanyisa n’amateeka gange, omuntu yenna bw’abigoberera abeere mulamu.
וגם את שבתותי נתתי להם להיות לאות ביני וביניהם לדעת כי אני יהוה מקדשם׃ 12
Ne mbawa ne Ssabbiiti zange ng’akabonero wakati wange nabo, bategeere nga nze Mukama abatukuza.
וימרו בי בית ישראל במדבר בחקותי לא הלכו ואת משפטי מאסו אשר יעשה אתם האדם וחי בהם ואת שבתתי חללו מאד ואמר לשפך חמתי עליהם במדבר לכלותם׃ 13
“‘Naye era abantu ba Isirayiri ne banjeemera mu ddungu, ne batagoberera biragiro byange, ne banyooma amateeka gange, ebyandiyinzizza okulokola omuntu abigondera, ne Ssabbiiti zange ne batazitukuza. Kyenava njogera nti ndibasunguwalira ne mbazikiririza mu ddungu.
ואעשה למען שמי לבלתי החל לעיני הגוים אשר הוצאתים לעיניהם׃ 14
Naye olw’erinnya lyange nakola ekyo obutavumisibwa obuteeswaza mu maaso g’amawanga mwe nabaggya.
וגם אני נשאתי ידי להם במדבר לבלתי הביא אותם אל הארץ אשר נתתי זבת חלב ודבש צבי היא לכל הארצות׃ 15
Era ne mbalayirira mu ddungu nga bwe siribaleeta mu nsi gye nnali mbawadde, ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi esinga endala zonna obulungi,
יען במשפטי מאסו ואת חקותי לא הלכו בהם ואת שבתותי חללו כי אחרי גלוליהם לבם הלך׃ 16
kubanga baajeemera amateeka gange ne batagoberera biragiro byange, ne batatukuza Ssabbiiti zange, kubanga emitima gyabwe gyasinzanga bakatonda abalala.
ותחס עיני עליהם משחתם ולא עשיתי אותם כלה במדבר׃ 17
Naye wakati mu ebyo byonna ne mbasaasira ne sibazikiriza, newaakubadde okubasaanyaawo mu ddungu.
ואמר אל בניהם במדבר בחוקי אבותיכם אל תלכו ואת משפטיהם אל תשמרו ובגלוליהם אל תטמאו׃ 18
Ne ŋŋamba abaana baabwe mu ddungu nti, “Temugoberera biragiro bya bakitammwe, newaakubadde okukwata amateeka gaabwe, so temweyonoonyesanga ne bakatonda baabwe abalala.
אני יהוה אלהיכם בחקותי לכו ואת משפטי שמרו ועשו אותם׃ 19
Nze Mukama Katonda wammwe, mugoberere ebiragiro byange era mwegendereze okukwata amateeka gange,
ואת שבתותי קדשו והיו לאות ביני וביניכם לדעת כי אני יהוה אלהיכם׃ 20
n’okutukuza Ssabbiiti zange, era ebyo binaabanga kabonero wakati wange nammwe, olwo mulimanya nga nze Mukama Katonda wammwe.”
וימרו בי הבנים בחקותי לא הלכו ואת משפטי לא שמרו לעשות אותם אשר יעשה אותם האדם וחי בהם את שבתותי חללו ואמר לשפך חמתי עליהם לכלות אפי בם במדבר׃ 21
“‘Naye abaana banjeemera; tebaagoberera biragiro byange newaakubadde okukwata amateeka gange, ebyandiyinzizza okulokola omuntu abigondera, ne Ssabbiiti zange ne batazitukuza. Kyenava njogera nti ndibasunguwalira mu ddungu.
והשבתי את ידי ואעש למען שמי לבלתי החל לעיני הגוים אשר הוצאתי אותם לעיניהם׃ 22
Naye neekuuma olw’erinnya lyange obutaliswaza mu maaso g’amawanga mwe nnali mbaggye.
גם אני נשאתי את ידי להם במדבר להפיץ אתם בגוים ולזרות אותם בארצות׃ 23
Era ne mbalayirira mu ddungu nti ndibasaasaanya mu mawanga, ne mbabunya mu nsi,
יען משפטי לא עשו וחקותי מאסו ואת שבתותי חללו ואחרי גלולי אבותם היו עיניהם׃ 24
kubanga tebaagoberera mateeka gange era ne bajeemera n’ebiragiro byange, era ne batatukuza Ssabbiiti zange, naye amaaso gaabwe ne gayaayaanira bakatonda abalala aba bajjajjaabwe.
וגם אני נתתי להם חקים לא טובים ומשפטים לא יחיו בהם׃ 25
Kyennava mbawaayo eri ebiragiro ebitali birungi n’amateeka ebitayinza kubabeezesaawo mu bulamu;
ואטמא אותם במתנותם בהעביר כל פטר רחם למען אשמם למען אשר ידעו אשר אני יהוה׃ 26
ne mbaswaza nga nkozesa ebirabo byabwe, bwe baleeta omuggulanda waabwe ng’ekiweebwayo, balyoke bajjule entiisa, era bamanye nga nze Mukama.’
לכן דבר אל בית ישראל בן אדם ואמרת אליהם כה אמר אדני יהוה עוד זאת גדפו אותי אבותיכם במעלם בי מעל׃ 27
“Kale omwana w’omuntu, yogera eri abantu ba Isirayiri obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: mu kino nakyo bajjajjammwe mwe banvumira ne banzivoola.
ואביאם אל הארץ אשר נשאתי את ידי לתת אותה להם ויראו כל גבעה רמה וכל עץ עבת ויזבחו שם את זבחיהם ויתנו שם כעס קרבנם וישימו שם ריח ניחוחיהם ויסיכו שם את נסכיהם׃ 28
Bwe nabaleeta mu nsi gye nabalayirira ne balaba buli lusozi oluwanvu na buli muti ogwamera yo, ne baweerangayo ssaddaaka zaabwe, ne baweerangayo ebiweebwayo ebyannyiiza, ne banyookerezanga obubaane bwabwe, era ne baweerangayo n’ebiweebwayo ebyokunywa.
ואמר אלהם מה הבמה אשר אתם הבאים שם ויקרא שמה במה עד היום הזה׃ 29
Kyenava mbabuuza nti, Ekifo ekyo ekigulumivu gye mugenda kya mugaso ki?’”
לכן אמר אל בית ישראל כה אמר אדני יהוה הבדרך אבותיכם אתם נטמאים ואחרי שקוציהם אתם זנים׃ 30
“Noolwekyo gamba ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mulyeyonoona nga bajjajjammwe bwe baakola ne mugoberera ebintu eby’ekivve?
ובשאת מתנתיכם בהעביר בניכם באש אתם נטמאים לכל גלוליכם עד היום ואני אדרש לכם בית ישראל חי אני נאם אדני יהוה אם אדרש לכם׃ 31
Bwe muwaayo ebirabo, ne muwaayo n’abaana bammwe mu muliro ng’ebiweebwayo, mweyongera okweyonoona ne bakatonda bammwe abalala bonna. Nnyinza okubakkiriza okunneebuuzaako mmwe ennyumba ya Isirayiri? Nga bwe ndi omulamu temujja kunneebuuzaako, bw’ayogera Mukama Katonda.
והעלה על רוחכם היו לא תהיה אשר אתם אמרים נהיה כגוים כמשפחות הארצות לשרת עץ ואבן׃ 32
“‘Mwogera nti, “Twagala okuba ng’amawanga amalala, ng’abantu ab’ensi endala, abaweereza embaawo n’amayinja,” naye ebyo bye mulowooza tebiribaawo n’akatono.
חי אני נאם אדני יהוה אם לא ביד חזקה ובזרוע נטויה ובחמה שפוכה אמלוך עליכם׃ 33
Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, ndibafuga n’omukono ogw’amaanyi, era ndigolola omukono gwange n’obusungu bungi.
והוצאתי אתכם מן העמים וקבצתי אתכם מן הארצות אשר נפוצתם בם ביד חזקה ובזרוע נטויה ובחמה שפוכה׃ 34
Ndibaggya mu mawanga n’omukono ogw’amaanyi omugolole, nga nzijudde obusungu, ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi gye mwasaasaanira.
והבאתי אתכם אל מדבר העמים ונשפטתי אתכם שם פנים אל פנים׃ 35
Ndibaleeta mu ddungu ery’amawanga, era eyo gye ndibasalira omusango nga tutunuuliganye amaaso n’amaaso.
כאשר נשפטתי את אבותיכם במדבר ארץ מצרים כן אשפט אתכם נאם אדני יהוה׃ 36
Nga bwe nasalira bajjajjammwe omusango mu ddungu ery’ensi ya Misiri, bwe ntyo bwe ndibasalira omusango, bw’ayogera Mukama Katonda.
והעברתי אתכם תחת השבט והבאתי אתכם במסרת הברית׃ 37
Ndibeetegereza nga muyita wansi w’omuggo gwange ne mbassaako envumbo y’endagaano yange.
וברותי מכם המרדים והפושעים בי מארץ מגוריהם אוציא אותם ואל אדמת ישראל לא יבוא וידעתם כי אני יהוה׃ 38
Ndibamaliramu ddala mu mmwe abajeemu era abansobya. Era newaakubadde nga ndibaggya mu nsi gye balimu, tebaliyingira mu nsi ya Isirayiri, mulyoke mumanye nga nze Mukama.
ואתם בית ישראל כה אמר אדני יהוה איש גלוליו לכו עבדו ואחר אם אינכם שמעים אלי ואת שם קדשי לא תחללו עוד במתנותיכם ובגלוליכם׃ 39
“‘Ate ggwe ennyumba ya Isirayiri, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mugende muweereze bakatonda bammwe abalala, mugende, naye oluvannyuma mulimpuliriza, ne mulekayo n’okuvumisa erinnya lyange ettukuvu n’ebirabo byammwe era ne bakatonda bammwe abalala.
כי בהר קדשי בהר מרום ישראל נאם אדני יהוה שם יעבדני כל בית ישראל כלה בארץ שם ארצם ושם אדרוש את תרומתיכם ואת ראשית משאותיכם בכל קדשיכם׃ 40
Ku lusozi lwange olutukuvu, olusozi oluwanvu olwa Isirayiri mu nsi eyo, ennyumba ya Isirayiri yonna balimpeereza, nange ndibasembeza. Era eyo gye ndibasabira ebiweebwayo byammwe, n’ebibala ebibereberye eby’ebirabo byammwe, wamu ne ssaddaaka zammwe ezitukuzibbwa.
בריח ניחח ארצה אתכם בהוציאי אתכם מן העמים וקבצתי אתכם מן הארצות אשר נפצתם בם ונקדשתי בכם לעיני הגוים׃ 41
Bwe ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi gye mwasaasaanira, ndibakkiriza nga bwenzikiriza akaloosa ak’evvumbe eddungi, era ndibalaga obutukuvu bwange mu maaso g’amawanga.
וידעתם כי אני יהוה בהביאי אתכם אל אדמת ישראל אל הארץ אשר נשאתי את ידי לתת אותה לאבותיכם׃ 42
Mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibaleeta mu nsi ya Isirayiri ensi gye nalayirira bajjajjammwe n’omukono ogugoloddwa.
וזכרתם שם את דרכיכם ואת כל עלילותיכם אשר נטמאתם בם ונקטתם בפניכם בכל רעותיכם אשר עשיתם׃ 43
Era eyo gye mulijjuukirira enneeyisa yammwe n’ebikolwa byammwe byonna bye mweyonoonyesa, era mulyetukuza olw’ebibi byonna bye mwakola.
וידעתם כי אני יהוה בעשותי אתכם למען שמי לא כדרכיכם הרעים וכעלילותיכם הנשחתות בית ישראל נאם אדני יהוה׃ 44
Mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibakola ng’erinnya lyange bwe liri so si ng’ebibi byammwe bwe biri, n’ebikolwa byammwe eby’obukumpanya bwe biri, mmwe ennyumba ya Isirayiri, bw’ayogera Mukama Katonda.’”
ויהי דבר יהוה אלי לאמר׃ 45
Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti,
בן אדם שים פניך דרך תימנה והטף אל דרום והנבא אל יער השדה נגב׃ 46
“Omwana w’omuntu, simba amaaso go mu bukiikaddyo, obabuulire era owe obunnabbi gye bali n’eri ekibira eky’ensi ey’Obukiikaddyo.
ואמרת ליער הנגב שמע דבר יהוה כה אמר אדני יהוה הנני מצית בך אש ואכלה בך כל עץ לח וכל עץ יבש לא תכבה להבת שלהבת ונצרבו בה כל פנים מנגב צפונה׃ 47
Yogera eri ekibira eky’omu bukiikaddyo nti, ‘Wulira ekigambo kya Mukama. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nnaatera okukukumako omuliro, era gulizikiriza emiti gyonna, omubisi n’omukalu. Ennimi ez’omuliro tezirizikizibwa, na buli ludda okuva mu bukiikaddyo okutuuka mu bukiikakkono bulyokebwa.
וראו כל בשר כי אני יהוה בערתיה לא תכבה׃ 48
Buli muntu aliraba nga nze Mukama abyokezza, era tegulizikizibwa.’”
ואמר אהה אדני יהוה המה אמרים לי הלא ממשל משלים הוא׃ 49
Awo ne njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, banjogerako nti, ‘Oyo tanyumya ngero bugero.’”

< יחזקאל 20 >